TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omugagga Lubega ne Muhangi bakyagugulana lwa paaka

Omugagga Lubega ne Muhangi bakyagugulana lwa paaka

By Musasi Wa

Added 1st January 2013

ENTALO z’ettaka lya paaka ya bbaasi z’Abaganda mu Kampala zizzeemu akakiiko akaludde nga katabaganya abagagga abakaayana bwe kafulumizza lipooti eraga nti Charles Muhangi addizibwe ekitundu awasimba bbaasi ate aliyirirwe ensimbi ezisoba mu buwumbi 70 ze yafiirwa.

2013 1largeimg201 jan 2013 072251763 703x422

Bya Hannington Nkalubo

ENTALO z’ettaka lya paaka ya bbaasi z’Abaganda mu Kampala zizzeemu akakiiko akaludde nga katabaganya abagagga abakaayana bwe kafulumizza lipooti eraga nti Charles Muhangi addizibwe ekitundu awasimba bbaasi ate aliyirirwe ensimbi ezisoba mu buwumbi 70 ze yafiirwa.

Kyokka omugagga Drake Lubega bwe bakaayana asekeredde Muhangi nti ebyokweddiza ettaka lya paaka eyo abyerabire.

“Eyo lipooti eyakoleddwa si kiragiro kya kkooti era terina buyinza bunzigyako ttaka lyange. Oba Muhangi ayagala okweddiza ettaka lino agende mu kkooti emuwe ekiragiro naye tasobola kukozesa lipooti kunsiguukulula,” Drake Lubega bwe yagambye.

Lipooti eyateekeddwaako amannya g’omulamuzi eyawummula Anna Magezi, yakoleddwa nga November 16, 2012. Eraga nti okukolebwa kyaddiridde pulezidenti Museveni okulagira minisitule w’ebyettaka okuyingira mu nkaayana z’ettaka lya paaka erigambibwa okuggyibwa ku Charles Muhangi mu bukyamu.

Minisita yalondawo akakiiko kanoonyereze n’okutabaganya enjuyi zonna ezikaayana era kaafulumizza lipooti ng’esaba minisitule y’ettaka eddemu yeetegereze ebyapa byonna ku ttaka lino n’engeri gye byakyusibwaamu.

Ettaka lino likaayanirwa abagagga okuli Charles Muhangi owa kkampuni ya Horizon Coaches ne Hajj Hamis Ssentongo owa UBOA / Central Kiboga Bus Co. abeemulugunya nti alikozesa ekiseera kino omugagga Drake Lubega yaligula mu bukyamu era nti yakola nsobi n’okukyusa paaka eno amannya n’agituuma Qualicel Bus Terminal.

Muhangi eyagezaako okweddiza ettaka lino gye buvuddeko kyokka basajja be ne batwalibwa nga tebalinnya, yategeezezza nti bulijjo balinda lipooti eno naye ke yafulumiziddwa eryo ettaka limaze okumuddira. 

“Lubega agenda kuliwa ssente zonna ze nfiiriddwa ku ttaka lino mu bbanga lye mmaze nga ngobeddwaako. Liizi ye yaggwako dda ate talina wadde biwandiiko era poliisi y’ekyamukwatiridde naye singa namugobye dda “Muhangi bwe yagambye.

Kyokka Drake Lubega yasekeredde Muhangi nti liizi bweba yaggwako ne kitegeezaaki nti ettaka litwalibwa buli muntu n’atali nnannyini lyo. “Oba

Muhangi agamba nti sirina biwandiiko bituufu ne liizi yange yaggwako ebibye yabibalaze era kiki ekimugaana okulyeddiza nga mutuufu,” Lubega bwe yagambye.

Omugagga Lubega ne Muhangi bakyagugulana lwa paaka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pass 220x290

EBIKULU MU BUKEDDE W'OLWOKUBIRI...

Bawambye omwana omulala ne basaba obukadde mukaaga; bamusse omulambo ne bagusiba mu kadeeya.

Owakccangayogeramulukiiko 220x290

Ab'e Bwaise batabukidde aba KCCA...

“Twagala Pulezidenti Museveni y’aba atulagira okusasula kuba n’amazzi gakyatuyingirira mwe mulabika temuvudde na...

Kizito 220x290

Basajjabalaba alaalise okulwanyisa...

NNAGGAGGA Hassan Basajjabalaba asinzidde mu kuziika Charles Muhangi n’alabula abaggagga abaagala okutwala ebintu...

Rite6 220x290

Poliisi ekubaganye n'aba takisi...

Mu kanyoolagana akaabaddewo omuserikale eyategeerekeseeko erya Kasirye yakubiddwa ejjinja era ono yatwaliddwa...

Lekwa 220x290

Muhangi afudde akkirizza okuliyirira...

Ssentebe w’e Nsangi, Abdul Kiyimba yasabye Ruhakana Rugunda okugonjoola eby’ebizimbe ebikaayanirwa kubanga bwe...