TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ensonga 10 lwaki Nkurunziza yasimattuse okuwambibwa

Ensonga 10 lwaki Nkurunziza yasimattuse okuwambibwa

By Musasi Wa

Added 16th May 2015

PULEZIDENTI Nkurunziza owa Burundi yakozesezza akakodyo ke wandiyise aka Milton Obote ake 99, okudda mu buyinza oluvannyuma lw’okumala ennaku bbiri ng’awambiddwa.

2015 5largeimg216 may 2015 095117200 703x422

Bya AHMED KATEREGGA MUSAAZI


PULEZIDENTI Nkurunziza owa Burundi yakozesezza akakodyo ke wandiyise aka Milton Obote ake 99, okudda mu buyinza oluvannyuma lw’okumala ennaku bbiri ng’awambiddwa.

Obote bwe yakomawo mu buyinza mu 1980, oluvannyuma lwa Idi Amin okumuwamba mu January wa 1971, yawera: ku luno nkomywewo n’obukondyo 99.

So nga ne Obote yawambibwa agenze mu lukiiko lwa bakulembeze banne e Singapore. Ne Nkurunziza yabadde agenze Tanzania okusisinkana bakulembeze banne.

Ekyenjawulo nti Obote bwe baamuwamba ng’ali e Singapore teyasobola kweddiza buyinza mu bwangu nga Nkurunziza bw’akoze. Ate bwe yawambibwa ogw’okubiri mu 1985, era teyasobola kukozesa kakodyo ke ka 99.

Wabula akakodyo kano kaayamba Arap Moi owa Kenya mu 1982 lwe yawambibwa okumala olunaku lumu n’akomawo. Yayogera eri eggwanga ku ttivvi nga yeekulisa okuyita ku lugwanyu nga n’ebiyengeyenge bimuli mu maaso.

Ate Dr. Kenneth Kaunda owa Zambia, naye eyali awambiddwa mu 1989 okumala essaawa munaana, bwe yaddako n’asssaawo okusaba kw’eggwanga lyonna okwebaza Katonda okumuzza mu ntebe.

Ne Nkurunziza, akakodyo ke 99 kaamukoledde bwe yazze ku ntebe oluvannyuma lwa Maj. Gen. Godefroid Niyombare eyabadde amuwambye ate okuwanika.

Eggulo, Nkurunziza eyabadde amaze okufuna obubudamu e Tanzania, yazzeeyo eka.
Kiki ekyanafuyizza abajaasi abaabade baakakwata obuyinza?

1. Abatunuulizi b’ebyobufuzi bawadde ensonga nyingi naye ekikulu nti Nkurunziza, eyali omuyeekera ate nga mubuulizi wa njiri, abadde tannasangukira ddala mu mitima gy’Abarundi. Y’omu ku batono abaalondebwa mu kalulu k’amazima. Omulala yali Melchior Ndadaye, gwe baatemula nga yaakawangula akalulu mu 1993.

2. Ate ababadde bamukyaye, babadde tebawagira kukozesa lyanyi kumuggyako kubanga kibadde kijja kuzza okuyiwa omusaayi okubaddewo e Burundi okuva mu 1993.

3. Ekirala, Nkurunziza ava mu gwanga ly’Abahutu abasinga obungi kyokka nga baamala ebyasa n’ebyasa nga bafugibwa Abatuusi. Abahutu abatakkaanya naye bagira ne beekuba mu kifuba. Wadde ne genero eyabadde awambye naye Muhutu era yali muduumizi w’amagye kyokka tewali bukakafu nti abadde anaakuuma emirembe.

4. Genero ono alinga Gen. Sejusa (Tinyefuza) owa Uganda. Yali akulira ekitongole ekikessi n’agobwa mu February nga Pulezidenti amulanga kumulemesa aleme kwesimbawo kisanja kyakusatu.

5. Genero eyawambye yafunye ekizibu kubanga amaanyi ge gabadde gakendedde mu magye ng’asigazzaayo bwe baazirunda. Bwe yawambye yafunye abajaasi batono abamwegattako.

Omubaka Betty Nambooze (DP/Mukono Municipality) agamba nti awagira Nkurunziza okudda kubanga ofunda ne nnakyemalira agenda mu kalulu nga Nkurunziza okusinga akozesa eryanyi. Kubanga mu Uganda, Amin yawamba Obote ne tujaganya nga tetumanyi nti Amin aliba mubi okusinga Obote. Obote yali mubi kyokka ng’akkiriza akalulu ate ye Amin ng’akozesa magye.

6. Maj. Gen. Niyombare yakozesezza leediyo ne ttivvi z’obwannannyini okwerangirira ku Lwokusatu, ate amagye g’eggwanga agakyali amawulize eri Nkurunziza ne gakozesa leediyo ne ttivvi za Gavumenti okulaga nti Nkurunziza akyali mu ntebe.

7. Niyombare yakozesezza omukisa gw’abooludda oluvuganya, abaabadde balinze omukisa ogwo, ne badda ku nguudo ne bazina okufaanana nga bwe gwali wano mu 1971 ne 1985 nga Amin ne Okello Lutwa bagobye Obote.

Obote yagezaako nnyo okukomawo mu 1971 n’alemesebwa Jomo Kenyatta owa Kenya eyamugaana okubuusa ennyonyi ku kisaawe e Nairobi n’okuyita ku ttaka adde mu Uganda. Kwe kukuwang’angukira e Tanzania okumala emyaka mwenda.
Col. John Baptist Bagaza yawamba Michel Micombero owa Burundi mu 1976. Ate naye n’awambibwa mu 1987, yafuba nnyo okudda eka n’alemesebwa n’asibira mu Uganda.

8. Newankubadde waliwo amawanga asatu agoomuliraano agagambibwa obutaagala Nkurunziza nga gagamba nti ali mu nkwawa za Jakaya Kikwete owa Tanzania, abatayagala buvanjuba bwa Afirika kwegatta mangu bukole ensi emu, naye teri ggwanga lyesowoddeyo kuwangira nkyukakyuka.

Omumyuka wa ssentebe wa NRM atwala obuvanjuba Capt. Mukula yagambye nti Uganda ne bw’eba erina obutakkaanya ne Nkurunziza, teyinza kumuvaamu kubanga yewaayo n’asindika amagye agakuuma eddembe e Somalia n’aga Uganda.
9. Ate Pulezidenti Paul Kagame owa Rwanda naye agambibwa okwagala ekisanja ekyokusatu talina bw’awagira mu lwatu balemesa Nkurunziza kisanja kyakusatu.

10. Mu ngeri y’emu ne Museveni asuubirwa okusaba ekisanja ekirala mu 2016 tayinza kuwagira kuwamba Nkurunziza ng’abamuggyako basinziira ku kya kusaba kisanja kirala.

Naye nga bwe bagambna nti ebiddawo tebyenkankana, ne Nkurunziza asigadde anyiga biwundu. Wadde yasoose kuwera nti okulonda kujja kugenda mu maaso, kati obubonero bulaga nti kujja kwongezebwayo.

 

Ensonga 10 lwaki Nkurunziza yasimattuse okuwambibwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ret2 220x290

Proline esuze bulindaala

Proline esuze bulindaala

Yes3 220x290

Uganda esubiddwa eza Afrika

Uganda esubiddwa eza Afrika

Bok1 220x290

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa...

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa bukadde 60

Mis1 220x290

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo...

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo

Kip2 220x290

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa...

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa y’okusiibulukuka Allah agyanukulirawo