TOP

Omukutu gwa Bukedde TV 2 gugezesebwa

Added 27th November 2012

BUKEDDE TV etandise okugezesa omukutu omupya ogwa Bukedde 2 ezze mu kifo awabadde Urban TV nga nayo ya Vision Group.

Bya BENJAMIN SSEBAGGALA   

BUKEDDE TV etandise okugezesa omukutu omupya ogwa Bukedde 2 ezze mu kifo awabadde Urban TV nga nayo ya Vision Group.

Bukedde2 ezze ku mukutu 43 era omuntu okugituukako olina okugenda ku limooti ya ttivi yo, n’onyiga eppeesa erya ‘menu’  n’otuuka awali ‘Auto Search’ n’onyiga  ng’okkiriza olwo n’etandika okunoonya emikutu ne Bukedde 2 mw’egenda okujjira.

Maneja wa Bukedde TV, Hadijah Nabukenya yategeezezza nti ekiseera kino bali mu kugezesa nga bakuba nnyimba wabula nga wiiki weenaggwerako nga batandise okulaga pulogulamu abantu ze baagala.

“Kati tuli mu kugezesa naye wiiki weenaggwerako nga tutandise okulaga abantu bye baagala ng’essasi kakongoliro, ekigwo ekiganda, eby’emizannyo n’ennyimba za Bannayuganda ate n’ebirala tukyafumba” Nabukenya bwe yannyonnyodde.

Omukutu gwa Bukedde TV 2 gugezesebwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiro Mayiga awabudde A...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga awabudde Abasumba b'Abalokole okukomya okwerumaaluma. Yabadde agenze...

Ssennyonga musajja wa buggy...

Endiga z'omugenzi Augustine Yiga katono ziffe essanyu bwe zirabye ku musajja wa Katonda Bro. Ronnie Makabai owa...

Ab'e Kawempe balaajanye ku ...

okulaajana kuno baakukoze oluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky’obwa kkansala bw’omuluka guno okukulemberamu...

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...