TOP

Abeefudde aba sipensulo ne babba bakwate

Added 24th August 2012

BANO abasajja tebawena! Olaba baakuunye n'obusente bw'omulwadde abadde agenda mu ddwaaliro! Wabula nabo poliisi yabatebuse n'ebakwata nga kati batemeza mabega wa mitayimbwa!

Bya ALI WASSWA

BANO abasajja tebawena! Olaba baakuunye n'obusente bw'omulwadde abadde agenda mu ddwaaliro! Wabula nabo poliisi yabatebuse n'ebakwata nga kati batemeza mabega wa mitayimbwa!

Abakwate ye; Reagan Muhwezi mutabani w'omugenzi Kadoma ow'omu Mbarara ne Kevin Muhebwa ow'e Mitoma, bombi abaakumirwa ku poliisi y'e Ishaka, kyokka munnaabwe yadduse.

Baabadde beefuula abavuzi ba sipensulo nnamba UAE 953* mwe babbira abasaabaze okujula okubaleka obukunya ku luguudo lwa Mbarara - Bushenyi. 

Poliisi y'e Ishaka era ekoze n'ekikwekweto 'kafungula buli jjinja' mw'eyoledde ababbi n'abasobya ku bakazi! Akulira poliisi eno, Jimmy Akolo agambye nti agabbi gano gaakwatiddwa ku Lwokusatu oluvannyuma lw'okugakettera ebbanga.

Baabadde baakamala okunyaga abasaabaze, be baggye e Rwetuuha okudda e Ishaka ng'omu abadde agenda mu ddwaaliro lya KIU baamubbyeeko 50,000/- (ez'okwejjanjabisa) ate omulala 80,000/-.

Abeefudde aba sipensulo ne babba bakwate

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengoozi ng'alaga tayiro z'akola.

Okukola tayiro okuva mu bis...

“ Nze nabonaabona n'okunoonya emirimu nga n'akamala yunivasitte, kyokka olw’okuba nali nfunye obukugu mu kukola...

Christopher Kasozi ng'awa ebyennyanja emmere.

Abalunzi b'eby'ennyanja bal...

ABALUNZI b’ebyennyanja ku mwalo gw’e Masese e Jinja abeegattira mu kibiina kya ‘’Masese Cage Fish Farmers Co-operative...

Looya wa Ssempala yeekandaz...

LOOYA wa Isaac Ssempala, bba w’omubaka Naggayi Ssempala yeekandazze n’abooluganda ne bava mu kkooti looya bw’alemereddwa...

KCCA ekutte abatundira ku n...

ABASERIKALE ba KCCA bakoze ekikwekweto  mwe bakwatidde abatembeeyi n’abatundira ebintu ku nguudo n’okubowa emu...

Omulangira Ssimbwa

Enfa y'Omulangira Ssimbwa e...

OKUFA kw’Omulangira Arnold Ssimbwa Ssekamanya kuleesewo ebibuuzo nkumu ebirese nga biyuzizzayuzizza mu Balangira...