TOP

Ababadde bafera abantu e Ntebe babakutte

By Musasi Wa

Added 9th March 2012

ABAVUBUKA ababadde beeyita abakozi ba minisitule y’amasannyalaze n’obugagga obw’omu ttaka ne bafera abantu nga babasuubizza okubawa emirimu bakwatiddwa.

2012 3largeimg209 mar 2012 094023830 703x422

Bya Kigongo Ssebalamu                           

ABAVUBUKA ababadde beeyita abakozi ba minisitule y’amasannyalaze n’obugagga obw’omu ttaka ne bafera abantu nga babasuubizza okubawa emirimu bakwatiddwa.

Christopher  Mbularina, nga muyizi ku yunivasite e Nkumba ne Eziekel Muloni, nga mutuuze we Kawotto Zooni mu Kajjansi, be baakwatiddwa ku wooteeri ya Windsor Lake Victoria nga bakozesa abantu yintaviyu balyoke babawe emirimu.

Okusinziira ku Siraje Bwokino gwe baanyazeeko ssente okuva e Budaka,  baabadde bamukozesa  yintaviyu  kwe kubeekengera nti bandiba abafere  kwe kwemulula n’akubira poliisi essimu eyazze  n’ebakwata.

Bwokino yategeezezza nti baamusabye akakadde ka ssente kamu kyokka ng’ezitandikirwako emitwalo 10 ng’amaze okuzisasula.

Amyuka kamisona mu kitongole ky’amafuta, Honey Malinga yayitiddwa n’akola sitatimenti ku poliisi e Ntebe n’ategeeza nti bo ng’ekitongole ekivunaanyizibwa ku mafuta, tebalina muntu   gwe baawa buyinza kugabira bantu mirimu.

Akulira bambega ba poliisi e Ntebe,  Joseph Ssentamu yakubirizza abantu okwewala abafere. Yategeezezza nti abavubuka bano bagenda kubatwala mu kkooti bavunaanibwe.
 

Ababadde bafera abantu e Ntebe babakutte

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...