TOP

Ab’e Kawempe-Mbogo balumbye KCCA ku luguudo

By Musasi Wa

Added 9th November 2011

ABATUUZE b’e Kawempe-Mbogo balumbye ekitongole kya KCCA obutamaliriza luguudo ekivuddeko abamu okufuna endwadde olw’enfuufu

2011 11largeimg209 nov 2011 092408450 703x422

 

Bya SARAH ZAWEDDE        

ABATUUZE b’e Kawempe-Mbogo balumbye ekitongole kya KCCA obutamaliriza luguudo lwabwe ekivuddeko abamu okufuna endwadde olw’enfuufu.

‘Tuwadde KCCA  wiiki bbiri okumaliriza oluguudo luno. Tufunye ekifuba, ssennyiga n’endwadde endala eziva ku nfuufu. Ate mmotoka zaffe zifudde olw’ebinnya ebyasimibwa ne birekebwa nga tebizibiddwa.

Twalabako aba kkampuni ya Zzimwe nga bakola oluguudo kyokka tebaalumaliriza. Twagala bakomewo bazibe ebinnya.

Ffe twawaliriziddwa n’okuteeka obugulumu mu luguudo abagoba b’emmotoka basobole okukendeeza ku misinde kwe baddukira kuba enfuufu esukka,” Sarah Nantege bwe yagambye.

Wabula omwogezi wa KCCA, Peter Kawujju bwe yatuukiriddwa yagambye nti agenda kutuukirira bakamabe  balabe engeri gye battaanya ensonga eno.

 

 

Ab’e Kawempe-Mbogo balumbye KCCA ku luguudo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kafeera 220x290

Leero luno!

NG’ENSI eri ku bunkenke bw’ekirwadde kya Coronavirus, abamu ku Bannayuganda batandise okubiteekamu omuzannyo bo...

Gaali 220x290

Ono booda agiyita mmotoka?

ONO taata w’abaana ekiragiro kya Pulezidenti eky’emmotoka eza buyonjo okutikka abantu basatu yakifunye bulala....

Bitone2 220x290

Nze sijja kuyimba kambawe akatono...

NG’ABAYIMBI beeyiwa mu situdiyo okukola ennyimba ezikwata ku kirwadde ku Coronavirus n’okukubiriza abantu okugoberera...

Kcca2 220x290

Oba adduse tutwale ekigaali n’emmaali...

OMUVUBUKA eyabadde atundira ennanaansi ku kigaali ebigere tebiba kumweyimirira ssinga kati ali mu mbuzi ekogga....

Njagala ananjagala nga bwendi

Njagala ali wakati w’emyaka 50 - 55, alina omulimu, omwetegefu okundabirira, okunfunira eky’okukola n’okugenda...