TOP

Specioza abotodde ebyama mu kuziika bba

By Musasi Wa

Added 8th August 2013

Eyali omumyuka wa Pulezidenti Specioza Naigaga Wandera asinzidde mu kusabira bba Salongo Eng.Charles Kazibwe Nsubuga, n’akuddaalira ab’ekika kya bba nabamujjeejja nga bweyanoba,nti guno sigwegusoose okunona ku Kazibwe,yanobako dda mu gy’ekinaana nga bakagatibwa.

2013 8largeimg208 aug 2013 191446653 703x422Bya Moses Nyanzi ne Moses Lemisa

Eyali omumyuka wa Pulezidenti Specioza Naigaga Wandera asinzidde mu kusabira bba Salongo Eng.Charles Kazibwe Nsubuga, n’akuddaalira ab’ekika kya bba nabamujjeejja nga bweyanoba,nti guno sigwegusoose okunona ku Kazibwe,yanobako dda mu gy’ekinaana nga bakagatibwa.

“Nze newuunya abakiteeka ku Gavumenti ya NRM,nti yeyatabula amaka gange,Ssebo Ssabasumba nzikkirizza nkubuulire n’abalala ensonga bweyimiridde,mu 1984 mu mwezi gwa January nanoba,ate Kazibwe yagenda okunsisinkana nga n di mu nnabyafuzi era nga ndimukulembeze mu kibiina kya DP,eby’obufuzi bya NRM,tebitabula nga ku maka gange wabula nakoowa kunyigirizibwa songa wenali ntuuse nga ndi mukazi wabuvunaanyizibwa atasobola kuguminkiriza mbeera eyo”.


Abaana ba Kazibwe nga bateeka ekimuli ku keesi ya kitaabwe. Ekif; Moses Lemisa.

Bino Wandera yabituuseko bweyabadde ayogera mu kusabira omwoyo gwa Bba Salongo Eng.Charles Kazibwe okwabadde mu Ekleziya e Gayaza nga kwakulembeddwa Ssabasumba Kizito Lwanga,nategeezza ng’okunobakwe mu gye 80 bwekwayingirwamu ennyo Omusumba Sekamaanya ebiseera era nawalirizibwa naddingana ne Bba.

Mu kubuulira Ssabasumba yakkikatirizza nga ekleziya bwetayawula kyegase nti era yo ebadde ekimanyi bulungi nga Salongo ne Nalongo bwebakyaali mu bufumbo obutukuvu,nti ate ekleziya erina kkooti yaayo ekola ku nsonga z’abafumbo ababa bafunye obutakkaanya nti era tesalangawo ku zabano okutuusa Mukama lwabawukanyiza nga bwebalagaana,era nasaba abantu okusonyiwagana nga nga waliwo ebitagenze bulungi.

Okuva ku kkono; Omumyuka wa pulezidenti Kiwanuka Ssekandi, Namwandu Specioza Wandera, sipiika Rebecca Kadaga n'omubaka Rosemay Sseninde mu kusaba e Gayaza. Ekif; Moses Lemisa.

Okusabira omugenzi kwetabiddwako Omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka Sekandi eyetise obubaka bwa Pulezidentiu mweyasasiridde abennyumba n’abemikwano era n’abagumya olw’okuviibwako omuntu afanana nga Kazibwe mu kiseera eggwanga weryetagira abantu nga bwabadde okulitwala maaso,era nga nomukubiriza wa Palamenti Rebbecca Kadaga,baminisita nababaka ba Palamenti abenjawulo bakwetabyeko.

Oluvannyuma Omulambo gwatwaliddwa ku bijja byabajjajjabe e Kayebe-Gayaza gyegwaziikiddwa ku saawa kkumi n’emu.
 

Specioza abotodde ebyama mu kuziika bba

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...