TOP

Nkyali mugumu - Ssanyu Robinah Mweruka

By Musasi Wa

Added 6th February 2015

SSANYU agambye nti tayinza kutiitiira olw’ebimwogerwako ku katambi k’obuseegu kubanga si yeye era agenda mu maaso n’emirimu gye.

2015 2largeimg206 feb 2015 132526857 703x422

Bya JOSEPHAT SSEGUYA

SSANYU agambye nti  tayinza kutiitiira olw’ebimwogerwako ku katambi k’obuseegu kubanga si yeye era agenda mu maaso n’emirimu gye.

Ategeezezza nti talina buzibu bwonna, mugumu era teyejjusa kubanga amanyi nti eby’akatambi bipangirire si bituufu.

Agambye nti akyakola mirimu gye egya saluuni ne ku Bukedde ttivvi era yaakamaliriza okukola pulogulaamu Omuntu w’Abantu eneeragibwa ku  Ssande eno.

Abakulira Bukedde Ttivvi baategeezezza nti Ssanyu akyali mukozi waabwe wabula bino we bigwiriddewo abadde mu luwummula. 

“Nvumirira  abeefunyiridde ku kukolerera obutambi bw’obuseegu nga bagassegasse ebifaananyi by’abantu. Bonoona abo be babukozeemu, ne bakabawaza abaana abato n’abakulu n’eggwanga”, bwe yategeezezza eggulo.

Kasumaali bye yannyonnyodde Bukedde
 
Nga poliisi tennamukwata Kasumali yasoose mu mboozi ey’akafubo ne Bukedde n’emubuuza ku by’akatambi:
 
Ggwe musajja alabikira mu katambi akasaasaana?
 
Nange mpulira abantu boogera naye ekituufu kiri nti ssi nze ndi mu katambi.
 
Akatambi okamanyiiko ki?
 
Nnasooka kukawulirako mu 2010 ng’abamu ku mikwano gyange bankubira essimu nga bang’amba nti waliwo akatambi k’obuseegu kendimu ne Ssanyu naye ssaakalabako ate era ssaafaayo kukiremerako kubanga nnamanyirawo nti bijingirire. Ku mulundi guno nnawaliriziddwa okulaba akatambi kubanga ebintu bye nnali mpita eby’olusaago byabadde bikutte wansi ne waggulu; wabula era kye nnali nteebereza nti bigingirire ne nkikakasa nga nkeetegerezza.
 
Osinziira ku ki okugamba nti akatambi kagingirire?
 
Ekisooka, ssibeerangako mu mukwano ne Ssanyu. Ekyokubiri ensikya y’omusajja ali mu katambi terina bw’efaanana yange, oyo omusajja mugeteegete. Ssaayansi w’atuuse, omuntu asobola okugatta ebifaananyi nga feesi ya muntu mulala n’agissa ku mikono egy’omuntu omulala n’abiwummuza ku mubiri ogw’omuntu omulala era n’amukozesa ky’ayagala nga byonna abikolera ku kompyuta era olumaliriza n’assa owa feesi erabikira mu katambi ku nninga! Kino kyakolebwa bukolebwa.
 
Ssimanyi ani yakikola, n’ebigendererwa bye nabyo sinnabimanya.
 
Ssanyu yagambye nti abali emabega w’akatambi kano baludde nga bamulwanyisa olwa ffitina nga baagala afiirwe obufumbo n’omulimu nti era bamuwaayirizza ebintu bingi omuli n’okuganza abagagga b’omu Kampala kyokka n’ategeeza nti byonna abikwasizza Katonda y’agenda okubimuyisaamu.
 
Yasiimye omwami we okweyisa mu ngeri ey’ekitegeevu n’abuuka emitego gy’abataagaliza era ne yeebaza n’aba famire ya bba olw’okuyimirira naye mu kaseera ak’okugezesebwa. 
 

 Ebirala.....

Nkyali mugumu - Ssanyu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Annotation20190722173519 220x290

Banjoman muto wa Bobi Wine alina...

Banjoman muto wa Bobi Wine alina ke yeekoleddewo

Annotation20190722170617 220x290

Omwana eyattibwa aziikuddwa: Eyamutta...

Omwana eyattibwa aziikuddwa: Eyamutta abadde yamuziika mu nju

Annotation20190722170129 220x290

Ssentebe asobezza ku bazukulu be...

Ssentebe asobezza ku bazukulu be 2: Poliisi eyazizza amakaage ng'adduse

Dem2 220x290

Omukazi atuludde abasajja entuuyo...

Omukazi atuludde abasajja entuuyo

Hit2 220x290

Champion bagenze bakolima

Champion bagenze bakolima