TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gavumenti eyanguye okulongoosa embeera y’abasomesa - Mubaka

Gavumenti eyanguye okulongoosa embeera y’abasomesa - Mubaka

By Musasi Wa

Added 11th November 2011

ABASOMESA mu Disitulikiti y’e Buikwe bakubye minisita w’abavubuka n’abaana olwogoolo bw’abagambye nga ne baminisita bwe beetaaga okwongezebwa omusaala.

2011 11largeimg211 nov 2011 171216083 703x422

 

Bya Steven Musoke 

ABASOMESA mu Disitulikiti y’e Buikwe  bakubye minisita w’abavubuka n’abaana olwogoolo bw’abagambye nga ne baminisita bwe beetaaga okwongezebwa omusaala kuba bafuna mutono.

“Abasomesa mube bagumiikiriza  ku ky’omusaala  ssi mmwe mwekka abaagala okwongezebwa naffe baminisita tuli bubi,”  Minisita Ronald Kibuule bwe yagambye olwo abasomesa ne basaanuuka. 

Ye yabadde omugenyi omukulu ku lunaku lw’abasomesa mu Disitulikiti eno olwabaddewo wiiki ewedde e Buikwe.

Omubaka omukyala owa Buikwe, Dorothy Mpiima yatumye minisita atokote banne mu kabineeti babeereko kye bakolera embeera y’abasomesa mu bwangu nti kuba mbi nnyo nga n’abamu tebalina we basula.

Ssentebe wa disitulikiti eno, Mathias Kigongo yeebazizza gavumenti olw’okubakkiriza okwongera ku muwendo gw’abasomesa  nga bagenda kuyingiza abasoba mu 300 kyokka n’asaba erowooze ne ku ky’okubazimbira amayumba.Yasabye ne minisitule y’ebyensimbi okwanguyangako ensimbi za UPE abakulu b’amasomero basobole okuzitegekera obulungi.

Abalala abeetabye ku mukolo ye mubaka Dr. Lulume Bayiga (Buikwe South)  Baker Ssali (Buikwe West) n’ eyaliko ssentebe wa Mukono Kiwanuka Musisi.

 

 

Gavumenti eyanguye okulongoosa embeera y’abasomesa - Mubaka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kafeera 220x290

Leero luno!

NG’ENSI eri ku bunkenke bw’ekirwadde kya Coronavirus, abamu ku Bannayuganda batandise okubiteekamu omuzannyo bo...

Gaali 220x290

Ono booda agiyita mmotoka?

ONO taata w’abaana ekiragiro kya Pulezidenti eky’emmotoka eza buyonjo okutikka abantu basatu yakifunye bulala....

Bitone2 220x290

Nze sijja kuyimba kambawe akatono...

NG’ABAYIMBI beeyiwa mu situdiyo okukola ennyimba ezikwata ku kirwadde ku Coronavirus n’okukubiriza abantu okugoberera...

Kcca2 220x290

Oba adduse tutwale ekigaali n’emmaali...

OMUVUBUKA eyabadde atundira ennanaansi ku kigaali ebigere tebiba kumweyimirira ssinga kati ali mu mbuzi ekogga....

Njagala ananjagala nga bwendi

Njagala ali wakati w’emyaka 50 - 55, alina omulimu, omwetegefu okundabirira, okunfunira eky’okukola n’okugenda...