TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Munnayuganda ow’e London asazeeko mukazi we obulago

Munnayuganda ow’e London asazeeko mukazi we obulago

By Musasi Wa

Added 1st August 2013

BANNAYUGANDA ababeera mu Bungereza bali mu kiyongobero oluvannyuma lwa munnaabwe abeerayo okusala mukazi we obulago n’amutta ng’amuteebereza okwenda.

2013 8largeimg201 aug 2013 065521963 703x422LONDON, Lwakusatu

BANNAYUGANDA ababeera mu Bungereza bali mu kiyongobero oluvannyuma lwa munnaabwe abeerayo okusala mukazi we obulago n’amutta ng’amuteebereza okwenda.

David Kikaawa Nsubuga ye yasse mukazi we, Lina Keza gw’abadde alinamu omwana ow’emyaka ebiri era nga kigambibwa nti we yamutidde abadde lubuto. Lina abadde nzaalwa y’e Rwanda ng’e Bungereza ayolesa misono.

Kikaawa abadde abeera e Leyton mu East London, bwe yamaze okutta mukaziwe n’agenda mu kiraabu yaabwe eyitibwa Club 791 mu kitundu ky’e Croydon, South London ne yeewa obutwa ne yetta. Club 791 yali ng’anzi nnyo mu Bannayuganda.

Munnayuganda abeera e London eyayogeddeko erinnya erimu erya Nsereko yagambye nti famire ya ba Kikaawa bamuzaala Butambala era nga baali Basiraamu oluvannyuma ne bakyuka ne badda mu Bukrisitaayo. Famire ya Kikaawa okusinga baakulira Lungujja mu Kampala.

BANNAYUGANDA ABASSE BAKAZI BAABWE

Mu 2010 Munnayuganda omulala George Kibuuka eyali abeera mu kitundu ky’e Southampton yasingibwa omusango gw’okutta mukyala we Margaret era ng’okukola kino yasooka kuwa baana baabwe abasatu ebiragalala beebake.

Kibuuka bwe yamala okutta mukyala we ne yeefumita ekiso ku lubuto n’amira n’eddagala erifuuyira ebirime ng’ayagala afe kyokka ebyembi Poliisi yamusanga tannafa n’emutwala mu ddwaaliro n’ajjanjabwa oluvannyuma n’asimbibwa mu kkooti.

Wabula oluvannyuma kyazuuliddwa nti Munnayuganda David Kikaawa Nsubuga 38 agambibwa okusogga mukazi we gw’alinamu omwana ow’emyaka ebiri ekiso n’amutta teyesse wabula yakwatiddwa Poliisi mu kibuga London.  Kirabika ye yeebise.

David Kikaawa Nsubuga oluusi abadde eyeeyita David K. Goodlyfe agambibwa okutemula, Linah Keza Tumusiime, 29 Omunyarwanda, kiteeberezebwa nti entabwe yavudde ku Kikaawa okuteebereza Linah okuganza omusajja omulala.

Ettemu lyabadde mu nnyumba ya Lina ku luguudo King Edward Road e Leyton, mu kitundu kya East London, Kikaawa gye yamulumbye ku ssaawa 10.00 ez’ekiro ku Lwokusatu n’amufumitafumita omubiri gwonna n’amusala n’obulago ng’embuzi, omuwala n’afiirawo.

Omwana waabwe ow’emyaka esatu Holy yasangiddwa ng’akaabira ku mulambo gwa nnyina mu kitaba ky’omusaayi.

OLINA KY’OMANYI KU KIKAAWA OBA FAMIRE YE? Weereza obubaka bw’essimu ng’owandiika ekigambo AMAWULIRE ozzeeko obubaka bwo oweereze ku 8338 oba kuba essimu 0414-337204.
 
 
 

Munnayuganda ow’e London asazeeko mukazi we obulago

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...