TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omunigeria alaze ensonga ezaamuviiriddeko okusasaanya ebifaananyi bya Luzinda ng'ali bukunya

Omunigeria alaze ensonga ezaamuviiriddeko okusasaanya ebifaananyi bya Luzinda ng'ali bukunya

By Musasi Wa

Added 3rd November 2014

OMUNIGERIA afulumizza ebifaanaanyi eby’obuseegu ebiraga ng’omuyimbi Desire Luzinda ali bukunya, n’agamba nti kino akikoze kulaga bwenzi bwa Desire bw’asirikidde okumala ebbanga.

2014 11largeimg203 nov 2014 122102050 703x422

Bya Musasi Waffe

OMUNIGERIA afulumizza ebifaanaanyi eby’obuseegu ebiraga ng’omuyimbi Desire Luzinda ali bukunya, n’agamba nti kino akikoze kulaga bwenzi bwa Desire bw’asirikidde okumala ebbanga.

Franklin Emuobor  Ebenhron agamba nti Desire amutwala nga mukyala we  era nga bamaze ebbanga erisukka mu myaka ena nga baagalana nti kyokka we bituuse alabika atendewaliddwa olw’enneeyisa ye ey’okubeera n’abasajja abangi ate nga buli kimu akimuwa.

Franklin yaweerezza ebifaananyi bya Luzinda ku mikutu egy’enjawulo nga biraga nga yeeyambudde ali bwereere era ebimu ku bifaananyi biraga nga Luzinda yeekola ‘obusolo’ era ng’ebifaananyi ebimu bizibu okutunuulira!

Franklin yayogedde ne Bukedde ku Lwomukaaga ekiro n’ategeeza nti yabadde asinziira Kuwait gy’ali ku mirimu gye.

Yagambye nti ebifaananyi ebyo Luzinda yennyini  y’abaddenga abimuweereza nga bali mu mukwano nti kyokka yagenze okwetegereza ng’ebimu yalinga na basajja balala balya bulamu.

Ensonga y’obwenzi

Franklin agamba nti Luzinda mukazi atalagika mukwano kubanga ku ssente zamutaddemu yandibadde tamugattika na basajja balala nti naye ebbanga lyonna ly'amaze naye babeera mu misango ng’amukutte n’abasajja abalala b’ayita mikwano gye.

Alumiriza Luzinda nti buli musajja gw’amukwata naye awoza kimu nti ‘oyo mukwano gwange’ nti kyokka bw’obalondoola by’ozuula bikukaabya maziga. Yawadde ekyokulabirako nti Luzinda ye mukazi ayinza okukuleka awantu ng’olowooza nti ali kumpi naye ogenda okwetegereza  ng’ali wala era ng’alina omuntu gw’ali naye.

Yawadde ekyokulabirako nti lumu baali awaka e Naalya Luzinda gy’asula, Luzinda n’afuna essimu n’afuluma wabweru ng’alina gw’ayogera naye. Franlin agamba nti bwe waayita ekiseera nga tamulaba, kwe kusalawo afulume alabe ekigenda mu maaso.

Bwe yatuuka wabweru, kwe kulengera mmotoka eyali esimbye okumpi mu luggya ng’ezikizza amataala. Bwe yagisemberera, yagenda okwetegereza nga Luzinda ali munda mu mmotoka asinda omukwano n’omusajja.

Yabagugumula era agenda okwetegereza omuvubuka ono. (amannya gasirikiddwa), nga mutabani w’omu ku bannabyabufuzi omukuukuutivu mu Kampala ate nga yali yakiwulirako dda nti munnabyabufuzi ono baagalana ne Luzinda.

Agamba nti Luzinda yeekaza n’ate-geeza nti omuvubuka ono yali amwefuulidde bwefuulizi n’amukwata lwa mpaka era Franklin n’akaka Luzinda ensonga bazitwale ku poliisi kyokka luzinda ebintu n’abibulizabuliza awo ne biggwa.

Franklin agamba nti ekyasinze okumuluma bye bintu bye yasomye mu mawulire nga Luzinda ategeeza nti ekyamuviiriddeko okukwatibwa ku Lwokuna n’atwalibwa mu kkooti ye (Franlin) okumutuusa ku buzibu bwe yamufera ssente n’alemererwa okusasula abamubanja ne batuuka n’okumutwala mu kkooti.

Abasajja ab’enjawulo bazze boogerwako mu bulamu bwa Luzinda kyokka nga bonna abeegaana ng’agamba nti bano mikwano gye abanyumirwa ennyimba ze era nga mu bamu ku basajja bano mulimu bannabyabufuzi abakuukutivu, abasuubuzi n’abalala.     

Mikwano gya Luzinda gyatuuzizza olukiiko ne Luzinda kennyini mwe yabadde ne basalawo obutanyega kintu kyonna ku bifaananyi bino era ne bakubira Franklin essimu ne bamwegayirira obutayongera bifaananyi bino ku mikutu gy’amawulire kuba byabadde bimuswazizza ekimala.

Ebirala ku Desire Luzinda

Omunigeria alaze ensonga ezaamuviiriddeko okusasaanya ebifaananyi bya Luzinda ng''ali bukunya

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lap2 220x290

Owoomuluka awerennemba na gwa ttaka...

Owoomuluka awerennemba na gwa ttaka

Siralexferguson1132188 220x290

Aba ManU bampisaamu amaaso - Sir...

EYALI omutendesi wa ManU, Sir Alex Ferguson ayogedde ku mbeera eyali ttiimu ye gy'erimu n'agamba nti ekwasa ennaku....

Lop2 220x290

Bakasukidde ab’e Ntinda ebintu...

Bakasukidde ab’e Ntinda ebintu

Jogo 220x290

Engeri Valencia gye yakomezza ejjoogo...

EJJOOGO Barcelona ly'ebadde eyolesa mu mpaka za Copa del Rey, Valencia yalimazeewo bwe yagikubye ggoolo 2-1 ku...

Tip3 220x290

Bajjukidde lwe baalumba Olubiri...

Bajjukidde lwe baalumba Olubiri ne basabira Obwakabaka