TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bannayuganda abali e Japan boogedde ebyama ku bya Iryn

Bannayuganda abali e Japan boogedde ebyama ku bya Iryn

By Musasi Wa

Added 19th May 2013

MAAMA wa Iryn Namubiru akomyewo kipayoppayo mu Uganda alondoole abaattisse muwala we enjaga. Muky. Justin Nyanzi abeera e Bungereza yazze ku Lwokusatu.

2013 5largeimg219 may 2013 065218753 703x422

Bya JOSEPHAT SSEGUYA NE MARTIN NDIJO

MAAMA wa Iryn Namubiru akomyewo kipayoppayo mu Uganda alondoole abaattisse muwala we enjaga. Muky. Justin Nyanzi abeera e Bungereza yazze ku Lwokusatu.

Wabula yatuukidde mu ddwaaliro ng’agamba nti okuva lwe yafuna amawulire g’okusibwa kwa muwala we e Japan, yafuna olumbe oluzze lumuluma.

“Ekisinga okunnuma kwe kuba nti bukyanga muwala wange asibwa, siyogerangako naye. Kyokka Iryn nga bwe mmumanyi sirowooza nti enjaga eyamukwasizza yagitwala agimanyi. Kirabika waliwo abaagimusiba naye kammale okwetegereza engeri gye yava kuno kubanga nange ebintu byonna mbadde mbisomera ku mukutu gwa Bukedde ogwa
yintanenti,” Muky. Nyanzi bwe yantegeezezza.

Mutabani we Thadeus Mubiru, maneja wa Iryn ye yabadde avuga maama ono eyatuuse ku Lwokusatu mu nnyonyi ya SN Brussels okumutwala mu ddwaaliro nga n’eddoboozi terivaayo bulungi.

Muky. Nyanzi alina enju e Makindye mu Klezia Zooni w’atera okubeera n’abaana be omuli Nickolas Mukasa addibwako Yvet Sseguya Irene abeera e Belgium. Iryn bw’aba tali Bufalansa w’abeera ne Thadeus Mubiru maneja we n’abaana abalala.

 

.....................................................................................................................................................................................

Ebirala ku Namubiru....

..............................................................................................................................................................................................

 

MWANNYINA WA IRYN AYOGEDDE

Mukasa agamba nti yeewuunya okulaba nga baakutte mwannyina gwe yayogeddeko ng’omuntumulamu.

“Olwo ssente ezo zonna yandibadde azaagaza ki? Alina ezimumala ate talina bizibu bingi kutuuka kukola ekyo. Naye tumanyi ajja kubiyitamu.” Mukasa bwe yagambye.

BANNAYUGANDA BALUMIRIZZA KIM

Amyuka ssentebe w’ekibiina ekigatta Bannayuganda abali e Japan, Twibu Ssekamatte yategeezezza nti baagenze ku poliisi nga baagala okulaba Iryn kyokka ne babagaana kuba nti ye bamumanyi nga Mufalansa sso ssi Munnayuganda.

“Kyokka twali tubisomye nti Iryn talina ngoye ate n’emmere y’Abajapani emulemye okulya era twesonzeemu ssente ne tuzimulekera wamu n’emmere n’engoye ez’okukyusa,” bwe yagambye.

Kyokka Bannayuganda abalala e Japan balumbye eyali pulomoota w’ekivvulu Iryn mwe yali agenda okuyimbira e Japan eyeeyita Kim Ueno ng’amannya ge amatuufu ye Hakim Tumwesigye nti talina w’ayinza kusinziira kuloopa kumuliyirira
bukadde 64 z’agamba okufi irwa era nti Kim ekivvulu kye yali ategese e Japan kyali kimenya mateeka kubanga talina
layisinsi ya gavumenti ya Japan kukola mulimu guno.

Bagattako nti Kim yakola kikyamu okutwala Namubiru ayimbe mu bivvulu bye ate nga viza baali bamufunidde ya mulambuzi ekikontana n’amateeka g’e Japan kubanga okuyimba mulimu oguvaamu ssente.

Okuvaayo bwe bati kiddiridde Kim okutiisatiisa okuloopa maneja wa Namubiru, Thadeus Mubiru gwe yakola naye endagaano ku lwa Namubiru amuliyirire ssente eziri mu bukadde 64 z’agamba okufi irwa oluvannyuma lwa Namubiru okukwatibwa ku kisaawe ky’ennyonyi ekya Narita bwe yali ayingira Japan.

IRYN YALI WAAKUYIMBA MU BIFO 3

Bannayuganda bano era baategeezezza nti Iryn yali waakuyimba mu bivvulu bibiri kyokka nga byonna awamu byali byakuvaamu ssente obukadde 20. N’olwekyo tewali ngeri Kim gy’ayinza kusaba kuliyirirwa bukadde 64 z’agamba nti ze
yafi irwa.

“Ekivvulu kya Iryn ekisooka kyabadde kirina kubeera mu Yotsukaido Cultural Hall ng’okuyingira buli muntu asasula ssente z’e Japan (yen) 3,000.

Bagamba nti ekifo kino kituuza abantu 120 ng’okukipangisa olunaku osasula Yen 8,000 (mu za Uganda nga 199,941/-) ekitegeeza nti singa kibeera kijjuzza kivaamu yen 360,000 (mu za wano 8,997,369/-),” bwe baawandiise.

Ekifo awaalina okubeera ekivvulu ekyokubiri bagamba nti kipangisibwa Yen 7,000 nga kituuza abantu 150 era kino kyali kisuubirwa kuvaamu Yen 450,000 (mu za Uganda 11,246,711/-) omugatte ebivvulu byombi bw’obalirira bivaamu Yen 810,000 (mu za Uganda 20,244,080/-).

Wabula Kim bwe yabadde abalirira obukadde 64 yategeezezza nti waabaddewo n’obubaga obulala bwe yabadde ategese nga Iryn alina okubeerako okusanyusa abantu nga ku bubaga buno kuliko obw’okutambulira ku mmeeri ey’okwejalabya.

Bannnayuganda bano bagamba nti beewuunya okulaba nti Poliisi ya Uganda tennabaako ky’ebuuza Kim ne maneja we Mubiru sso nga be baatikka Iryn ebintu.

Bannayuganda abali e Japan boogedde ebyama ku bya Iryn

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...