TOP

Baminisita ba 1962 boogedde ku meefuga

By Musasi Wa

Added 8th October 2011

Abaali mu kabineeti ya Uganda eyasooka mu 1962 boogedde ku byaliwo nga Uganda yeefuga:

2011 10largeimg209 oct 2011 121654747 703x422

Abaali mu kabineeti ya Uganda eyasooka mu 1962 boogedde ku byaliwo nga Uganda yeefuga:

Dr. Emmanuel Lumu, 96:
Nga October 9, 1962 twagenda e Kololo okufuna obwetwaze era ffe abaali balondeddwa ku bifo by’obukulembeze twatuula ku mwanjo.

Twafuna abagenyi bangi abaava ebweru wa Uganda era baayanirizibwa mu kitiibwa. Abaserikale nabo baali bangi nga basimbye ennyiriri.

Mu kiseera abagenyi we baatuukira ku kisaawe e Kololo, bendera y’Abangereza eyitibwa Union Jack ye yali ewanikiddwa.
Zaali ziwera ssaawa 6.00 ez’ekiro, bendera ya Bungereza n’ewanulwa olwo eya Uganda n’ewanikibwa ng’abantu bonna bayimiridde.

Mu ssanyu eppitirivu, twazzaako okuyimba oluyimba lw’eggwanga omulundi ogwasookera ddala. Kkwiini wa Bungereza yaweereza omwana w’eng’oma Duke of Kent eyakwasa Obote empapula ezitogoza Uganda okufuna obwetwaze.

Olukiiko lw’eggwanga lwalonda olukiiko lwa baminita era n’erinnya lyange mwe lyayita. Ebiseera ebyo nze nali nkulira eddwaaliro ekkulu ery’e Mulago (Medical Supretendant).

Amangu ddala ng’emikolo gy’ameefuga giwedde, Obote yayita olukiiko lwa baminisita e Ntebe, eno gye twateesezanga.

Olwokuba bingi twali tetubimanyi, twasanga obuzibu ku kiki kye tuba tusookerako n’engeri gye tubikolamu naye oluvannyuma twamanyiira ne tuweereza.

Oluvannyuma, Obote yatwekengera n’atusiba mu kkomera e Kotido ne baminisita; Mathias Ngobi, Magezi, Ibingira ne Baraki Kirya.

Mu 1971, Amin yatuyimbula ne nkomawo mu maka gange ne ntandika okukola emirimu gyange egy’obusawo.

Nnina eddwaaliro lyange mu Kisenyi e Kampala. Nneewuunya engeri ebintu gye bikolwamu mu ggwanga omutali  kusaasira bakadde era nkukkulumira  KCCA olw’okugezaako okunnemesa ekibuga kuba bansaba omusolo ogw’ennyumba mwe nsula ng’ate sikyakola ate ndi mulwadde.

Mayanja Nkangi:
Omukolo naguliko naye saalina kifo kyonna mu gavumenti. Bendera ya Bungereza bwe yali ewanulwa, nayimirira we ndaba obulungi naye natya eky’Abazungu okutuleka kubanga nalaba nga tugenda kudda mu ntalo.

Mu kiseera ekyo nali looya nga nnina ekibiina kyange ekya National Party. Nalondebwa ku bwaminisita mu kabineeti eyasookera ddala nga minisita wa guno na guli ate mu 1963 ne nfuuka minisita w’ebyobusuubuzi.

Baminisita ba 1962 boogedde ku meefuga

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...

Morning 220x290

Obulamu bw’okweyombekera kkoyi...

OBULAMU obw’omu bumenya! Bayibuli ekirambika nti ekitonde ekisajja kineegattanga n’ekitonde ekikazi ne bakola obufumbo...

Ssenga1 220x290

Bakwana batya?

Ekizibu kye nnina kya nsonyi ate nga ndi muvubuka wa myaka 21. Ntya n’okugamba ku muwala yenna. Ssenga nsaba kunnyamba...

Yaga 220x290

‘Muntaase puleesa egenda kunzita...

MUSAJJA mukulu Ssaalongo Vincent Kigudde 78, awanjagidde akakiiko akabuuliriza ku mivuyo gy’ettaka kamuyambe ku...

Nyanzi 220x290

Dr. Stella Nyanzi alemedde e Luzira...

Dr. Stella Nyanzi ajeemedde ebiragiro bya kkooti bw’agaanye okulinnya bbaasi y’abasibe emuleeta ku kkooti nga bwe...