TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Minisitule ezzeemu okwekenneenya ttenda okwagabirwa lufula

Minisitule ezzeemu okwekenneenya ttenda okwagabirwa lufula

By Musasi Wa

Added 11th November 2011

GAVUMENTI etegeezezza nga bw’egenda okuddamu okwekenneenya ebiwandiiko omugagga Hassan Basajjabalaba kwe yafunira obwannannyini bw’ekifo kino mu kaweefube w’okukiddiza abasuubuzi abakikoleramu okukyeddukanyiza.

2011 11largeimg211 nov 2011 091700063 703x422

Bya ROBERT MUTEBI      

GAVUMENTI etegeezezza nga bw’egenda okuddamu okwekenneenya ebiwandiiko omugagga Hassan Basajjabalaba kwe yafunira obwannannyini bw’ekifo kino mu kaweefube w’okukiddiza abasuubuzi abakikoleramu  okukyeddukanyiza.

“Tulina okugonjoola ekizibu kya lufula mu bwangu kubanga abasuubuzi abakikoleramu baatulaga nti balina obusobozi obwekulaakulanyiza ekifo kino ekitegeeza nti tetusobola kubabuusa maaso. Nga bwe tukoze ku butale n’ebifo ebirala ebiringa bino na bano tujja kubawa enkizo eyeekulaakulanyiza ekifo kino,” Moses Byabagambi akola ku by’obutale mu minisitule ya Gavumenti ez’ebitundu bwe yategeezezza.

Yagambye nti  Gavumenti erina enteekateeka ey’okuyamba ku basuubuzi mu lufula eno abeegattira mu kibiina kya CATDA okukulaakulanya ekifo okukifuula eky’omulembe.”

“Tunaatera okumaliriza okunoonyereza ku ngeri lufula eno gye yagabibwamu era kino tukikola ne KCCA, mu kiseera kino tujja kuvaayo ne lipoota naye nga Pulezidenti bwe yategeeza, abasuubuzi abakolera mu lufula eyo beebalina okuweebwa enkizo okugyeddukanyiza n’okugikulaakulanya,”bwe yagasseeko. Ku Mmande ekiro waliwo bakanyama abaalumbye lufula eno n’ekigendererwa eky’okugiwamba  kyokka poliisi n’ebalemesa.

 

Minisitule ezzeemu okwekenneenya ttenda okwagabirwa lufula

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kafeera 220x290

Leero luno!

NG’ENSI eri ku bunkenke bw’ekirwadde kya Coronavirus, abamu ku Bannayuganda batandise okubiteekamu omuzannyo bo...

Gaali 220x290

Ono booda agiyita mmotoka?

ONO taata w’abaana ekiragiro kya Pulezidenti eky’emmotoka eza buyonjo okutikka abantu basatu yakifunye bulala....

Bitone2 220x290

Nze sijja kuyimba kambawe akatono...

NG’ABAYIMBI beeyiwa mu situdiyo okukola ennyimba ezikwata ku kirwadde ku Coronavirus n’okukubiriza abantu okugoberera...

Kcca2 220x290

Oba adduse tutwale ekigaali n’emmaali...

OMUVUBUKA eyabadde atundira ennanaansi ku kigaali ebigere tebiba kumweyimirira ssinga kati ali mu mbuzi ekogga....

Njagala ananjagala nga bwendi

Njagala ali wakati w’emyaka 50 - 55, alina omulimu, omwetegefu okundabirira, okunfunira eky’okukola n’okugenda...