TOP

Engeri Black gye yakwatiddwaamu e Rwanda

By Musasi Wa

Added 18th October 2013

YATUUSE ku kisaawe ky’ennyonyi eky’e Kigali nga yenna yeekyusizza ennyindo ye eyali ennene bagirongoosezza esongoleredde ng’eyekiraalo ne ffeesi eyali engazi ng’ekyuse.



Bya MARTIN NDIJJO
YATUUSE ku kisaawe ky’ennyonyi eky’e Kigali nga yenna yeekyusizza ennyindo ye eyali ennene bagirongoosezza esongoleredde ng’eyekiraalo ne ffeesi eyali engazi ng’ekyuse.

Yabadde ayambadde kabbulawuzi akeeru, akakooti n’empale ng’asitudde kawala ke akato ng’alina n’omuwala omulala omukulu gw’atambula naye.

Abasajja basatu ababade bambadde ggaalubindi ne bamuva emabega ne bamukwata ku kibegabega nga mukwano gwo bw’anaakukwatako era olwabadde okukyuka ne basikayo densite zaabwe eza Poliisi ne bamweyanjulira n’ekyaddiridde kumusaba abalage paasipooti ye era bwe baagitunuddeko kwe kumutegeeza nga bw’akwatiddwa.

Eno y’engeri Shanita Namuyimbwa oluusi eyeeyita Bad Black eyamanyika ennyo mu Kampala olw’okuyiwaayiwa ssente n’okusula nga atiguka gye yakwatiddwaamu ng’enseesene eggulo ku kisaawe ky’ennyonyi e Kigali Rwanda nga yaakatuuka ng’aliko gy’ava.

Munnayuganda, Cyrus Luzinda eyabadde ku lugendo lwe ng’ava e South Afrika akomawo mu Uganda y’omu ku baalabye Bad Black ng’akwatibwa era ono yategeezezza nti zaabadde mu ssaawa nga 6:00 ez’emisana.

Okukwatibwa kwa Bad Black kiddiridde ekibaluwa ki bakuntumye ekyamuteekebwako kkooti ejulirwamu oluvannyuma lw’okudduka mu ggwanga bwe yagaana okuddamu okweyanjula mu kkooti nga bwe baali bamulagidde ng’ayimbulwa.

Bad Black amaze emyezi 10 bukya agenda bweru wa ggwanga oluvannyuma lw’okuyimbulwa kkooti ejulirwamu ku kakalu ka bukadde 100 mu December wa 2012, bwe yagisaba ng’agamba nti yali agenda Dubai kujjanjabwa mabeere agaali gamuluma.

Black okuddukira mu kkooti ejulirwamu yali amaze kusingisibwa musango gw’okubba ssente z’eyali muganzi we Omuzungu David Greenhalgh obuwumbi 11 era kkooti ewozesa abakenuzi e Kololo yali emusalidde ekibonerezo kya kusibwa myaka ena oluvannyuma lw’okumusingisa omusango guno.

Munne Medi Ssentongo bwe baabasingisa omusango yasibwa emyezi 18 kyokka ye ekibonerezo kye yakimazeeko n’ayimbulwa.

Akulira ekitongole kya poliisi y’ensi yonna mu Uganda, Asan Kasingye eggulo yategeezezza nga Poliisi y’e Rwanda bwe yabategeezezza ku kukwatibwa kwa Black era nga kati bakola ntegeka okulaba ng’akomezebwawo avunaanibwe okweyimirirwa mu kkooti n’atadda.

BLACK ABADDE ABEERA RWANDA
Kyazuuse era nga wadde Bad Black ku mukutu gwe ogwa Facebook abadde ategeeza nga bw’abeera e Dubai ekituufu abadde abeera Rwanda.

Gye buvuddeko Black yategeezezza nga bwe yali azzeemu okukwatagana n’Omuzungu eyali muganzi we era nti ono ebbanga lye bamaze aliko ebintu ebiwera by’amukoledde okuddamu okumusanyusa.

Black yasooka kuteeka kifaananyi ky’amaka ag’omulembe ku mukutu gwe ogwa Facebook n’ategeeza ng’Omuzungu Greenhalgh bwe yagamugulidde era ono n’agattako n’okumuwaananga entakera.

Kigambibwa nti amaka gano gasangibwa Kiyovu ku nkingizzi z’ekibuga kya Rwanda ekikulu Kigali.
Omu ku mikwano gya Black ow’oku lusegere atayagadde kumwatuukiriza mannya yatutegeezezza nga Black bw’aliko obukwakkulizo obuwerako bwe yawa Greenhalgh okumukolera bwe baba nga baagala okuddiramu ddala omukwano gwabwe omuli;

Okumugulira ennyumba n’okumusasulira ssente bamulongoose (plastic surgery) ennyindo ye ennene etoniwe.

Wiiki ewedde Black aliko ebifaananyi bye yateeka ku Facebook ye nga biraga nga bwe yali alongooseddwa ennyindo era kigambibwa nti yamumalako ddoola 25,000 (mu zawano nga 63,875,000/-).

Kigambibwa nti era ono abadde addako kumulongoosa makudde nga gano abadde ayagala geefaanaanyirizeeko ag’omuyimbi Nicki Minaj.

Black era yasaba Omuzungu amukkirize okuddamu okubeera ne famire ye ng’era kati abaana be bombi abadde abeera nabo.

Wabula munnamateeka wa Greenhalgh ayitibwa Patrick Furah bwe yabuuziddwa ku byogerwa nti Black abadde yadding’ana n’Omuzungu yagambye nti bino tabirinaako bukakafu kubanga nsonga za muntuwe za kyama.

Yagasseeko nti Omuzungu naye yafunye ku mawulire g’okukwatibwa kwa Black n’amusaba (looya) azuule ekituufu.



Black nga bwafaanana kati, oluvannyuma lw'okukyusa enyindo ye.

MEDDIE SSENTONGO AYOGEDDE
Amangu ddala nga yaakafuna amawulire g’okukwatibwa kwa Black gwe bavunaanibwa naye, Ssentongo yategeezezza nti gandibadde mawulire malungi Black okukwatibwa nti kyokka olw’okuba takyalina bwesigwa mu kkooti, okukwatibwa kwa Black tekulina makulu gy’ali era tasuubira nti kuyinza okubaako n’engeri gye kimuyambamu mu musango gw’engassi gw’aliko.

“Omuzungu amaze ebbanga ng’abuzaabuza omuwala oyo era y’amutuusizza ku buzibu kati by’alimu. Baasooka kumukozesa annumirize bansibeko ekisango mbu nabba naye ssente za David ne batuuka n’okumuwa emmotoka annumirize mu kkooti.

Nnaguma ekibonerezo kye bansalira ne nkikola kati ndi bweru era ne Black nnamuwa amagezi akole ekibonerezo singa kati anaatera kuvaayo e Luzira kyokka baamubuuzabuza ne bamutolosa kubanga baali baagala kulumya Meddie.

‘Naye sisobola kusanyuka olwa Black okukwatibwa era mmunakuwaliddeko kati katulabe ekiddako,” Ssentongo bwe yategeezezza.

EMISANGO EMIRALA GY’AVUNAANIBWA

Black agenze okukwatibwa nga ne kkooti ya KCC emwetaaga ku misango ena (4) egimuvunaanibwa okuli okuvuga mmotoka n’ekimama, n’okutuusa ku bantu ebisago.

Kigambibwa nti emisango yagizza nga December 4,2011 ku luguudo Acacia ku bbaala ya Casablanca bwe yatomera bodaboda UDN 916E yonna n’agyonoona.

Bodaboda yali evugibwa Ismail Nsamba, ng’aweese mukyala we Fatuma Namusoke eyali asitudde muwala waabwe Jamila Namulindwa ow’emyezi omukaaga, era bonna baatuusibwako ebisago nga Namusoke ye yasinga okukosebwa bwe yamenyeka okugulu.

Black ng'akola omubiri asobole okwekuumira ku mulembe

ABALALA ABASSIDDWAAKO EBIBALUWA BIBAKUNTUMYE
Mu 2007, eyaliko minisita w’ekikula ky’abantu, Zoe Bakoko Bakoru yadduka mu ggwanga ng’avunaanibwa emisango egyekuusa ku kubba ssente z’abakozi eza NSSF n’okutuusa kati akyanoonyezebwa.

Mu 2000, Capt. Dan Byakutaga n’okutuusa kati akyanoonyezebwa olw’okubba ssente ezaali zitekeddwa okusasula emisala gy’abajaasi abaali mu Congo.

Mu 2009, Bakali Ikoba Tigawalana eyali ssentebe wa disitulikiti y’e Mayuge yadduka oluvannyuma lw’okusingisibwa omusango gw’okutta omu ku bakakuyege ba munne gwe yaali avuganya naye ku ntebe eno.

Ssaabayeekera wa Lord’s Resistance Army (LRA) Joseph kony ne basajja be abalala.

Kyokka amawulire amalala ge twafunye okuva e Kigali gaagambye nti Black yabadde ayimbuddwa ku kakalu ka poliisi.

Engeri Black gye yakwatiddwaamu e Rwanda

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...