TOP

Njagala omusajja alina ku ssente

By Musasi wa Bukedde

Added 16th July 2019

Njagala omusajja ali wakati w’emyaka 30-60, akola, alina ku ssente kubanga nange siri bubi. Njagala nga muwanvu ate nga munene. Ateekwa okuba nga mwetegefu okumwanjula ewaffe n’okugenda ku musaayi.

Genda 703x422

MWANA muwala ng’oyaka ?

Nze bwentyo.

Kiki nga oli wano wekka?

Bwe buzibu bwange obunnuma.

Sikutegedde bulungi

Hmmmm... nnoonya musajja .

Kozzi gwe ani ?

Saudah Nabatanzi .

Okola mulimu ki ?

Nsiba nviiri era tebankozesa.

Obeera wa ?

Kazo

Olina abaana bameka ?

Nnina babiri.

Omusajja oyagala alina bisaanyizo ki?

Njagala omusajja ali wakati w’emyaka 30-60, akola, alina ku ssente kubanga nange siri bubi. Njagala nga muwanvu ate nga munene. Ateekwa okuba nga mwetegefu okumwanjula ewaffe n’okugenda ku musaayi.

Biki gwe by’ogenda okumukolera ssinga aba akusiimye ?

Ngenda kumuwa omukwano nga gwennyini, muzaalireyo omwana n’ebirala bwe sisobola kwogera.

Akwagadde akufunire ku ki ?

Bakube ku 0773225721.

Twagala abasajja abavumu

NZE Norah 37. Nneetaaga omwami owoobuvunaanyizibwa, ow’emyaka 40-55, akola ng'ali mu mbeera nnungi kuba nange siri bubi. Saagala Musiraamu. Njagala omwetegefu okwekebeza omusaayi. Ngenda kumuwummuza ebirowoozo. Kuba 0752534250.

Nze Resty 35 mbeera mu Kampala. Nnoonya omwami ali ku ddagala lya ARVS, alabika obulungi kuba nange bwendi, nga mwetegefu okugenda ewaffe, okukola obufumbo, alina empisa, atya Katonda ng’ali wakati w’emyaka 40-50. Kuba 0787048367.

Nze Racheal Namatovu 38. Mbeera Lukomero- Luweero, nazaalako era nasomako. Nneetaaga omwami ow’emyaka 40-45 nga teyeddira Ngonge oba Ngabi. Njagala alina ku ssente ng'alabika bulungi kuba nange bwendi ate nga mwetegefu okukola obufumbo. Kuba 0753334775.

Nze Annet Nakawungu 40, mbeera Mpereerwe, neddira Kasimba era nazaalako.Nneetaaga omwami akuze mu birowoozo, ow’emyaka 50-60 nga mwetegefu okwekebeza omusaayi, alina eddiini n’empisa. Kuba 0700631900.

Nze Aisha Nakimbugwe 38, mbeera Bulenga, ndi musuubuzi wa ngoye. Nneetaaga omwami ali ku ddagala lya ARVS ng'alabika bulungi kuba nange bwendi ate nga ttali bubi mu byenfuna, ow’ emyaka 40- 50, amanyi omukwano, omwesimbu, atya Katonda. Kuba 0708742890.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mutesa yaggulawo enkolagana ya...

Okufuuka Pulezidenti, Ssekabaka Mutesa yalondebwa Palamenti, n’amyukibwa Sir. William Wilberforce Nadiope Kajumbula...

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...

Ganja2 220x290

Ebintu 15 by’okola n’oganja ewa...

Edith Mukisa omukugu mu kubudaabuda abaagalana n’abafumbo akuwa ebintu 15 byoyinza okukola okusobola okuganja n'okunyweza...