TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebya Desire biwanvuye: Omunigeria alaalise okulaga ebifaananyi ebikambwe ng'ali bukunya

Ebya Desire biwanvuye: Omunigeria alaalise okulaga ebifaananyi ebikambwe ng'ali bukunya

By Musasi Wa

Added 7th November 2014

OMUNAYIGERIA asunguwadde n’alaalika Desire Luzinda nga bw’agenda okufulumya ebifaananyi bye ebirala ebikambwe ebinaamukutula ‘ppata’ singa talekera awo kumuyita mufere.

2014 11largeimg206 nov 2014 221439840 703x422

Bya JOSEPHAT SSEGUYA

OMUNAYIGERIA asunguwadde n’alaalika Desire Luzinda nga bw’agenda okufulumya ebifaananyi bye ebirala ebikambwe ebinaamukutula ‘ppata’ singa talekera awo kumuyita mufere.

Muganzi wa Luzinda, Franklin Emuobor Ebenhron yategeezezza nga bw’ali omunyiivu olwa Luzinda okumuyita omufere ng’ate ye akimanyidde ddala nti, bakkaanyanga bulungi ku bye baali bakola byonna omuli okumuwa by’ayagala, okumukkiriza yeewole ssente ezaakola ekivvulu kye ekya ‘Black and White Affair’ ku woteeri ya Serena n’ebirala.

Franklin yategeezezza nga bw’ajja n’okwasa ebyama bya laavu yaabwe ebirala bingi kwe kulabula Luzinda amwegendereze kubanga ebifaananyi by’alina yatoolako butoozi ‘jalibu’ kukangamu bukanzi ng’enjogera y’ennaku zino bweri ate nga ddala Desire akimanyi nti ebifaananyi alina bingi.

Bino olugudde mu matu ga mikwano gya Luzinda ne batuuza bukubirire olukiiko ne batema empenda okutangira Omunayigeria alabika nga yafuukidde Luzinda ekyambika. 

Baasoose kukkaanya ku kya kumusiriikirira, ne bamusiima n’obutayogera kintu kyonna nga bwe bakkaanya mu lukiiko lwe baalimu wiiki ewedde mwe baamusabira asirike be cee..

Kyokka mu lukiiko luno, baasazeewo Luzinda yetondere Bannyuganda bonna olw’ebifaananyi eby’obuseegu ebyamukubwa ne bisaasaanira eggwanga lyonna wiiki ewedde.

Wabula obuzibu bwe baafunye y’engeri gye banaategeezaamu ab’amawulire okwetonda kuno oluvannyuma lw’okukizuula nti, bwe banaayita olukung’aana lwa bannamawulire, mulimu abamu abalabika okugufuula omugano ogw’okubuuza ebibuuzo ebiyinza okuyitawo ne biva ne ku mulamwa gw’okwetonda ebintu ne byongera kutabuka.

Wano we baasaliddewo, akole ekiwandiiko kiyisibwe mu mikutu gy’amawulire egy’esigika.

Omu ku baabadde mu lukiiko luno ataayagadde kwatuukirizibwa mannya yategeezezza nti, Luzinda yabadde muwoteevu ng’akyuse ne mu ndabika olw’obulumi bw’alimu olw’okuweebuulwa mu ggwanga nga kati y’afuuse ensonga mu bintu ebitaliimu era yamazeeko ayogera yesooza n’okufeesa. 

Bino we bijjidde nga waliwo ebifaananyi ebirala ebyayongedde okusaasaana ku Mmande ne ku Lwokubiri lwa wiiki eno ebiraga Luzinda ng’ali bute, yeebase aliko by’akola n’ebirala nga biri ku katambi ka ‘vidiyo’ akalaga ng’aliko by’akola mu buliri. 

Bino no byasiikudde n’abantu abaabadde batidde okuddamu okubiraba olw’okulabula kwa minisita w’empisa n’obuntubulamu, Fr. Simon Lokodo, okukwata ababiraba olwo ate ne baddamu buto.

Kati abantu bafeffetta buli kafaananyi ka Luzinda gye kali ne babuweereza ku mikutu gy’amawulire naddala ogwa ‘watsapp’ ne facebook.

Ebirala ku Desire Luzinda

Ebya Desire biwanvuye: Omunigeria alaalise okulaga ebifaananyi ebikambwe ng''ali bukunya

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ret2 220x290

Proline esuze bulindaala

Proline esuze bulindaala

Yes3 220x290

Uganda esubiddwa eza Afrika

Uganda esubiddwa eza Afrika

Bok1 220x290

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa...

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa bukadde 60

Mis1 220x290

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo...

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo

Kip2 220x290

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa...

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa y’okusiibulukuka Allah agyanukulirawo