TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Desire Luzinda yandisibwa emyaka 7 olw’ebifaananyi bye eby’obuseegu

Desire Luzinda yandisibwa emyaka 7 olw’ebifaananyi bye eby’obuseegu

By Musasi Wa

Added 4th November 2014

Seya Al Hajji Nasser Ntege Sebaggala agambye nti yawuniikiridde bwe yalabye ku bifaananyi bya mukwano gwe Desire Luzinda eby’obuseegu nga bisaasaanyiziddwa mu mikutu egy’enjawulo n’agamba nti: “Byankubye wala era eyakikoze asaana kusibwa!”

2014 11largeimg204 nov 2014 165817550 703x422

 Bya JOSEPHAT SSEGUYA NE MEDDIE MUSISI

Seya Al Hajji Nasser Ntege Sebaggala agambye nti yawuniikiridde bwe yalabye ku bifaananyi bya mukwano gwe Desire Luzinda eby’obuseegu nga bisaasaanyiziddwa mu mikutu egy’enjawulo n’agamba nti: “Byankubye wala era eyakikoze asaana kusibwa!”

“Nayisiddwa bubi nnyo okulaba mukwano gwange ng’ali bukunya, kyankubye wala ne mpisibwa bubi! Omusajja oyo Omunigeria avunaanibwe mu mateeka.” Sebaggala eyasangiddwa mu maka ge e Bugoloobi bwe yategeezezza.

Wabula omusango yagusalidde Luzinda n’agamba nti kibi nnyo okumala geeyambulira buli muntu gw’osanze kubanga abamu baba n’ebigendererwa byabwe.

 “Omunigeria yakoze bubi nnyo omwana, naye ne Desire ngumusalira okumala gaganzaganza basajja abo kati gy’agwiridde ne ku bizibu. Omusajja alinga ataatuuzibwa nga bamukuza kubanga omusajja ategeera toyinza kwanika mwana wa munno bw’otyo,” Seya bwe yategeezeza eggulo.

Sebagala yagambye nti kino ekituuse ku Desire kibeere ekyokuyiga eri abawala bonna baddeyo ku nneeyisa ey’Abaganda era babenga beegendereza ku ani gw’abuuka naye.

Gavumenti ebiyingiddemu

Fr. Simon Lokodo, minisita w’empisa n’obuntubulamu yategeezezza nti, musango eri alaba ‘ekimansulo’ kya Desire Luzinda, musango eri omusajja eyabikubye, musango eri amawulire agabisaasaanya kyokka musango munene eri Desire Luzinda singa kinaazuulwa nti yakikoze mu bugenderevu okusaasaanya obuseegu buno.

Luzinda ne Seya nga buli omu akyanyumirwa munne.

Fr. Lokodo yategeezezza eggulo ku ssimu nti, yennyamidde bwe yafunye ssimu okuva eva ew’omuntu omu n’amuyitiramu nga bwe waliwo ebifaananyi by’omuyimbi ono ebisaasaana ng’oluyiira ng’ali bwereere kyokka n’ategeeza eyabimugambye nti, amuyambe ku kunoonyereza wabula tamulaga kifaananyi kyonna olw’okwesittaza okw’amaanyi kwe yawulidde.

Yategeezezza nti, yamaze dda okulagira akakiiko ka Uganda Communications Commission akakola ku biweerezebwa ku mpewo, okuzuula abasaasaanya obuseegu buno bavunaanibwe kyokka n’agamba nti, Gavumenti etandise okunoonyereza ku Desire Luzinda okuzuula oba ebifaananyi ebyo ye yabyekuba n’ekigendererwa ky’okusaasaanya obuseegu mu bantu.

Nti bwe kinaazuulwa nga kituufu, Desire wa kuvunaanibwa omusango gw’okusaasaanya obuseegu, okwonoona empisa z’ensi era  bwe gumusinga asibwa emyaka musanvu oba okusasula obukadde 50 oba byombi.

Nammwe abalaba ebifaananyi bya Luzinda nja kubasiba - Minisita

MINISITA Lokodo yagambye nti  singa kinaazuulwa nti, Omunaigeria ye yabimukuba n’abisaasaanya oba nga si ye yabikuba naye nga y’abisaasaanya, naye waakuggulwako gwa kusaasaanya buseegu. Kyokka yagambye nti, ono bamulinamu obuzibu kubanga si munnansi wa kuno ate nga tali kuno, kyokka teyeeyibaala kubanga e Nigeria n’awalala wonna w’ali, teri tteeka limukkiriza kusaasaanya buseegu era asobola okukwatibwa n’avunaanibwa.

Ku bantu ba bulijjo ababiraba, Fr. Lokodo yagambye nti, musango okulaba ebifaananyi by’obuseegu.

Juma Seiko ayogedde

Ate ye munnamagye Maj. Juma Seiko yavudde mu mbeera n’ategeeza nti; “Omusajja oyo musiru nnyo, musiru emirundi lukumi era ng’enda kuyambako Desire okulaba ng’akwatibwa avunaanibwe mu mateeka!”

Seiko yagambye nti kikyamu omusajja oyo okukozesa omwana wa bandi (Desire) n’atuuka okumukuba ebifaananyi n’abyanika bw’atyo.

Kyokka naye yanenyezza Desire okusalawo okwagala abasajja abo abatali ba nsi ye kubanga bo empisa zaabwe njawufu ku z’abantu ba wano be yagambye nti aba wano bafunamu ensonyi ku bantu be baagadde ne bwe baba bakyawaganye. Seiko yagambye nti mu kiseera kino ekisinga okumuluma ye mwana we, Desire gw’alina kubanga atuuse okuyisibwa obubi ku ssomero.

Yagambye nti singa abadde alina olukusa olumutuusa ku mwana ono, (owa Desire) yandibadde amutwalako ebweru w’eggwanga n’amubuzaabuza n’atasobola kumanya bigenda mu maaso ku nnyina. Yawadde Desire amagezi obutanyega kintu kyonna kuzza muliro wa musajja ono nti wabula agumiikirize agenda kumuyambako okulaba ng’amateeka gamukolako.

 Ebirala ku Desire Luzinda

Desire Luzinda yandisibwa emyaka 7 olw’ebifaananyi bye eby’obuseegu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ret2 220x290

Proline esuze bulindaala

Proline esuze bulindaala

Yes3 220x290

Uganda esubiddwa eza Afrika

Uganda esubiddwa eza Afrika

Bok1 220x290

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa...

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa bukadde 60

Mis1 220x290

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo...

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo

Kip2 220x290

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa...

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa y’okusiibulukuka Allah agyanukulirawo