TOP

Ababbira mu takisi babakubye

By Musasi Wa

Added 12th October 2011

ABA bodaboda n’abatuuze b’e Naggulu n’e Ntinda bazingizza abasajja babbiri ababbira mu takisi ne babakubba emiggo ne takisi ne bagyonoona oluvannyuma lw’okubba ku musaabaze e ssente ze ne bamala ne bamukasuka wabweru ng’etambula.

2011 10largeimg211 oct 2011 221705820 703x422

ABA bodaboda n’abatuuze  b’e Naggulu n’e Ntinda bazingizza abasajja babbiri ababbira mu takisi ne babakubba emiggo ne  takisi ne bagyonoona  oluvannyuma lw’okubba  ku musaabaze e ssente ze  ne bamala ne bamukasuka wabweru ng’etambula.

Mmotoka ya takisi nnamba UAM 589F eyakedde okuva e Ntinda ng’eggya etikka abasaabaze, bwe bajjudde ne wabaawo omukyala eyagirinnye ng’ava okuggya ssente mu bbanka wabula kondakita n’amulaba n’amusaba amuwe ku kyengi
Yabadde aziggyayo ne bamunyakulako akasawo omwabadde ssente  ne bamukasuka wabweru ng’emmotoka edduka.

Wabula aba bodaboda baagobye takisi eno okutuusa bwe baagikwatidde e Nagguru okumpi ne WBS.

Joseph Niwaleba omu ku ba bodaboda abaagobye takisi eno yategeezezza nti zaabadde ssaawa 3:00 ez’oku makya bagenze okulaba nga bakasuka omukyala okuva mu mmotoka eno.

Kwe kuyita banne ne bagoba takisi eno.“Tubadde bangi aba bodaboda wabula ng’omuvuzi wa takisi eyabadde amazeeko yagaanyi okuyimirira ng’adduuka sipiidi ng’amakoona gonna agayingira buyingizi twamuzingiriza  Naggulu okumpi ne WBS”  bwe yategeezezza.

Baakubye ababbi emigo n’amayinja era abapoliisi abakuuma abakungu mu kifo kino be baabataasiza ku babodaboda.

Oluvannyuma babatutte ku poliisi ya Kira Road ne baggalirwa nga bavunaanibwa okubba abantu.

Ababbi  bano omu yategeerekeseeko erya Paulo Karungi yagambye nti ye abadde musaabaze  wabula munne  eyabadde avuga  yagaanye okwogera erinnya lye.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Iddi Ssenkumbi yagambye nti poliisi etandise okunoonyereza ku babbi bano.


 

Ababbira mu takisi babakubye

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.

Funa 220x290

Okukkiririza mu Katonda kizza laavu...

OMUWALA yenna kasita akula, kibeera kitegeeza nti alina obulamu bw’alina okuvaamu ate adde mu bulala ne gye biggweera...

Tuula 220x290

Mukwano gwange yansigulak

NZE Hakim Male nga mbeera Kireka Railway mu munisipaali y’e Kira. Siryerabira mukwano gwange gwe nali mpita owange...

Funayo1 220x290

Omuyizi alumirizza omusajja okumuwamba...

POLIISI y’e Matugga ekutte n’eggalira omusajja agambibwa okutaayizza omuyizi abadde agenda ku ssomero n’amuwamba...

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...