TOP

Bukenya awadde Iryn ssente

By Musasi Wa

Added 23rd May 2013

POLOF. Gilbert Baalibaseka Bukenya ayingidde kampeyini y’okununula omuyimbi Iryn Namubiru eyakwatibwa n’enjaga e Japan.

2013 5largeimg223 may 2013 065157363 703x422



Bya JOSEPHAT SSEGUYA NE AHMED KATEREGGA

POLOF. Gilbert Baalibaseka Bukenya ayingidde kampeyini y’okununula omuyimbi Iryn Namubiru eyakwatibwa n’enjaga e Japan.

Bukenya asasudde ssente ezeetaagisa okukola ku musango gwa Iryn ali mu kaduukulu ka poliisi y’e Chiba Prefectural okutuusa nga May 24, 2013 lw’agenda okutwalibwa mu kkooti okusalawo oba alina omusango.

Bukenya gwe twakubidde essimu ng’ali e Nairobi mu Kenya eggulo ku Lwokubiri, yategeezezza nti, “kituufu kampeyini y’okununula mukwano gwange nagiyingidde...” Bwe yabuuziddwa ssente z’awadde yagaanyi okuzaasanguza wabula n’agamba nti obuyambi bwonna obwetaagisa, ye w’ali.

Gye buvuddeko, abagagga mu Kampala beekozeemu ekibiina kya ‘Save Iryn Project’ mwe bayita okukung’aanya ssente z’okutaasa Iryn.

Balaam Barugahare (Pulomoota wa Iryn mu Uganda) yategeezezza nti ekibiina kino kirimu Capt. John Kassami bboosi wa Iryn mu Fusion Band, BMK, maama wa Iryn Justin Nyanzi, ye kennyini n’abalala.

 

................................................................................................................................................

Ebirala ku Namubiru....

..................................................................................................................................................

 

Eggulo, waliwo eyagenze ku mukutu gwa ‘facebook’ n’alabula abantu ku bibiina ebisondera Iryn ssente mu bukyamu.

Omukutu gwalaze nti, ssente zonna zirina kukung’aanyizibwa Balaam, Thadeus Mubiru (maneja wa Iryn) ne Polof. Gilbert Bukenya.

Wabula Balaam agamba nti abaawandiise ebintu bino beeyise ye, naye si ye nnannyini mukutu ogwo.

ENKOLAGANA YA BUKENYA NE IRYN

Mu 2010, Bukenya yasisinkana Iryn ku wooteeri ye eya Katomi ku lw’e Ntebe gye baabakubira ekifaananyi nga beegudde mu bifuba. Era wano bakkaanya, Iryn ayimbire nnyina wa Bukenya oluyimba olumuwaana olwa ‘Nabulo’.

Mu 2011, Iryn yayiiya oluyimba ‘Nabulo’ ng’awaana maama wa Bukenya, Fransisca Nabulo.

Mu October wa 2011, Iryn yatongoza olutambi lwe ‘Birowoozo’ era Bukenya eyali yaakava mu kkomera, ye yali omugenyi omukulu.

Iryn bwe yayimba oluyimba lwa ‘Nabulo’, Bukenya n’akaaba.

Bukenya awadde Iryn ssente

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sam2 220x290

Sam Mukasa ayingidde goloofa ye...

Yiino goloofa ya Sam Mukasa eyogeza banne obwama!

8714805438505141082996706452061019224145920o 220x290

Museveni ne Kagame basisinkanye...

Kyaddaaki Pulezidenti Museveni ne mukulu munne owa Rwanda, Paul Kagame beefumbye akafubo ku nsalo ya Uganda ne...

Kasa 220x290

Maama kalimunda tonyiga bbebi ennyindo...

ONO maama kalimunda tatya kunyiga bbebi nnyindo olw’engeri gy’akulukuunya olubuto lwe ku musajja.

Omukyalangaatudde 220x290

Laba byana biwala ebyanywa amata...

Bw’oba otambula, osanga ebyana ebitambulira mu bibinja nga byesaze obugoye obukulengeza ‘waaka’ nga ‘n’ebithambi’...

Firimu 220x290

Eyali asoma obwafaaza alumbye Mbarara...

FERDINAND Lugobe Pike eyabulako akatono okufuuka omusosodooti ayingidde ekisaawe ky’okuzannya Ffirimu.