TOP

Omuyimbi eyafumitibwa Rabadaba ekiso afudde

By Musasi Wa

Added 28th July 2013

OMUYIMBI Rasta Thadius Bayego owa Good Lyfe ng''amannya ge amatuufu ye Tedious Buyego, eyaalabikira mu vidiyo y''oluyimba lwa Good Lyfe olwa "Chamila the teacher" asangiddwa ng''afudde mu nju ye e Nsambya.

2013 7largeimg228 jul 2013 153414747 703x422



Bya Musasi Waffe

OMUYIMBI Rasta Thadius Bayego owa Good Lyfe ng'amannya ge amatuufu ye Tedious Buyego, eyaalabikira mu vidiyo y'oluyimba lwa Good Lyfe olwa "Chamila the teacher" asangiddwa ng'afudde mu nju ye e Nsambya.

Okusinziira ku muganda wa Bayego amanyiddwa nga Tony Nsubuga abadde asula n'omugenzi e Nsambya Central Zooni one nga n’omugenzi gy’abadde abeera, Buyego yafudde alaajana obulumi Raba Daba amannya ge amatuufu Faisal Seguya bwe yamutuusaako mu mwaka gwa 2011 bwe yamufumita ekiso mu lubuto.

Nsubuga yagambye nti okufa kwa muto we kuvudde ku biwundu ebyamutuusibwako mu lubuto ebibadde bittuka buli kadde. Okuva lwe yafumitibwa enfunda nnyingi ekiwundu kibadde kittuka ne kivulula omusaayi n'addusibwa mu ddwaaliro e Nsambya okufuna obujjanjabi ng'alumizibwa ebitagambika!



  Nsubuga ng'alabirira muganda we Bayego ku ntandikwa y'omwaka guno.

Raba daba yafumita Bayego ekiso mu lubuto bwe yamusisinkana ku bbaala ya De Posh e Kabalagala amatumbibudde Rabadaba bwe yayagala atuule mu kifo Bayego weyali n’omuntuwe wabula Bayego n’ayagala okumulemesa okutuulawo n’ayagala amugyewo ku kifuba olutalo we lwatandikira n’amufumita ekiso.

Nsubuga agamba nti okuva olwo baali bakkaanyizza Rabadaba ayambengako ku mugenzi mu bujanjabi wabula ebiseera bingi azze amwepena nga ne bw’amuwa obuyambi buba bwa muswaba n’amala ebbanga ddene.

Aludde ng’ajjanjabwa mu ddwaaliro e Nsambye gye yasooka okuddusibwa nga biwalattaka nga yaakafumitibwa era gy'abadde ajjanjabirwa.

...................................................................................................................................................................

Ebirala ku Raba Daba......

Eyafumitibwa Rabadaba ali bubi

.....................................................................................................................................................................

Muganda wa Bayego omulala ayitibwa Allan Olum nga naye abeera Nsambya yakukkulumidde Rabadaba n'agamba nti okuva muganda we lwe yafumitibwa ekiso, Raba Daba tamuwanga ku buyambi bwonna ate nga ye yamufumita ekiso.

Nsubuga agamba omugenzi alese omwana omu amanyiddwa mu butongole.

Buyego waakuziikibwa Lukaya ku Mmande ku ssaawa 8:00 ogw'emisana.

Rabadaba bakira omusasi waffe amukubira essimu nga takwata era n’abooluganda lw'omugenzi baategeezezza nti nabo baagezezzaako okumunoonya nga tekubikako kimunye wadde okukwata essimu.

Bayego naye yava mu kibiina kya Leone Island ekya Jose Chameleone ne banne Weasel ne Moze bwe baakola Good Lyfe.

Ras. Thadius Buyego eyafumitibwa omuyimbi Rabadaba afudde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sam2 220x290

Sam Mukasa ayingidde goloofa ye...

Yiino goloofa ya Sam Mukasa eyogeza banne obwama!

8714805438505141082996706452061019224145920o 220x290

Museveni ne Kagame basisinkanye...

Kyaddaaki Pulezidenti Museveni ne mukulu munne owa Rwanda, Paul Kagame beefumbye akafubo ku nsalo ya Uganda ne...

Kasa 220x290

Maama kalimunda tonyiga bbebi ennyindo...

ONO maama kalimunda tatya kunyiga bbebi nnyindo olw’engeri gy’akulukuunya olubuto lwe ku musajja.

Omukyalangaatudde 220x290

Laba byana biwala ebyanywa amata...

Bw’oba otambula, osanga ebyana ebitambulira mu bibinja nga byesaze obugoye obukulengeza ‘waaka’ nga ‘n’ebithambi’...

Firimu 220x290

Eyali asoma obwafaaza alumbye Mbarara...

FERDINAND Lugobe Pike eyabulako akatono okufuuka omusosodooti ayingidde ekisaawe ky’okuzannya Ffirimu.