TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Pulezidenti ayingidde mu by'abatandise okusuza abantu ku ttale

Pulezidenti ayingidde mu by'abatandise okusuza abantu ku ttale

Added 17th October 2012

Museveni awadde ebiragiro ku by’abagambibwa okutta abantu ne babalembeka omusaayi

Bya A.LUBOWA, J.NANTAKIIKA, J.NIYONZIMA, E.LUYIMBAAZI ne A. MUKIIBI

PULEZIDENTI Museveni alagidde poliisi okulwanyisa amangu abazigu abagambibwa nti batta abantu ne babalembekamu omusaayi ne bagutwala.

Bannayuganda abagumizza nti ebyogerwa nti waliwo abatwala omusaayi gw’abantu bwe bibeera ebituufu, bonna ababyengiddemu balina okukwatibwa bavunaanibwe kubanga ebitongole ebikuuma ddembe birina obusobozi okubayigga.

Museveni okulagira poliisi okukomya okusaaga yamaze kuwuliriza abaazirwanako okuva
mu disitulikiti y’e Nakaseke abaamutegeezezza nti mu bitundu bya Buganda bingi naddala Wakiso, Mityana, Mubende, Kiboga, Kyankwanzi ne Mpigi abantu basula bweru nga bakuuma olw’okutya ebibinja by’abazigu abasima amayumba ekiro ne basala abantu obulago nti omusaayi ne bagulembeka.

Ekiwandiiko ekyafulumiziddwaamaka g’Obwapulezidenti kyategeezezza nti mu nsisinkano eno eyabaddewo ku Lwomukaaga, Museveni yagambye nti “bwe kibeera nti batta abantu mu ngeri eno tetuyinza kubakkiriza era poliisi eteekwa okubakwata mu bwangu bavunaanibwe.”

LT. GEN. KALE KAYIHURA AYOGEDDE:
Kyokka omuduumizi wa poliisi Lt.Gen. Kale Kayihura ategeezezza nti obutemu bwonna obubaddewo poliisi ebulondoola nti kyokka tebukolebwa kibinja ky’esomye ekigambibwa okulembeka omusaayi ne gutwalibwa, wabula buzzi bwa misango obwa bulijjo obulina okulwanyisibwa ng’abatuuze tebateekeddwa ku bunkenke bususse.

Yannyonnyodde nti amaze okuyungula abaserikale bagende mu bitundu awazze wabeera ettemu lino bafeffette abateeberezebwa okulyenyigiramu kyokka n’akkaatirizza nti okunoonyereza okukoleddwa kulaga nti obutemu buno kikyamu okubuyita ‘kinywamusaayi’ oba obuyeekera kubanga ababukola abamu bakwatiddwa era bakunyiziddwa ne kizuulwa nti tebalina kakwate na kunywa musaayi ng’abatuuze bwe bakyogera.

POLIISI ERABUDDE KU KUTWALIRA AMATEEKA MU NGALO
Oluvannyuma lw’abantu b’e Nswanjere ku lw’e Mityana okwokya abasajja babiri be baabadde tebamanyi nga babateebereza okubeera mu kibinja ky’abasalako abantu emitwe, poliisi yabakubyemu olukiiko okwongera okusala amagezi g’okunywezza ebyokwerinda.

Mu lukiiko luno olwabaddewo ku Ssande, Ssentebe w’ekyalo kino John Tamale yategeezezza abakulu mu poliisi byonna ebyabaddewo nti abaayokeddwa baabadde tebamanyiddwa mu kitundu, nga tebamanyi Luganda era abantu ne babookya nga bagamba nti be
bakanywamusaayi abagambibwa okuva e Sudan ne Kenya ne batigomya ebyalo.

Ate ssentebe w’eggombolola y’e Muduuma, Robert Mugerwa yategeezezza nti yafunye amawulire nti abatta abantu babeera baagala musaayi nti balina gye bagutunda ku buwanana.

Yagambye nti waliwo abaamutegeezezza nti omusaayi gw’omuntu omu gugula wakati w’obukadde butaano n’omukaaga nga kati abatuuze bali mu kutya okusalwako emitwe era basula bweru nga n’abakazi batya okugenda mu nnimiro okuleeta emmere.

Kajjumba

Kwe kwongerako nti baawuliddeko nti waliwo ekibinja ky’abasajja munaana abavudde e Kakiri ne besogga ekitundu kyabwe okutta abantu balembeke omusaayi nti kati abantu olulaba ku muntu gwe batamanyi ne bamubuuza n’atamattama nga balowooza nti y’omu ku bali omunaana abagambibwa okubeera bakannywamusaayi.

Kyokka omuduumizi owa poliisi mu Disitulikiti y’e Wakiso, Vincent Irama yatangaazizza ku byayogeddwa Mugerwa nti si bituufu nti waliwo akatale k’omusaayi n’akkaatiriza nti abatta abantu batemu abaabulijjo.

Ate omuduumizi wa poliisi mu bukiikakkono bwa Kampala, Steven Tanui yalagidde abatuuze okuddayo mu maka gaabwe beebake otulo era n’alagira poliisi y’omu kitundu okutandika
okulawuna ekitundu kino ekiro n’abasuubiza n’okubawa emmotoka ssaako ne pikipiki za poliisi.

Wabula e Mityana, poliisi yatabukidde abatwalira amateeka mu ngalo era yatandise ebikwekweto okukwata abagambibwa okutta abaakwatibwa mu muyiggo abatuuze gwe bazze bakola nga mw’otwalidde n’ab’e Kalyankoko mu Busujju abaayokezza mmotoka Premio.

Kyokka omubaka wa Mityana North mu Palamenti, Godfrey Kiwanda yagambye nti abadde mu kitundu awali ebigambibwa okwekuusa ku kinywamusaayi nti era okutya gye kuli n’awa poliisi amagezi nti mu kifo ky’okutabukira abatuuze, amaanyi egamalire mu kukwata abagambibwa okukola obutemu obwewanisizza abantu emitima ne batuuka n’okubukazaako erya ‘Kinywamusaayi’.

Joel Aguma (ku ddyo) ng’ayogera mu lukiiko lw’abatuuze e Busunju

E KIBOGA, NAKASEKE, WAKISO NABO BATUDDE
Olukiiko ku butemu obuliwo ab’e Kiboga baalutuuzizza ku ggombolola e Bukomero ku Ssande ne basaba poliisi n’abebyokwerinda okwongera amaanyi mu bukuumi olw’ebigambibwa nti baazindiddwa abasala emitwe ne balembeka omusaayi.

Lwakubirizidddwa Ssentebe w’eggombolola eno Charles Katongole nga lwetabiddwaamu abakulembeze ba disitulikiti n’abapoliisi okuva mu Kiboga.

Ssentebe wa disitulikiti y’e Kiboga, Israel Yiga yasabye abatuuze okwekolamu obukiiko obukuumaddembe bw’abantu 10 abaneegatta ku poliisi batandikirewo okukuuma nga kino kyatandikiddewo ku Mmande okuva ku ssaawa 4:00 ez’ekiro .

Ate akola nga dayirekita w’ekitongole ekirwanyiza obuzzi bw’emisango mu poliisi (Crime Inteligence) Joel Aguma naye yasinzidde mu lukiiko olulala lwe yakubye e Busunju ku poliisi olwajumbiddwa ennyo abatuuze n’ategeeza nti eby’okusala abantu waliwo ababyongendemu ssupu okutiisa abalala era kiwadde abamenyi b’amateeka omwagaanya okunyagulula amayumba agabeera galekeddwaawo abatuuze nga basuze bweru mu kukuuma.

Yagambye nti Sharon Nakyeyune eyalina akaduuka e Mwera yasalwa omutwe kyokka abazigu tebalina kye baggya mu dduuka nti bakitwale nti ate owokubiri Robert Mutebi naye eyalina akaduuka e Nakyerongoose naye eyattibwa mu nzita yeemu kyokka olwo baali bazze kubba “Air Time” era poliisi yasobodde okulondoola abamutta ne bakwatibwa.

Eggulo, olukiiko olulala lwatudde ku ggombolola e Kakiri, era akulira bambega mu Kampala Maj. Charles Aineeyasoose okulambula ebimu ku byalo awagambibwa nti abatta abantu ne balembeka omusaayi basseyo abatuuze ne yeetonda olw’obulamu bw’abantu abattibwa wabula n’ategeeza nti abaabwenyigiramu batemu ssekinnoomu era abamu baakwatiddwa nga bakuumirwa ku poliisi e Kabalagala.

Ab’e Nakaseke nabo baatuuzizza olukiiko e Ssemuto ku nsonga y’emu kyokka omukungu wa poliisi avunaanyizibwa ku bitundu bya Buganda Richard Mivule n’abagumya nti bakkalire mu mayumba gaabwe kubanga poliisi emaliridde okulawuna ebitundu by’e Nakaseke okukwata abatemu abakuba ebituli mu mayumba ne batta abatuuze.

Pulezidenti ayingidde mu by’abatandise okusuza abantu ku ttale

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...

Fr. Dominic Kagoye  ng'akwasa Kironde (afukamidde wansi ) pikipiki gye baamutonedde,nnyina (mu gomesi) n'abaana be.

Omusomesa eyaziba amaaso ki...

Eyali Omusomesa wa Siniya okubala ne 'Physic's eyaziba amaaso mu ngeri eyewuunyisa ng'ali mu kibiina asomesa n'akubwa...

Museveni n'owa Tanzania bat...

Abakulembeze b'amawanga okuli owa Uganda Yoweri Museveni ne Samia Suluhu Hassan owa Tanzania batadde omukono ku...

Abaami ba Kabaka abaweereddwa eggaali.

Kabaka awadde abaami b'amag...

Ssaabasajja Kabaka asiimye n'awa abaami be abamagombolola 29 agokola essaza lye Buddu entambula. Obuyambi...