TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Munnakatemba Dr. Bbosa akkirizza okumukebera omusaayi

Munnakatemba Dr. Bbosa akkirizza okumukebera omusaayi

By Musasi Wa

Added 24th January 2015

MUNNAKATEMBA Sam Bagenda (bamumanyi nga Dr. Bbosa) agambye nti omuwala eyamututte mu kkooti olw’obutalabirira mwana amumanyi era okuva omwana lwe yazaalibwa abadde amuwa obuyambi.

2015 1largeimg224 jan 2015 133734243 703x422

 Bya Martin Ndijjo NE MARGARET ZIRIBAGGWA

MUNNAKATEMBA Sam Bagenda (bamumanyi nga Dr. Bbosa) agambye nti omuwala eyamututte mu kkooti olw’obutalabirira mwana amumanyi era okuva omwana lwe yazaalibwa abadde amuwa obuyambi.

Kyokka yagambye nti eby’abawala b’ekibuga bwe bifaanana tayinza kumala gakkiriza nti omwana wuwe. 

N’olwekyo akkirizza bagende babakebere omusaayi. Bino biddiridde omuwala Joan Angel Ntege okugenda mu kkooti etawulula ensonga z’abaana n’amaka ku Mwanga ll e Mengo ng’ayagala Kkooti emuyambe ewalirize Dr. Bbosa okumwongera ku buyambi bw’amuwa. 

Joan yagambye nti Bbosa amuwa 80,000/- buli mwezi kyokka nga kati omwana akuze okumulabirira kyetaagisa 1,393,000/- okuli ez’essomero, okulya n’obujjanjabi.

Joan era yategeezezza nti yeewuunya Dr. Bbosa okubuusabuusa obuzaale bw’omwana kubanga bwe yamanya ng’ali lubuto n’atandikirawo okumuwa obuyambi nga lwa myezi mukaaga.

Ate bwe yatuuka okuzaala era Bbosa n’amuwa emitwalo 11 ez’eddwaaliro. “Kino kyannyiga kubanga zaali ntono ne nsalawo kuzaalira Mulago mu waadi y’olukale”, bwe yagambye.

Bwe yazaala omwana mu 2008, yagambye nti Bbosa teyagendayo mu ddwaaliro (ebiwandiiko e Mulago biraga nti omwana yawandiisibwa nga owa Bbosa) era ye Joan n’atuuma omwana erinnya lya Devine.

Oluvannyuma yamutwalira Bbosa gwe yasisinkana ku ofiisi ye ku Theatre La Bonita n’atuuma omwana erinnya lya Bagenda.

Okuva olwo abadde amuwa obuyambi, kyokka nga tebumala. Kati omwana bw’atandise okusoma olwo obwetaavu ne bweyongera.

Aba famire kwe kumugamba ensonga z’okulabirira omwana azitwalire kitaawe kubanga zeetaaga ssente nnyingi. 

Kyokka ye Bbosa yagambye nti yamaze dda okukkiriziganya ne looya wa Joan ayitibwa Martin Muhumuza bagende mu musaayi.

Ekyabalwisizza kwe kuba ng’abadde mu bya kufiirwa. “Ku Lwokutaano (eggulo) tugenda mu musaayi”, bwe yagambye. Kyokka we zaaweredde essaawa 6:00 ez’emisana yabadde tannatuuka mu kifo kye yagambye Bukedde nti we bagenda okubakeberera ku ssaawa 4:00.

“Njagala okumanya ekituufu kubanga omwana simwekakasa era okuntwala mu mbuga z’amateeka nkiraba nga omupango okutabula famire yange. Nze nnina abaana abakulu abakosebwa ebintu bino ate nange ng’omuntu binkosa”, bwe yannyonnyodde.

“Oyo Joan amanyi ekituufu. Lwa kunsibako mwana n’atuuka n’okumutuuma erinnya lyange erya Bagenda”.

Bwe yabuuziddwa lwaki awaayo obuyambi ate ng’agamba nti omwana si wuwe, Dr. Bbosa yagambye nti, “kino mbadde nkikola okukuuma erinnya lyange.

Bwe nnaazuula ekituufu ne nkakasa nti wange nja kumutwala abeere n’abaana bange abalala”. Joan agamba nti Dr. Bbosa yamukwana agenze ku La Bonita kulaba mizannyo gya Ebonies.

Dr. Bbosa bamulagidde yeeyanjule mu kkooti nga February 17, 2015 ku ssaawa 4:30 ez’oku makya.

EKYETAAGISA OKUKEBERA OMUSAAYI

  • Dr. Bwanga owa MBN Laboratories e Nakasero agamba nti okukebera abantu bonsatule; maama, taata n’omwana osasula 660,000/- nga buli omu bamuggyako 220,000/- era okufuna ebivudde mu musaayi kitwala ennaku ttaano.
  • Kyokka oli bw’aba ayagala okumanya ebivudde mu musaayi mu lunaku lumu, ssente zino azikubisaamu emirundi ebiri.
  • Okukukebera omusaayi, ogenda mu ddwaaliro ne bakuggyako omusaayi ng’olina n’ebiwandiiko ebikwogerako eby’eggwanga nga paasipooti, kaadi y’eggwanga oba pamiti.
  • N’agattako nti omuntu bw’abeera y’aleese omusaayi, asooka kukuba kirayiro ekikakasa nti erinnya ly’omuntu gw’awaddeyo ye nnannyini musaayi omutuufu.

Munnakatemba Dr. Bbosa akkirizza okumukebera omusaayi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Netherlands1 220x290

Budaaki ewadde Uganda obuwumbi...

EGGWANGA lya Budaaki likubye Uganda enkata ya buwumbi bwa ssente bubiri, ziyambe mu kutumbuka eby’obulambuzi mu...

Mus12 220x290

Aba NRM bawonye okupangisa

Aba NRM bawonye okupangisa

Masasi1 220x290

Bakutte omujaasi ku kutta aba Mobile...

BULIJJO abantu bamulaba n’ekidomola ky’amazzi ekya kyenvu, nga balowooza nti aguliramu mmere ya bisolo.

Top31 220x290

Aba NRM bawonye okupangisa

Aba NRM bawonye okupangisa

Det1 220x290

Bakkaanyizza ku by’okutwala abantu...

Bakkaanyizza ku by’okutwala abantu ku kyeyo