TOP

Banunudde omwana mu bwayaaya

Added 28th April 2012

OMWANA eyeewaggula ku bazadde be n’ajja mu Kampala okukola obwa hawusigaalo azziddwayo mu kyalo ewaabwe oluvannyuma lw’ababadde bamukozesa okuloopebwa ku Poliisi y’e Katwe.

Bya Ahmed Mukiibi

OMWANA   eyeewaggula ku bazadde be   n’ajja mu Kampala okukola obwa hawusigaalo azziddwayo mu kyalo ewaabwe oluvannyuma lw’ababadde bamukozesa okuloopebwa ku Poliisi y’e Katwe.

Mariam Tusanyuke  ow’emyaka 16 ng’abadde akola obwa hawusigaalo  e Busaabala yanunuddwa ekibiina kya Katwe Child Labour Advocates Association (KCLAA) n’ekya Platform for Labour Action PLA abaamukoledde mu nteekateeka ez’okumuddizza bazadde be.

Bazadde b’omuwala ono ye Yonah Zironda  ow’oku kyalo Nkombe mu disitulikiti y’e Mayuge mu Busoga omwana ono gye yadduka emyaka ebiri egiyise nga yakamaliriza okutuula P7.

Ab’ekibiina kya PLA ne KCLAA baakolganye n’ekibiina ekikola ku nsonga z’abaana  e Jinja ekya Child Restoration  Outreach (CRO) abaatuusizza omwana ono eri bazadde be.

Omukungu wa PLA, Simon Peter Omoro  yategeezezza nti  baakolganye ne Poliisi y’e Katwe  okununula omwana ono okuva gy’abadde akozesebwa mu bukyamu  okutuusa lwe baamutuusizza e Jinja  ne bamukwasa aba CRO abaamutuusizza ku bazadde be.
 

Banunudde omwana mu bwayaaya

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.