TOP

Obufumbo bw''Omumbejja wa Tooro busasise

By Musasi Wa

Added 28th October 2013

OMUMBEJJA wa Tooro, Ruth Komuntale naye atadde akaka ku bya bba Omumerika Christopher Thomas Amooti eyalaga gye buvuddeko nti omukwano gwabwe gwaggwawo n’attotoola n’ebyomu maka.Bya JOSEPHAT SSEGUYA

OMUMBEJJA wa Tooro, Ruth Komuntale naye atadde akaka ku bya bba Omumerika Christopher Thomas Amooti eyalaga gye buvuddeko nti omukwano gwabwe gwaggwawo n’attotoola n’ebyomu maka.

Komuntale eyatadde ekiwandiiko nnamutaayiika ku mukutu gwa 'facebook' ekyatandise n’okubuuza ku bantu mu Lutooro nti, ‘Nimbaramukya n'okugonza n'obusinge bwa Mukama’ ekitegeeza nti, Mbalamusizza mwenna mu linnya ya Mukama waffe, yatandise nti, nga bwe mujjukira omwaka oguwedde nti nnafumbirwa omusajja omuddugavu Omumerika okuva mu ssaza Missouri mu kibuga St. Louis, nange nzize nfuba obuwonvu n’obukko mu bufumbo bwange naye waliwo ebitaryerabirwa mu bulamu bwange.

Wadde nga Chris nnamulabirawo nti ayinza obutanbeerera mwangu mu bufumbo, omukwano omungi gwannemesa okwekubamu kyokka byempisaamu mu kutulugunyizibwa okw’enjawulo okumbuzizza emirembe.

Amangu ddala ng’embaga yaffe ewedde era nzijukira mwabisomako mu mawulire Chris bwe yagangayiranga n’aganzaganzanga.

Waliwo olumu lwe yampita antwaleko awutu mu woteeri 'ey’akabi' kyokka kyambuukako bwe nnasanga omuwala eyeesibye tawulo mu kisenge ate mwe yali ategese nange mbeera era ng’awatali kubuusabuusa yali muganzi we.

Bwe nnamugambako yanziramu nti naye yabadde ayagala nnumwemu nga ye bwe yalumiddwa eggulo nga waliwo abasajja abalala abaabadde baagala okuzinamu nange ku mukolo.

Saagala kunyumya bikuuno byempiseemu nga nsirise olw’okwagala okukuuma obufumbo bwange ate nga n’okuswaza binswaza naye wentuuse nnemerereddwa era nneetamiddwa kyenvudde nsalawo okubabuulira ekituufu mumanye omusajja gwe nnalonda bw’ali.

Wiiki ewedde nasabye Chris ampeemu akadde nga tetuli fenna nnerowooze eky’okukola kyokka ng’okuddamu okubeera ffembi ndimala kukakasa nti tajja kuddamu kumbonyaabonya.

Bwe nnakimugambye yanzizeemu bubi ng’atiisatiisa okuttattana erinnya lyange n’ab'enganda zange okuggyako nga nzikirizza okubeera naye. Yampadde eddakiika ttaano okulowooza ku nsonga eyo oba si kyo agende mu mawulire kyokka ku luno ne nneerema.

Okumalayo ebyo byonna, nga yagenze dda ku 'facebook' n’ateekako ebintu bingi ebivvola erinnya lyange ate nga bikyamu okunkaka okwekyusa.

Yakoze amannya abiri ku 'facebook', erya ‘Princess Komuntale’ ne ‘Batebe’ wadde ziri mu mannya gange wabula nga y’azikozesa, n’assaako ebintu ebinnumba eri ensi yonna okwelolera!

Nnali njagala nnyo omusajja wange oyo era nga mmuwa n'ekitiibwa naye kati nnangirira nti obufumbo bwange naye buweddewo.

Ndi mwetegefu okubeera mu mbeera yonna enampa emirembe.

Nneebaza buli muntu abaddewo ku lwange naddala mu nsonga zino.

Naye njize bingi naddala okwetegereza ennyo omuntu gw’ofumbirwa nga tonnasalawo.

Mu kaseera kano mbasaba kunsabira. Nsaba n’abamawulire okunnyamba okumpa eddembe nga bwempita mu mbeera eno. Ndi mugumu kubanga Katonda gy’ali.

Katonda abakuume, Tooro n’ensi yange Uganda.

Nze

HRH Ruth Nsemere Komuntale

Ebirala ku Ruth ne Thomas......

............................................................................................................................................................

.............................................................................................................................................................

 

 

Obufumbo bw''Omumbejja wa Tooro busasise

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sam2 220x290

Sam Mukasa ayingidde goloofa ye...

Yiino goloofa ya Sam Mukasa eyogeza banne obwama!

8714805438505141082996706452061019224145920o 220x290

Museveni ne Kagame basisinkanye...

Kyaddaaki Pulezidenti Museveni ne mukulu munne owa Rwanda, Paul Kagame beefumbye akafubo ku nsalo ya Uganda ne...

Kasa 220x290

Maama kalimunda tonyiga bbebi ennyindo...

ONO maama kalimunda tatya kunyiga bbebi nnyindo olw’engeri gy’akulukuunya olubuto lwe ku musajja.

Omukyalangaatudde 220x290

Laba byana biwala ebyanywa amata...

Bw’oba otambula, osanga ebyana ebitambulira mu bibinja nga byesaze obugoye obukulengeza ‘waaka’ nga ‘n’ebithambi’...

Firimu 220x290

Eyali asoma obwafaaza alumbye Mbarara...

FERDINAND Lugobe Pike eyabulako akatono okufuuka omusosodooti ayingidde ekisaawe ky’okuzannya Ffirimu.