TOP

Ssente ze tutereka mu bbanka lwaki zibbibwa?

By Musasi Wa

Added 14th November 2011

OBADDE okimanyi nti ssente z’otereka mu bbanka muzirya n’ababbi? Era nga ababbi bano oluusi baba bakozi ba bbanka bennyini be bazibba oba okukolagana n’ababbi abava ebweru?

2011 11largeimg214 nov 2011 180509407 703x422

Bya Eva Naluwagga ne Vivian Nankya

OBADDE okimanyi nti ssente z’otereka mu bbanka muzirya n’ababbi? Era nga ababbi bano oluusi baba bakozi ba bbanka bennyini be bazibba oba okukolagana n’ababbi abava ebweru?

Otera okusanga ku akawunta yo nga kubulako obusente obutonotono, oluusi mutwalo gumu, ebiri oba etaano? Ye abaffe bw’oggyayo ssente ku akawunti, okimanyi nti ssente ez’ensuusuuba zirina engeri gye zibulamu gy’ototegeera.

Okugeza, oli bw’akusasula 56,450/- bwe wayitawo ebbanga 450/- weebuuza gye zadda nga tolabayo, kyokka zo bbanka zanguwa okukinnyonnyola, nga bwe zaagendera mu z’akatabo n’ebiringa ebyo!

Amazima gali nti ssente z’abantu bangi zibbibwa mu bbanka gye bazitereka. Wiiki ewedde, Poliisi yakutte ababbi abaanyaga pulogulaamu za bbanka eziwerako, gye babadde bakozesa okubba ssente z’abantu.

Ku akawunti ezimu ez’abanaku babbako waakiri 200/- buli mwezi, ez’abagagga babba bukadde na bukadde. 

 Abantu bangi  bazze beemulugunya ku bbanka ez’enjawulo olw’okusanga ssente nga zibbiddwa ku akawunti zaabwe.

Poliisi yakutte abasajja bataano abagagga ffugge kuba babadde babba ssente ezisoba mu bukadde 200 buli mwezi!

Engeri gye bazibbamu:

Balina akuuma ke bakozesa akeefaanaanyirizaako ‘fulaasi disiki’ akayitibwa ‘Key log’. Akalina akolagana n’omukozi wa bbanka n’akassa mu kompyuta ye.

 Kano ke kasoma engeri bbanka gy’ekolamu emirimu gyayo, bw’oba nako obikkula akawunti z’abantu n’omanya ani alinayo ennyingi gw’onobba. Kamanya bw’oba olina ssente z’ofunye okuva ebweru, mmeka, na wa we zivudde.

Tekinologiya waako gwe bakozesa ne basimbuliza (transfer)ssente z’abantu ku akawunti zaabwe ne bazizza ku zaabwe (ababbi). Wali ku akawunti yo kiraga nti ggwe waziggyeeyo.

Okugeza bayinza okuggyayo ssente zo ne bakiraga nga ggwe eyakozesezza ATM n’oggyayo ezimu ng’oli Mukono, Ntebe n’ebitundu ebirala oluusi gy’oba togenzeeko!

Ye nno bw’oba okozesa nnyo ATM okuggyayo omuwendo gwa ssente ogumu buli kiseera, naawe ‘bakuyambako’ ne baggyangayo ezo, zo likodi ziraga nti ggwe oba waziggyeeyo!

Engeri endala gye bakozesa okunyaga ensimbi ku akawuntu z’abantu bakolagana oluusi n’abamu ku bakozi ba banka namuwa ebikwata ku muntu gwe babeera baagala okubba n’abookeza ku bikwata ku muntu oyo. Abawa amannya go, gy’okolera, gy’osula, akafaananyi n’omukono gwo (engeri gy’olambamu ebiwandiiko).

Nga bamaze okuguyiga, baloopa ku poliisi ne bawaayo ennamba y’essimu y’omuntu gwe bagenda okunyaga nti yababulako olwo ne bafuna ebbaluwa ebatwala mu kkampuni y’essimu okugisazisa.

Olwo wano nannyini ssimu abeera takyasobola kukozesa nnamba y’essimu ye ng’abafere be babeera bafuuse bannannyini nnamba eno.

Weetegereze ssente z’oggyayo

POLIISI erabula nti mwegendereze bbanka yo bw’ekukubira amasimu. Abafere bayinza okugenda mu bbanka n’akapapula akaggyayo ssente zo, oluusi oyinza okufuna ssimu eyo oba n’egenda ew’omufere ne bakutwalako ssente zo.

Bbo abafere bafuba nnyo okunoonya abantu abalina akawunti okuli ssente ennyingi kyokka nga bbo abakozi ba bbanka bafuba kunoonya akawunti okuli obusente obutono wabula nga bannanyini zo tebasobola kukyegendereza mangu.

Abaakwatiddwa kuliko Geoffrey Tusiime omusibi w’emmotoka ng’ono y’agambibwa okukulira ekibinja; Geoffrey Kalema omukozi mu bbanka ya Fina nga yakolako mu bbanka ya Equity, Godwin Othieno ddereeva mu bbanka ya Fina, Paul Mawanda akola ku tekinologiya ow’ekikugu (I.T)ne Tony Nsamba oluusi eyeeyita Ssajjabbi.

Okukwatibwa kigambibwa nti Othieno eyabadde ne Mawanda yatutte ‘Key log’ n’agiwa omu ku bakozi ba bbanka eno eya Equity e Wandegeya n’amusaba okugimuteera mu kompyuta ye n’oluvannyuma agimuddize wano we yatemerezza ku bakulu ba banka ne bamutwala ku poliisi gye yalonkomedde banne.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Idi Bin Ssenkubi agamba nti ‘Key log’ bw’eteekebwa mu kompyuta za bbanka, ebintu byonna ebikolebwa mu bbanka bigendako olwo ne basobola okumanya abantu be banabba.

Gye buvuddeko, omumyuka wa Gavana wa bbanka ya Uganda, Dr. Louis Kasekende yalabula nti okusoomoozebwa okuliwo ze bbanka za Uganda okukuuma ssente z’abateresi naddala abatono.

Ssente ze tutereka mu bbanka lwaki zibbibwa?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kafeera 220x290

Leero luno!

NG’ENSI eri ku bunkenke bw’ekirwadde kya Coronavirus, abamu ku Bannayuganda batandise okubiteekamu omuzannyo bo...

Gaali 220x290

Ono booda agiyita mmotoka?

ONO taata w’abaana ekiragiro kya Pulezidenti eky’emmotoka eza buyonjo okutikka abantu basatu yakifunye bulala....

Bitone2 220x290

Nze sijja kuyimba kambawe akatono...

NG’ABAYIMBI beeyiwa mu situdiyo okukola ennyimba ezikwata ku kirwadde ku Coronavirus n’okukubiriza abantu okugoberera...

Kcca2 220x290

Oba adduse tutwale ekigaali n’emmaali...

OMUVUBUKA eyabadde atundira ennanaansi ku kigaali ebigere tebiba kumweyimirira ssinga kati ali mu mbuzi ekogga....

Njagala ananjagala nga bwendi

Njagala ali wakati w’emyaka 50 - 55, alina omulimu, omwetegefu okundabirira, okunfunira eky’okukola n’okugenda...