TOP

Enkaayana z’e Mulago ziyingiddemu emmundu

By Musasi Wa

Added 15th October 2011

Abatujju bayingidde mu nkaayana n’obugulumbo mu ddwaaliro ly’e Mulago bwe baggyeeyo emmundu ne bazoolekeza akulira eddwaaliro lino nga baagala bamutte.

2011 10largeimg215 oct 2011 203950640 703x422

Bya A. Ssempereza ne Deborah Nanfuka

Abatujju bayingidde mu nkaayana n’obugulumbo mu ddwaaliro ly’e Mulago bwe baggyeeyo emmundu ne bazoolekeza akulira eddwaaliro lino nga baagala bamutte.

 Dayirekita w’eddwaaliro lya Mulago, Dr. Baterana Byarugaba awonedde watono okukubwa amasasi, abazigu bwe baamulumbye ku mwaliiro ogwokuna mu ddwaaliro e Mulago ku Lwokusatu.

Kigambibwa nti abatujju bano era baafulumizza olukalala lw’abakulu ba Mulago be baagala okutta nga kuliko Dr. Baterana Byarugaba, omumyuka we, Dr. Doreen Male Birabwa, David Nuwamanya , Kenneth Wafura, PRO Dan Kimosho, n’abalala. 

Olukwe

Abazigu ab’emmundu mukaaga baazinze ofiisi z’abakungu ku mwaliiro ogwokuna ne bazeetooloola abamu ne bayimirira ku mulyango oguyingira ewa dayirekita, oguliko PRO abalala ne bateegera ku lifuti n’abandi nga bayimiridde ku mulango ogufuluma nga kigambibwa nti baabadde baagala okubatta olw’ensonga eziwerako.

Asuman Lukwago omuwandiisi ow’enkalakkalira mu minisitule y’ebyobulamu yategeezezza nti ekyawonyezza abakungu bano, baafunye essimu n’obubaka okuva mu bitongole eby’okwerinda nga zibalabula ku batujju bano, abamu ne badduka  abalala ne balemera mu ofiisi zaabwe ekyasobozesezza abakola ku byokwerinda okuzingako ekifo.

Olutalo we luva

Lukwago agamba nti  ezimu ku nsonga ezivuddeko bino mulimu:

1 Okukyusa abakulira eddwaaliro okutuukira ddala ku ba wansi. Agamba nti abamu ku bano bakyagaanidde mu ofiisi ezaabaggyibwako ne mu mayumba era bagezezzaako okwegayirira naye minisitule n’egaana okubaddiramu.

“Tetugenda kukkiriza kukola na batemu, mu Mulago tutaddewo obukuumi obw’enjawulo era tubamanyi tugenda kubakwata tubasannyalaze kubanga gavumenti y’erina emmundu ennene era tujja kubafulumya lwa mpaka ” Asuman Lukwago bwe yategeezezza mu bukambwe.

2 Waliwo abakozi abaakolagana ne kkampuni ya Phillips ne bagula ekyuma ekikuba ebifaananyi ekya sikaani ekifu nga kyawemmenta obukadde 224 tekyakolako yadde omwaka ogumu ne kifa nga kati gavumenti eteekateeka kugula kyuma kipya.

Yannyonydde nti ekyuma kino kifuuse eky’omutawaana eri obulamu bw’abantu ate bwe bateesa okukyokya kigambibwa nti kivaamu omukka oguyinza okulwaza abantu kkansa.

Gavumenti etegeka kubonereza buli muntu eyali mu ddiiru eno ng’okunoonyereza kuwedde.

3 Abakozi abatalina buyigirize 53 abaggyibwa ku lukalala lw’ensasula nabo bagambibwa okuba nti beenyigidde mu lukwe luno baweereddwa omwezi guno okuba nga bavudde ku mirimu.

Yategeezezza nti mu ddwaaliro mulimu abawebwa emirimu gy’okugula ebikozesebwa ng’okufuuyira ensiri n’ebirala kyokka bagula mpewo ate oluusi bagula bicupuli.

4 Okukwata ababbi b’eddagala nga mwenda ku bo bali Luzira n’abaggyako abalwadde ensimbi nga tebaweereddwa lisiiti n’abalala abazze beenyigira mu buzzi bw’emisango.

Lukwago agamba nti gavumenti egenda kuddaabiriza Mulago atuukane n’omulembe era bagenda kuzimba amalwaliro amalala e Kiruddu, Kawempe, Naggulu, n’awera nti minisitule yaakufaafaagana n’abantu abagezaako okulemesa enkulaakulana ya Mulago.

Bino yabitegeezezza mu lukung’aana lw’abaamawulire olwayitiddwa ku Lwokutaano.

Bino we bijjidde nga dayirekita w’eddwaaliro, Dr. Baterana Byarugaba, 46 yaakafuna ebbaluwa emukakasa okuddukanya eddwaaliro lino nga yagifunye mu August omwaka guno.

Yazze mu bigere bya Dr. Edward Ddumba eyakyusibwa n’azzibwa ku minisitule.

Dr. Byarugaba y’ani?


Y’abadde amyuka Dr. Edward Ddumba. Obusawo yabusomera Makerere era n’agezesebwa mu ddwaaliro lya Mulago mu 1990   gye yamalira diguli esooka n’ayongerako ebbaluwa endala mu busawo.

Mu 1994 yasoma eddagala (internal medicine) n’amaliriza mu 1995 olwo n’alondebwa okukolera mu Mulago.

Yakyusibwa  n’atwalibwa mu ddwaaliro lya gavumenti erya Masaka mu 1998-2000, oluvannyuma lw’okukolerayo omwaka gumu, yazzibwa mu ddwaaliro e Mulago nga muvubuka muto kyokka nga mukozi nnyo era amangu ddala n’akuzibwa ku ddaala ery’abakugu abeebuuzibwako (Consultant).

Mu 2003 yagenda e Roma okusoma omwaka gumu, olwakomawo yakuzibwaku ddaala ery’okukulira abajjanjabi (Clinical Head in Medicine) ate mu 2007 n’afuulibwa eyeebuuzibwako ow’oku ntikko (Senior Consultant).

Mu August wa 2010 yalondebwa okubeera amyuka dayirekita w’eddwaliro ly’e Mulago ate mu March wa 2011 n’atuuzibwa mu ntebe y’okukola nga dayirekita. Mu August 2011 yakakasiddwa nga dayirekita omujjuvu akulira eddwaaliro lya Mulago.

Obukugu asinze kubulaga ng’alwanyisa kkolera ne Ebola. Asomesezza abantu obuyonjo mu ddwaaliro lya Mulago n’ebyalo ebiriraanyeewo okwekuuma kkolera era wadde kino kiseera kya nkuba, e Mulago teri mulwadde wa kkolera n’omu.

Ebizibu bya Mulago

Omugotteko. Dr. Byarugaba agamba nti Mulago we yazimbirwa ng’abantu batono kati takyamala olw’obufunda bw’ekifo.

Okwebasa abalwadde wansi; yategeezezza nti gavumenti eguze ebitanda 175 okwongera ku 500 ebyasooka okugulibwa, emifaliso 340, ebyuma ebyekebejja omutima 75, ebidomola bya kasasiro 60 ate nga byakwongerwako.

Ebbula ly’eddagala: Agamba nti abasawo babadde balituulako ne bataligabira balwadde

Enkaayana z’e Mulago ziyingiddemu emmundu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Seb2 220x290

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya...

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda