TOP

Ani nnannyini lubuto lwa Rema Namakula?

By Musasi Wa

Added 19th August 2014

REMA Namakula bwe yayimba “Oli wange”, abasajja bataano buli omu yalowooza nti gwe bayimbyeko. Olwo buli omu we yali n’aguma nti Rema ne bwe balimukuba emiggo ne bamusibira wabweru, baligenda bombi bakaddiyire mu mukwano, batuuke n’okubakululira ku kaliba–bombi.

2014 8largeimg219 aug 2014 175846830 703x422

Bya MAR TIN NDIJJO

REMA Namakula bwe yayimba “Oli wange”, abasajja bataano buli omu yalowooza nti gwe bayimbyeko. Olwo buli omu we yali n’aguma nti Rema ne bwe balimukuba emiggo ne bamusibira wabweru, baligenda bombi bakaddiyire mu mukwano, batuuke n’okubakululira ku kaliba–bombi.

Kati buli mbuzi etuuseokudda ku nkondo yaayo. Rema ali lubuto ate nga tekisoboka kuba nga lwa basajja bonna abataano aboogerwako.

Rema 23, yategeezezza Bukedde eggulo nti mu myezi egitasukka ena, agenda kuba afunye erinnya eppya erya

“Maama” kyokka ku bya taata w’omwana n’ayanukula nti, “Ekyo kindi ku mutima, bwe nkyogera kati mba nnesse!”

KULIKO ABAYIMBI 2 N’ABASUUBUZI 3

Nga yaakava ku siteegi mu kivvulu kya Big Eye ku Freedom City e Namasuba ku Lwokutaano, yawadde abawagizi be akadde ne bamubuuza bingi okuli; ng’onyirira, ogezze, oli lubuto? N’ebirala.

N’abaanukula: kituufu ndi lubuto, kyokka ebya nnyini lwo mubindekere. Ekyo kiri wakati wange n’omusajja wange.

Wadde kigambibwa nti Rema alina enkolagana ey’omunda ne Eddie Kenzo eyayimba ‘Sitamina’ ne ‘Sitya Loosi’, waliwo abasajja abalala 4 ababadde ku lusegere lwe nga muno mulimu n’omuyimbi Mathias Walukagga.

Mu October w’omwaka oguwedde, Kenzo yasinziira ku ‘lonci’ ye eya Kamunguluze n’ayita Rema ku siteegi n’amulaga nnyina (maama wa Kenzo) n’amwanjula nga mukwano gwe asinga.

Nga tannalagayo Rema ku kivvulu kye kimu, Kenzo yasooka kuyita Tracy Nabatanzi “Maama Miya” (maama w’omwana we) n’ategeeza abawagizi be nti “Bulijjo mumbuuza maama Miya, y’ono naye ebyange naye byaggwaawo twasigaza kukuza mwana.” 

Kenzo kati ali mu Amerika kyokka gye buvuddeko yagambye nti ba mukwano ne Rema era alina byonna omusajja bye yandyegombye kuba mulungi era anyirira n’olwekyo bwe baagalana “eyo teba loosi”.

Kigambibwa nti Rema alina abasuubuzi basatu b’alabibwa nabo nga kuliko babiri ab’omu Kampala abalina ebizimbe eby’amaanyi okuliraana ppaaka empya (amannya galekeddwa) n’omulala ow’e Masaka wabula bonna bafumbo.

WALUKAGGA AYOGEDDE

Enkolagana ya Rema ne Walukagga yatandika emyaka esatu emabega ng’omuwala ono akyayimbira mu kibiina kya Bebe Cool ekya Gagamel Crew.

Walukagga yamussaamu ssente era n’amugulira ‘laptop’ ey’ebbeeyi, wabula kigambibwa nti wakati awo yagimuggyako nga batabuse, kyokka ate ne baddamu.

Eggulo (Ku Mmande), Walukagga yagambye nti, “Ebya Rema ku nze bikadde. Nkolagana na mawulire mapya gokka. Okugenda e London ku ttoffaali lya Katikkiro n’Engule gye nvuganyaako bye bindi ku bwongo. Rema ebibye y’abimanyi.”

REMA ANNYONNYODDE

Rema yategeezezza Bukedde nti bakkaanyizza ne nnyini lubuto obutamulaalaasa era nti alina emikwano mingi

Ani nnannyini lubuto lwa Rema Namakula?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Enanga1 220x290

Taata wa Enanga atuuyanye ku by’ettaka...

TAATA w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga abadde mu kaseera kazibu ng’annyonnyola engeri ye ne mutabani...

Lukwago 220x290

‘Sasula obukadde 50 oba ogende...

Sandra Katebaralwe, mukyala wa Paasita David Ngabo eyacaaka ennyo olw’okusabira FDC ng’alumba gavumenti ye yadduka...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde

Taxi5 220x290

Poliisi emukutte awambye abaana...

POLIISI y’e Bujuuko etaayizza omusajja agambibwa okuwamba abaana b’essomero n’emussa ku mpingu. Yeewozezzaako nti...

M71 220x290

Museveni awadde Sabiiti ekiragiro...

PULEZIDENTI Museveni awadde amyuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi, ennaku bbiri aveeyo...