TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssaabasumba alabudde Abakristu ku Mukaajanga: 'Enkola ye ekontana ne Eklezia'

Ssaabasumba alabudde Abakristu ku Mukaajanga: 'Enkola ye ekontana ne Eklezia'

By Musasi Wa

Added 8th October 2014

EKLEZIA etabukidde ‘Bbulaaza’ Mukaajanga ow’e Bukalango oluvannyuma lw’okumala ebbanga ng’emwetegereza ku ngeri gy’abuuliramu enjiri.

 Bya JOSEPH MAKUMBI NE ANTHONY SSEMPEREZA

EKLEZIA etabukidde ‘Bbulaaza’ Mukaajanga ow’e Bukalango oluvannyuma lw’okumala ebbanga ng’emwetegereza ku ngeri gy’abuuliramu enjiri.

Bro. John Baptist Mukaajanga atera okubeera ku Bukedde TV mu pulogulaamu z’asasulira, bamulagidde okudda ku mulamwa gw’ensinza y’Ekikatoliki entuufu, asazeemu byonna by’akola ebikontana n’enzikkiriza.

Mu bye baagala ayimirize bunnambiro mwe muli n’enkuhhaana z’enjiri z’ategeka ku akeedi z’omu Kampala bbiri (Jjemba Plaza ne Gaggawala Shauriyako) ezitagoberera nsinza ya Kikatoliki ate nga tezeetabwamu Faaza yenna!

Ebirala Mukaajanga by’akola mu ngeri ekontana n’enkola za Eklezia kuliko:

  • Okutunda amafuta ag’omukisa g’aguza abagoberezi ku 30,000 buli ccupa.
  • Okusiiga abantu omuzigo nga ssi Faaza.
  • Okusuula abantu ebigwo ng’abasabira nti abagobamu emizimu.
  • Okusolooza ebirabo mu bantu n’atabiweereza mu Klezia ya kitundu.
  • Okukola ekibiina kya Fire Ministries ky’addukanya ng’ekitali wansi wa Eklezia.
  • Okutwala abantu mu kulamaga mu Yisirayiri n’abaggyako obutitimbe bw’ensimbi ng’akikolera mu linnya lya kibiina kye yatandika.

Omwogezi w’Essaza ekkulu erya Kampala Msgr. Wynand Katende agambye nti, Mukaajanga by’akola bikontana n’amateeka ga Eklezia kubanga omuntu yenna atalyanga bwa Faaza tayinza kwetantala kugaba Masakaramentu; n’abuuza nti omuzigo n’amafuta by’agaba abigabira mu kiti ki?

Yagasseeko nti: Omulimba asanga mukkiriza. Kimanyiddwa mu Eklezia nti omuzigo oba amafuta ag’omukisa bigabwa Faaza mu biti bisatu: Mu kubatiza (Karisma), mu kumaliriza omusomo (Sakaramentu) gwa Kofirimansio ne mu kugusiiga omulwadde ali ku ndiri (Kusiigibwa kw’Abalwadde).

Yayongedde okunnyonnyola nti: Omuzigo gwonna Eklezia gw’ekozesa ku mikolo gyayo gyonna gutukuzibwa ku Lwokuna olutukuvu era Omwepisikoopi (Bishop) yagutukuza ng’ali n’Abasaseredoorti (Bafaaza) bonna. Bwe gumala okutukuzibwa ne guweebwa Abasaseredooti nebagutwala mu bigo byabwe gye basinziira okugukozesa. Wano we yabuulizza nti Mukaajanga gw’akozesa aguggya ludda wa?

Msgr. Katende yagambye nti Eklezia yeekengedde ebintu Mukaajanga by’azze akola era wabaddewo kaweefube ow’okwogera naye akyuse wabula n’atakyusa. Yalabudde Abakristu okwewala abantu abagwa mu ttuluba lya Mukaajanga omuli n’omusajja w’e Lwengo eyeeyita Kazibwe Balunabba.

Ssaabasumba w’Essaza ekkulu erya Kampala Dr. Cyprian Kizito Lwanga yategeezezza mu kuyimba Mmisa e Lubaga gye buvuddeko nti Omukristu yenna agenda mu maaso g’omuntu atali Faaza nti asaba mukisa abeera awubisiddwa era n’abalagira okwewala abantu abakola emirimu egitali gyabwe kuba abasinga babeera n’ekigendererwa kya kusolooza ssente mu bantu.

Mukaajanga y’omu ku baasikiriza abagoberezi okuyingira ekibiina eky’ekiwaani ekya Telex Free ekyalimu omuvubuka Ronald Muramuzi, okukkakkana nga babafeze obutitimbe bw’ensimbi.

Wabula ku kino Mukaajanga yagambye nti abagoberezi yabayingiza tamanyi nti mulimu obufere kubanga ye kennyini (Mukaajanga) ye yasooka okukiyingira era emyezi egyasooka baawanga amagoba gaabwe ku buli nnusu gye bassanga mu Telex Free wabula oluvannyuma ne banyaga abantu.

AMAZE EMYAKA 10 NG’AGUGULANA NE BAFAAZA

Deo Mbabazi omuwandiise w’omuluka gwa St. Balikuddembe, Mengo Kisenyi, yatutegeezezza nti, wakati wa 2003 ne 2004, Mukajanga yali akubira enkungaanaze ku kiggwa kya Yowana Maria Mzee e Jugula ku Lubaga Road nti kyokka Bwanamukulu eyaliwo ebiseera ebyo, Rev. Father Deo Ssonko n’amulagira agende e Lubaga afune ebbaluwa okuva ewa Kalidinaali Emmanuel Wamala eyali Ssaabasumba mu biseera ebyo kyokka ebbaluwa teyagitwala era ne bamugobawo.

Mbabazi yagambye nti aba “Kalizimatiki” kitundu ku Eklezia kyokka enkola ya Mukaajanga agamba nti mw’agwa esusseewo kubanga takolera wansi wa Klezia za bitundu mw’ategekera nkuhhaana.

Emyaka ena emabega, Mukaajanga yaleeta ekirowoozo eky’okusembereza Bannakampala enjiri mu biseera by’amalya g’ebyemisana, n’alagirwa okukolera wansi wa Klezia ya St. Balikuddembe mu Kisenyi, wabula n’asalawo okupangisa ebizimbe mu Kampala mw’akolera awatali amulondoola nga n’ensimbi z’asolooza mu bantu tazanjula mu Klezia ya kitundu ng’enkola ya Klezia ey’obwerufu bw’eragira.

Wabula Mukaajanga yategeezezza nti ebizimbe mw’akolera alina okubisasulira ez’obupangisa, asasula pulogulaamu za Ttivvi kubanga ky’akulembeza kwe kutuusa obubaka bwa Yezu Kristu mu bantu bonna.

Yagasseeko nti enkola y’emirimu gye gyonna erondoolwa Faaza Experito Magembe atwala ekigo ky’e Bukalango mu Wakiso.

Rev. Fr. Magembe yategeezezza omusasi wa Bukedde eyamusanze e Bukalango nti tannafuna bbaluwa ntongole erambika kwemulugunya kwa Bakama be ku Mukaajanga nti era waakwogera ku nsonga eno ng’ebbaluwa emutuuseeko.

Mu May w’omwaka oguwedde, Eklezia yawummuza Faaza Anthony Musaala olw’okumusindika mu kigo ky’e Ggoli mu Mpigi nga bamuggya ku St. Matia Mulumba e Kampalamukadde wabula n’atagondera biragiro bya bakama be. Yagattako n’okukozesa amakubo agakontana n’enkola ya Eklezia mu kulaga obutali bumativu bwe.

 

Ssaabasumba alabudde Abakristu ku Mukaajanga: ''Enkola ye ekontana ne Eklezia''

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Netherlands1 220x290

Budaaki ewadde Uganda obuwumbi...

EGGWANGA lya Budaaki likubye Uganda enkata ya buwumbi bwa ssente bubiri, ziyambe mu kutumbuka eby’obulambuzi mu...

Mus12 220x290

Aba NRM bawonye okupangisa

Aba NRM bawonye okupangisa

Masasi1 220x290

Bakutte omujaasi ku kutta aba Mobile...

BULIJJO abantu bamulaba n’ekidomola ky’amazzi ekya kyenvu, nga balowooza nti aguliramu mmere ya bisolo.

Top31 220x290

Aba NRM bawonye okupangisa

Aba NRM bawonye okupangisa

Det1 220x290

Bakkaanyizza ku by’okutwala abantu...

Bakkaanyizza ku by’okutwala abantu ku kyeyo