TOP

Abatigomya Kaleerwe batandise okubakwata

Added 3rd February 2012

ABAKULEMBEZE ku Kaleerwe ne poliisi batandise okuyigga n’okukwata abamenyi b’amateeka abatigomya ekitundu. Kino kiddiridde Bukedde okutegekerayo olukiiko lwa Mugobansonga abatuuze mwe baagasimbaganira n’abavunaanyizibwa ku bizibu byabwe ng’olwasoose lwabadde ku Kaleerwe.

Bya Moses Lemisa

ABAKULEMBEZE ku Kaleerwe ne poliisi batandise okuyigga n’okukwata abamenyi b’amateeka abatigomya  ekitundu. Kino kiddiridde  Bukedde okutegekerayo olukiiko lwa Mugobansonga abatuuze mwe baagasimbaganira n’abavunaanyizibwa ku bizibu byabwe  ng’olwasoose lwabadde ku Kaleerwe.

Mu lukiiko luno mwabaddemu  omukyala Maginoti Najjemba eyatulise n’akaaba ng’alumiriza poliisi okumusaba ssente okukwata abaakuba mwannyina Steven Maginoti.

Kino kyawalirizza abakulira Poliisi okusitukiramu ne bassentebe  ba zooni okutandika okukuba enkiiko ne bakubaganya ebirowoozo  ku nsonga ezibaluma era Dobbi Zooni etwalibwa Paul Mukwaya y’emu ku zisinze  okulondoola  obumenyi bw’amateeka bumalibwewo mu kitundu kyabwe.

Ku Ssande abatuuze beekozeemu omulimu ne bayigga Asuman Ssali abagambibwa okukulira abakuba obutayimbwa  nga kigambibwa nti  ye yakuba Steven Maginoti n’amunyagako essimu ne ssente n’addusibwa e Mulago ng’ali mu mbeera mbi.

Poliisi yatandise okukwata  abamu ku banne ba Ssaali b’agambibwa okukuba nabo obutayimbwa ababadde baliira ku nsiko nga bayambibwako abatuuze.

Abaakwatiddwa kuliko Toofa Kanyike 19 ng’ono yasoose kukuba basirikale n’abakakiiko ka LC, Charles Lubega  ng’ono kigambibwa nti gye buvuddeko yafumita omuntu ekiso kyokka era baamusanze n’akambe k’afumisa abantu, Geofrey Ssekitto ne Samu Kikabi, ng’ono waliwo eyamulumiriza nti alina ekibinja ky’abavubuka b’atambula n’abo ekiro ne batigomya abantu.

Ku Lwokubiri abatuuze b’omu Dobbi Zooni  baakubye olukiiko ne basiima Bukedde okutwalayo olukiiko lwa Mugobansonga lwe baagambye lubayambye ku bumenyi bw’amateeka.

Mu lukiiko luno  olwakubiriziddwa Ssentebe Paul Mukwaya, abatuuze baasoose kuyombagana nga bagamba nti singa Bukedde teyatwalayo lukiiko kitegeeza nti ensonga z’ebyokwerinda tezandikoleddwako. Abatuuze mu lukiiko lwa Bukedde baayogera ku nsonga nnyingi nga muno mwalimu nga zooni bwe zitalina bakulira byakwerinda. Kino kyawaliriza Mukwaya okubalonda mu bwangu n’abalaga abatuuze, nga kuliko Steven Buyondo, Ben Lutaaya nga bano bagenda kuyambibwako  abatuuze.

Basabye Yahaya Kakooza, akulira ebyokwerinda mu Kawempe abuulirize kye yabasuubiza eky’okuggala ofiisi eri okumpi ne Poliisi gye bagamba nti batulugunyizaamu abantu kyokka nga temanyiddwa. Baayongeddeko nti bukya Kakooza alagira abagikulira eggalwe tewali kyali kikoleddwa okuggyako okugenda mu maaso n’omulimu gwayo  ogw’okutulugunya abantu.

Baayisizza n’amateeka amapya abatuuze ge balina okugoberera ng’ebbaala zirina kukoma ssaawa 6.00 ez’ekiro olwo anaasangibwa ng’agiggudde waakuvunaanibwa, abatuuze bonna balina okufuna kaadi z’ekyalo eziboogerako, teri muvubuka yenna atabeera mu kitundu ekyo akkirizibwa kutuulamu kumala ddakiika ssatu, abatuuze balina okukomya okutambula ekiro.

Abatigomya Kaleerwe batandise okubakwata

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr.Tamale

Fr. Tamale waakuziikibwa Bu...

Fr.  Joseph Tamale 39 afudde oluvannyuma lw'okutawaanyizibwa ekirwadde kya Puleesa n'ensigo. W'afiiridde, abadde...

Omutaka Gabunga, Mubiru  (wakati) ne Benon  Kibuuka (ku ddyo) ng'abasabira omwoyo gwa Ssaabasumba e Lubaga.

Bannaddiini musse ekitiibwa...

OMUTAKA Gabunga,Mubiru Zziikwa owookubiri, asoomoozezza Bannaddiini ku kussa ekitiibwa mu buwangwa n'Ennono. ...

Betty Maina (ku kkono) , minisita Oryem ne Amelia Kyambadde oluvannyuma lw'okussa omukono ku ndagaano.

Gavt. ya Uganda ne Kenya zi...

GAVUMENTI ya Uganda ne Kenya zitadde omukono ku ndagaano egendereddwaamu okumalawo emiziziko egibaddewo wakati...

Lukyamuzi ne Kasibante.

Lukyamuzi ne Kasibante bavu...

ABALWANIRIZI b'eddembe ly'obuntu bawakanyizza emisolo emipya gavumenti gy'ereeta mu mbalirira y'ebyensimbi ey'omwaka...

Abasiraamu nga basimba ekipande ku poloti eyassibwa ku ttaka ly'Omuzikiti  e Kiyunga mu Mukono era ekifo baakyeddiza.

Abasiraamu beddizza ettaka ...

ABASIRAAMU b'omu disitulikiti y'e Mukono abali wansi wa Mukono Muslim District Council batandise okweddiza ettaka...