TOP

Ab'eggye ezzibizi basaba Gavt. ebasasule

Added 28th September 2012

ABASERIKALE b’eggye ezzibizi mu Munisipaali y’e Kawempe basabye Gavumenti etandike okubasasula omusaala basobole okuyimirizawo famire zaabwe.

Bya MOSES LEMISA 

ABASERIKALE  b’eggye ezzibizi  mu Munisipaali  y’e Kawempe basabye Gavumenti  etandike okubasasula omusaala basobole okuyimirizawo famire zaabwe.

Abaserikale bano abali mu bitundu eby’enjawulo  ebiseera ebisinga batera okuyitibwa okuyamba ku Poliisi okukkakkanya obwegungo n’okulwanyisa obumenyi bw’amateeka  nga babeera mu ngoye eza bulijjo  ne ku mikolo emirala  egya Gavumenti  kyokka tebafuna musaala. .

Maj. Eddie Muwanga  omu ku  bakulira abasirikale ba Reserve Force e Kawempe  yategeezezza nti  abadde n’abaserikale 228 naye 28 baasalawo okuwummula olw’obutasasulwa nga kati waasigalawo 200  be bakola .

Muwanga agamba nti okusinziira ku bbaluwa gye yafuna okuva ewa Pulezidenti, abaserikale bano balina kusasulwa bitongole ebiba bibayise okukola emirimu egy’enjawulo.

Wadde abaserikale bano beemulugunya olw’obutasasulwa naye n’abatuuze babeemulugunyako nti be bamu ku beenyigira mu bumenyi bw’amateeka nga  bambala yunifoomu z’amagye. 

Wabula Muwanga bwe yabuziddwa ku bigambibwa nti abaserikale ba Reserve Force balina emmundu ze bakozesa okwenyigira mu bumenyi  bw’amateeka   mu Kawempe  yabisambazze n’agamba nti  tewali muserikale wa ‘Reserve Force’ akkirizibwa kukwata mmundu era bwe wabayo akikola yeetaga kukwatibwa kuba aba mumenyi w’amateeka. 

RCC wa Kawempe, Yahaya Kakooza yasiimye omulimu ogukolebwa abaserikale bano okuyamba ku Poliisi okukwata abamenyi b’amateeka naddala ku Kaleerwe.

 

Ab’eggye ezzibizi basaba Gavt. ebasasule

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.