TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Okulonda kw'e Kenya kukalubizza entambula y’ebyamaguzi bya Uganda

Okulonda kw'e Kenya kukalubizza entambula y’ebyamaguzi bya Uganda

By Musasi Wa

Added 3rd March 2013

ABASUUBUZI Bannayuganda beemulugunya olw’olugendo oluwanvu lwe balina okukozesa okuyingiza ebyamaguzi mu ggwanga ng’obuzibu buva ku kulonda okw’enkya mu Kenya.

2013 3largeimg203 mar 2013 105917807 703x422

Bya ANTHONY SSEMPEREZA

ABASUUBUZI Bannayuganda beemulugunya olw’olugendo oluwanvu lwe balina okukozesa okuyingiza ebyamaguzi mu ggwanga ng’obuzibu buva ku kulonda okw’enkya mu Kenya.

Bangi ku basuubuzi bakozesa omwalo gw’e Mombasa okutikkula ebyamaguzi bino olwo ne kibanguyira okubireeta wano ku ssente ensaamusaamu naye kati balina kukozesa Dar- es Salam mu Tanzania nga kino kyongedde ku nsimbi ze bafulumya okubitambuza ekintu ekibakaluubiridde.

Omwogezi w’ekibiina ekigatta abasuubuzi mu Kampala Isa Ssekito, agamba: Okwewala embeera y’obunkenke e Kenya ebintu kati tubiyisa ku mwalo gwe Dar es -salaam, Mwanza, Tabora, Luzira oba okuva e Dar es- Salaam okutuuka e Mutukula.

Obuzibu obukiriko okuyisa ebyamaguzi ku mwalo guno olugendo luwanvu naye kino kireme kweyinuza basuubuzi kutandika kuseera bintu kubanga ensimbi ezeeyongeramu si nnyingi nnyo.

Ekkubo lino eriyita e Tanzania abasuubuzi bangi tebalijjumbidde ng’ate lisobola okubayamba mu kiseera nga kino nga Kenya bw’emaliriza okulonda.

Bannayuganda abakolera mu ggwanga lya Kenya tebandyongedde kusuubula byamaguzi, kujjuza sitooka zaabwe okutuusa ng’okulonda kuwedde.

Abasuubuzi abamu bongezza bbeeyi y’ebintu omuli ssukaali n’amafuta ky’agamba nti kino kikyamu kubanga abamu baagala okuliira mu kavuyo ate abalala beekwasa lugendo lwa Tanzania nti lubawaliriza okwongeza emiwendo.

Akulira abavuga ebimotoka ebitambuza ebyamaguzi, Charles Sserwadda agamba: Mmotoka ezisinga zibadde zisaze mu Kenya nga mu kino bangi batidde ekyagwawo mu 2007 mmotoka bwe zaayokebwa mu bwegugungo okuddamu okubatuukako.

Mmmotoka nnyingi baazookya mu bwediimo bwa 2007 n’okutuusa kati tebannasasulwa.

Ekirala, gavumenti tevuddeeyo kuyamba basuubuzi baffe, naddala abaayonoonerwa ebintu byabwe ku mulundi guli ate era tevuddeeyo kubasomesa, n’okubagumya ku mbeera y’ebyokwerinda singa obuzibu bubalukawo mu kulonda.

Ssekitto ayongerako nti, “Bannayuganda abakolera mu Kenya tebandyongedde kusuubula byamaguzi, kujjuza sitooka zaabwe okutuusa ng’okulonda kuwedde.

Abasuubuzi abamu boongeza bbeeyi y’ebintu omuli ssukaali n’amafuta ky’agamba nti kino kikyamu kubanga abamu baagala okulira mu kavuyo ate abalala beekwasa lugendo lwa Tanzania nti lubawaliriza okwongeza emiwendo”.

Okulonda kw''e Kenya kukalubizza entambula y’ebyamaguzi bya Uganda

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nsa 220x290

Nnejjusa ekyanziggya mu kusoma...

Omuyimbi Busy Criminal yejjusa ekyamuggya mu kusoma ntandike okuyimba, agamba nfubye okukuba emiziki naye tebinnaba...

Omugagga abadde avunaanibwa okwekomya...

Omugagga abadde avunaanibwa okwekomya ebintu bya mukyala we ayimbuddwa

Kwata 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA YATUUSE DDA...

Tukulaze omusajja gwe baakutte mu bukambwe ne bamukubisa ebigala by’emmundu mu Kampala. Aba famire ye bagguddewo...

Hib2 220x290

EBIKWATA KU KICONCO

EBIKWATA KU KICONCO

Co2 220x290

Akakiiko kakunyizza Kiconco ku...

Akakiiko kakunyizza Kiconco ku ttaka ly’e Lusanja