TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eddie Kenzo ne Rema beeraze amapenzi ku siteegi ne balumya abateesi

Eddie Kenzo ne Rema beeraze amapenzi ku siteegi ne balumya abateesi

By Musasi Wa

Added 7th April 2015

EDDIE Kenzo Musuuza bwe yamaze okuyimba, yayise Rema Namakula ne beeragira ku siteegi amapenzi.

2015 4largeimg207 apr 2015 101817123 703x422

 Bya JOSEPHAT SSEGUYA

EDDIE Kenzo Musuuza bwe yamaze okuyimba, yayise Rema Namakula ne beeragira ku siteegi amapenzi.

Kino kyacamudde abadigiz ene bakuba enduulu eyoluleekereeke. Bwe baasiriikirizzaamu, Kenzo kwe kugamba abawagizi be nti; ‘Bannange ono mata gennyini, alimu ekyama.’

Abantu baabadde bawoggana olw’essanyu kumpi n’okusinga emizindaalo era nga bw’ayogera amala kubasaba basirike anyumye laavu yaabwe kyokka nga buli kagambok’asuulawo bakaaniriza na nduulu olw’okubalaga omukyala mu butongole.

Olwo baabadde beewa zi ‘haaga’ ez’okumukumu n’okwemoolera ku siteegi.

Ye Rema yayogedde kimu nti, Mwebale kulaga mwami wange buwagizi.

Oluvannyuma Rema yayimbye oluyimba lwa Kenzo olwa Nice And Lovely ekyo nakyo ne kireeta obulamu obw’enjawulo mu badigize.

Kyokka wakati awo kyamususseeko n’awa mwami we haaga n’ava ku siteegi olwo Kenzo n’asigala ng’ayimba oluyimba olwo era lwe lwasiibudde abantu ne bakkiriza nti babakubye omuziki.

Rema ye yasoose okuyimba ennyimbaze zonna omuli n’olwa ‘Mucuuzi mucuuzi’, kyokka nga buli lw’atuuka ku bigambo ebyo ng’abantu bo babikyusa ne bayimba nti, ‘Musuuza Musuuza’.

Rema bwe yagenze mu mmotoka ye ey’ekika kya Noah, yategeezezza Bukedde nti, essaawa eno bateekateeka kweyanjula mu bakadde omwaka guno.

........................................................................................................................................................................

LABA WANO EBIFAANANYI: Eddie Kenzo ayanjudde Rema mu kivvulu: Beeraze amapenzi

......................................................................................................................................................................

Buli omu yalinnye mmotokaye ne bagenda mu maka ga Kenzo e Buziga gye basula.

Bino byabadde Nateete ku Comprehensive Hotel ku Paasita ng’ekivvulu kino kyabadde kya Kenzo era bulijjo alanga ng’ategeeza nga ne nnakawere bw’agenda okumuleeta ku olwo.

Guno gwe mulundi ogusoose Kenzo okumukuba ekifaananyi ne Rema kubanga bulijjo bagamba nti tebaagalana.

Okukkiriza nti baagalana, Rema yamaze kuzaalira Kenzo mwana olwo jjuuzi Kenzo n’amutuuma erinnya lya Amaarl Musuuza ekyaleetedde abangi okukkiriza nti baagalana.

Kyokka ne bwe yakkiriza nti bali mu laavu tebeekubyayo kifaananyi kyonna kiwa bujulizi buno.

Eddie Kenzo ne Rema beeraze amapenzi ku siteegi ne balumya abateesi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Enanga1 220x290

Taata wa Enanga atuuyanye ku by’ettaka...

TAATA w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga abadde mu kaseera kazibu ng’annyonnyola engeri ye ne mutabani...

Lukwago 220x290

‘Sasula obukadde 50 oba ogende...

Sandra Katebaralwe, mukyala wa Paasita David Ngabo eyacaaka ennyo olw’okusabira FDC ng’alumba gavumenti ye yadduka...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde

Taxi5 220x290

Poliisi emukutte awambye abaana...

POLIISI y’e Bujuuko etaayizza omusajja agambibwa okuwamba abaana b’essomero n’emussa ku mpingu. Yeewozezzaako nti...

M71 220x290

Museveni awadde Sabiiti ekiragiro...

PULEZIDENTI Museveni awadde amyuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi, ennaku bbiri aveeyo...