TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Emirimu 8 gy'oba oyigiriza omwana mu mwezi ogusigaddeyo

Emirimu 8 gy'oba oyigiriza omwana mu mwezi ogusigaddeyo

Added 27th December 2011

OLUWUMMULA tulutambuzaako omwezi wabula ogusigaddeyo omwana akyasobola okukiganyulwamu.

Bya Herbert Musoke

OLUWUMMULA tulutambuzaako omwezi wabula ogusigaddeyo omwana akyasobola okukiganyulwamu. 

Abdru Ziraba, omubazzi e Bbanda agamba nti omulimu guno gwa mikono era omwana yenna omuto n’omukulu asobola okubaako  ne ky’ayiga wadde mu bbanga ttono.

Omwana asobola okubajja akameeza, entebe, n’ebirala ebitono. Ekirala ayinza n’okuyiga okukola dizayini ku bintu bino nga tekimwetaagisa kugenda mu kibiina.

Ekirungi ky’emirimu gino omwana asobola okwongerezaako okuva we yakoma. 

Ebirala omwana by’ayinza okuyiga mu bbanga ettono mulimu: 

1. Kompyuta: Omwana okuyiga okunyiga amapeesa, n’okunoonyako by’ayagala kikulu. Ekirala ayiga okuwandiikirako n’okuwereza obubaka. Abamu basoma okukanika n’ebirala. Kinokimuyamba okukuuma obwongo bwe nga buzuukufu mu kifo ky’okutuula n’atabaako ky’akola. 

2. Okusiba enviiri: Guno gumu ku mirimu egisinga okusasula naddala abawala kuba buli mukazi ayagala okusiba enviiri alabike bulungi ate nga osobola okugukolera awaka ng’otandikira ku bato.

3. Okuyooyoota enjala n’olususu nakyo kiba kirungi omwana okuyiga kuba byonna byetaaga okuyiiya ekikuuma obwongo nga bukola. 

4. Okutunga okw’ekyalaani n’engalo: Guno mulimu ogutalina buzibu bwonna kuba omwana asobola okukola n’afunayo ez’okulya ku ssomero 

Okusamba ekyalaani nagyo mulimu mulungi era omwana wo singa abeera ng’aguyize kimuyamba obutabulwa mulimu ng’amalirizza okusoma.

5. Okukanika: Nga ojeeko okugenda mu kibiina okusoma obwa makanika, osobola okutwala omwanawo mu galagi erimu abantu abamanyi okusomesa okukanika n’ayigirizibwa obwa makanika.

6. Okuluka n’okutunga ebyemikono: Okuluka ebitambaala, ebimuli by’oku mmeeza, ebyokwewunda by’abakyala n’ebirala nabyo omwana asobola okubikola. Kino kimuyamba okuyiga okuyiiya mu bintu ebiriwo nga tataddeemu ssente.

7. Okufumba keeki n’ebyokulya ebirala nga kabalagala byonna biyamba omwana. Asobola okukola eby’awaka oba eby’okutunda. Bino byonna asobola okubikolera waka oba ku mulimu w’okolera bw’oba oyinza okubeera naye.

8. Waliwo emirimu egyetaagisa ssente entono ddala okusomesa omwana kyokka nga gizza amagoba. Okukola ssabbuuni, emisubbaawa n’ebirala omwana asobola okubiyiga mu bbanga ttono n’asobola okubaako  ne kye yeekolera ne bw’aba tasobodde kusoma kutuuka wala. 

Bino biyamba okukuuma omwana ng’alikoky’akola n’atafuna budde butaayaaya ate ng’ayiga emirimu egijja okumuyamba mu biseera by’omu maaso ne bw’aba amaze okusoma.

Emirimu 8 gy’oba oyigiriza omwana mu mwezi ogusigaddeyo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....