TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bakoonye amaka g’omusawo w’ekinnansi e Kamwokya

Bakoonye amaka g’omusawo w’ekinnansi e Kamwokya

By Musasi Wa

Added 9th November 2011

ABATUUZE b’e Kamwokya bavudde mu mbeera ne bakoona amaka g’omusawo w’ekinnansi, Sulaiman Kabanda gwe balumiriza okusindika ebyokoola ne bitta abantu.

2011 11largeimg209 nov 2011 092939777 703x422

Bya JOSEPH MUTEBI  

ABATUUZE b’e Kamwokya mu Church Zooni bavudde mu mbeera ne bakoona amaka g’omusawo w’ekinnansi, Sulaiman Kabanda gwe balumiriza okusindika ebyokoola mu maka ga mutuuze munnaabwe gw’ayagala okuwambako ettaka abantu bana ne bafa.

Kino kiddiridde Christopher Mayombwe, ne mukyala we Justine Nakigudde okufa mu ngeri etannategeerekeka n’abaana ne balumiriza Kabanda gwe yali yasenza awaka n’atuuka n’okuzimba amasabo ku ttaka lyabwe n’enju ey’ebisenge ebitaano nti ye yasindise ebyokoola ebyabasse.

Abooluganda lw’abagambibwa okufa beegugunze  ne balumba Kabanda ekyamuwalirizza okudduka ku kyalo nga baagala okumutta wabula n’agenda ng’awera nti buli eyakwata ku ssabo lye waakufa.

Muwala w’omugenzi  Mayombwe, Eva Nalwoga yategeezezza nti  waayitawo ebbanga lya myezi mitono  mutabani w’omugenzi  Mayombwe,   Charles Kato eyali omujaasi n’afa ng’ate naye yali omu ku baayokya amasabo. Kigambibwa nti waayitawo akaseera katono n’omwana mu famire eno ow’emyaka omwenda, Salina n’afa kibwatukira.

Wiiki ewedde Kabanda yagenda mu kkooti  n’awaabira abaana ba Mayombwe omusango gw’okwokya amasabo ge era basatu ku bo ne bakwatibwa ne basindikibwa e Luzira.

Vincent Muwanga omutuuze w’oku kitundu kino yategeezezza nti ennyumba baagikoonye mu kiro ekyakeesezza Ssande.

Bakoonye amaka g’omusawo w’ekinnansi e Kamwokya

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kafeera 220x290

Leero luno!

NG’ENSI eri ku bunkenke bw’ekirwadde kya Coronavirus, abamu ku Bannayuganda batandise okubiteekamu omuzannyo bo...

Gaali 220x290

Ono booda agiyita mmotoka?

ONO taata w’abaana ekiragiro kya Pulezidenti eky’emmotoka eza buyonjo okutikka abantu basatu yakifunye bulala....

Bitone2 220x290

Nze sijja kuyimba kambawe akatono...

NG’ABAYIMBI beeyiwa mu situdiyo okukola ennyimba ezikwata ku kirwadde ku Coronavirus n’okukubiriza abantu okugoberera...

Kcca2 220x290

Oba adduse tutwale ekigaali n’emmaali...

OMUVUBUKA eyabadde atundira ennanaansi ku kigaali ebigere tebiba kumweyimirira ssinga kati ali mu mbuzi ekogga....

Njagala ananjagala nga bwendi

Njagala ali wakati w’emyaka 50 - 55, alina omulimu, omwetegefu okundabirira, okunfunira eky’okukola n’okugenda...