TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Polof.Dan Wadada Nabudere amaze emyaka 30 ng'alwanirira federo afudde

Polof.Dan Wadada Nabudere amaze emyaka 30 ng'alwanirira federo afudde

By Musasi Wa

Added 10th November 2011

Polof. Dan Wadada Nabudere yavuga nnyo mu biseera bya minvuuli ya UNLF wansi w’abagenzi Polof. Yusuf Kironde Lule neGodfrey Lukongwa Binaisa.

2011 11largeimg210 nov 2011 080659510 703x422

Bya AHMED KATEREGGA

Polof. Dan Wadada Nabudere yavuga nnyo mu biseera bya minvuuli ya UNLF wansi w’abagenzi Polof. Yusuf Kironde Lule neGodfrey Lukongwa Binaisa.

Ye ne Polof. Edward Rugumayo, Polof. Omwony Ojok ne Yash Tondon, be baategeka olukiiko olwatuula e Moshi ng’olutalo lwa Uganda ne Tanzania luyinda mu 1979, ne lutondawo minvuuli ya UNLF.

Omukulembeze wa UNLF yali Yusuf Lule n’oluvannyuma Godfrey Binaisa; Edward Rugumayo nga ye ssentebe w’olukiiko olwebuuzibwako n’okuteeka amateeka, Omwony Ojok nga ye muwandiisi, ate nga Nabudere y’avunaaniyizibwa ku byobufuzi.

Bwe baatuuka wano, Lule n’atandika okukola ebintu nga tabeebuuzizzaako, bamuggyako ne bamusikiza Binaisa wadde nga Rugumayo yafuba okuyitamu n’alemwa bulemwa.

Mu gavumenti ya Binaisa, Nabudere ye yali Minisita w’ebyobuwangwa n’okusitula embeera z’abantu era ye yatandika enteeseganya za gavumenti eya wakati n’Abataka ku BYAFFE mu 1979 ne 1980 nga baagala okuazzaawo Obwakabaka.

Binaisa bwe yaggyibwako akakiiko ka UNLF ak’amagye akaali kakulirwa Paulo Muwanga ng’amyukibwa Yoweri Museveni, Nabudere yaddukira Nairobi gye yatambulanga mu mikutu gy’amawulire ng’atiisaiisa nga Binaisa bwe yali afunye amagye gamuzzeeko okutuusa lwe baamugwamu nti asiba kiwaani. Olwo yatandika okusomesa mu yuvisite e Nairobi n’oluvannyuma mu e Denmark.

Ye ne banne baatondawo UNLDF Anti Dictatorship eyakozesanga ebigambo okulwanyisa Obote ne Museveni okutuusa lwe baajeemulukuka ne badda kuno mu 1993. 

Nabudere yalondebwa mu lukiiko lwa Ssemateeka mu 1994 n’abeera omuwandiisi w’omukago gwa bannabibiina ne bannafedero ogwakulirwanga Ssebaana Kizito, era ye n’omugenzi Richard Wanendeya ne bawagira nnyo federo nga baagala ne Bugisu nayo ebe federo naye ne bitayiramu.

Okuva olwo bannyuka ebyobufuzi naye ng’abadde asomesa mu yunivasite e Mbale n’awalala era y’omu ku Bataka ababadde beebuuzibwako eby’ensonga mu FDC.

Ebyobufuzi yabitandikira mu yunivasite, n’abeera omu ku bavubuka ba UPC envuumuulo mu myaka gy’enkaaga nga bakulemberwamu Jabberi bidandi Ssali.

Nabudere lwe yazira omudaali gw’obuzira

Mu katabo ke From Obote to Obote (1983), Akena Adoko agamba nti, Nabudere, Kintu Musoke, Bidandi Ssali n’abavubuka abalala kaabulako katono okutondawo ekibiina ky’ebyobufuzi ekyabwe nga balaba ebya UPC bibatamye.

Mu 1965, Kintu Musoke, Kirunda Kivejinja, Chango Macho n’abalala baagobwa mu UPC. Kyokka mukama waabwe Bidandi Ssali ye yayimirizibwa buyimirizibwa era mu 1970 yalondebwa okubeera omuwandiisi w’akakiiko k’ebyokulonda akaali kakulirwa Ataker Ejalu.

Abavubuka bano baalina abayizi be baakolagananga nabo omuli Wannume Kibedi okuva e Busoga, Yoweri Museveni okuva mu Ankole n’abalala .

Nabudere yatondawo ekibiina kya Uganda-Vietnam Solidarity Committee ekyali kirwanyisa ejjoogo lya Amerika okulumba Vietnam okufaanana nga bw’ekoze Grenada, Afghanistan, Iraq ne Libya mu nsangi zino. Obote bwe baageezaako okumutemula mu 1969, yawera ebibiina byobufuzi byonna omuli n’ekya Nabudere.

Mu katabo ke Sowing The Mustard Seed (1996), Pulezidenti Museveni agamba nti baatuula ne Kibedi ne Nabudere nga Amn awambye. Nga bali bagamba nti bakole ne Amin balongoose ebintu. 

Ye Museveni n’agaana era n’agenderawo e Tanzania okutandikirawo olutalo. Kibedi yali mukoddomi wa Amin era yafuuka Minisita w’ensonga ez’ebweru. Nabudere n’akulira ekitongole ky’emmeeri n’eggaali z’omukka ekya East African Railways & Harbours okutuusa omukago gwa East Africa Comumnity lwe gwasasika mu 1977. Yadda ku nnoni mu yuvisite e Dar Es Salaam.

Museveni agamba nti Nabudere yakwatibwa ensonyi okulaba nga ba Museveni baali baalengera wala ne balwanyisizaawo Amin era okuva olwo tebaddamu kulima kambugu.

Jjuuzi mu 2010, Gavumenti ya NRM olw’okwagala okumusiima olw’ebirungi by’akoledde eggwanga yawa Nabudere omudaali gw’obuzira.

Wabula yabeewuunyisa bwe yagugaana ng’agamba nti tegulina makulu!

 

Polof.Dani Wadada Nabudere amaze emyaka 30 ng''alwanirira federo afudde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kafeera 220x290

Leero luno!

NG’ENSI eri ku bunkenke bw’ekirwadde kya Coronavirus, abamu ku Bannayuganda batandise okubiteekamu omuzannyo bo...

Gaali 220x290

Ono booda agiyita mmotoka?

ONO taata w’abaana ekiragiro kya Pulezidenti eky’emmotoka eza buyonjo okutikka abantu basatu yakifunye bulala....

Bitone2 220x290

Nze sijja kuyimba kambawe akatono...

NG’ABAYIMBI beeyiwa mu situdiyo okukola ennyimba ezikwata ku kirwadde ku Coronavirus n’okukubiriza abantu okugoberera...

Kcca2 220x290

Oba adduse tutwale ekigaali n’emmaali...

OMUVUBUKA eyabadde atundira ennanaansi ku kigaali ebigere tebiba kumweyimirira ssinga kati ali mu mbuzi ekogga....

Njagala ananjagala nga bwendi

Njagala ali wakati w’emyaka 50 - 55, alina omulimu, omwetegefu okundabirira, okunfunira eky’okukola n’okugenda...