TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Amama Mbabazi ne Col kiiza Besigye poliisi ebakutte

Amama Mbabazi ne Col kiiza Besigye poliisi ebakutte

By Musasi Wa

Added 9th July 2015

EYALI Katikkiro wa Uganda John Patrick Amama Mbabazi n’eyali omukulembeze ba FDC Col Kiiza Besigye baakwatiddwa ne baggalirwa.

2015 7largeimg209 jul 2015 135014450 703x422

 Bya MUWANGA Kakooza

EYALI Katikkiro wa Uganda John Patrick Amama Mbabazi n’eyali omukulembeze ba FDC Col Kiiza Besigye baakwatiddwa ne baggalirwa.

Mbabazi yakwatiddwa poliisi ku lutindo e Jinja n’aletebwa ku poliisi ya Kira road mu Kampala ate Besigye n’aggalirwa e Naggalama.

Amama Mbabazi eyabadde ayambadde ettaayi eya kyenvu yasibye ennyama n’asimbula mu maka ge e Kololo mu Kampala ku ssaawa 1: 30 (emu n’ekitundu) ng’ayolekera ekibuga Mbale mu Bugisu gye yabadde ategeka okukuba enkung’aana.


Mbabazi ng’awerekerwa bannamawulire yakutte oluguudo lw’e Jinja n’agenda ng’ayita ku loodi bulooka za poliisi ezaabadde zissiddwa mu bitundu by’oluguudo luno eby’enjawulo.

Yayise e Lugazi n’assanga loodi bulooka n’agiyitako olwo n’ayolekera Mbikko kyokka bwe yatuuse e Njeru ku lutindo lwa Kiyira n’asanga poliisi ng’eyiye abawanvu n’abampi n’ebimmotoka byayo abaamutangidde okweyongerayo n’olugendo lwe .

Yagyiddwa mu mmottoka ye n’ayingizibwa mu kabangali ya poliisi ng’awubira ku bantu abaabadde bakung’aanye nga balekaana nti …’’ ono ye waffe…. n’abalala nti ‘’..agende..’’ olwo poliisi n’emukunguzza okuva e Njeru ng’emuyisa ku lw’e Kayunga n’emukomyawo e Kampala ne basibira ku poliisi ya Kira Road.

Ku poliisi ya Kira Road abaserikale bamuggulidde ne yesogga ofiisi ya DPC .
Omuduumizi w’ebikwekweeto mu ggwanga Andrew Felix Kawesi yategeezezza bannamawulire e Njeru nti Mbabazi yabadde akwatiddwa lwa kulemerako kugenda Mbale kukuba nkung’aana zimenya mateeka era yabadde asuubirwa okutwalibwa mu kkooti abitebye.

‘’Muwadde ebintu bibiri alondeko kimu. Ekisooka kukyusa mmotoka ze addeyo e Kampala oba okusibwa. Alonzeeko kya kisimbayo (kya kusibwa). Tajja kugenda Mbale ne bwe kinaaba ki kuba tumukutte .


Abasirikale nga bakungaanidde ku Col kiiza Besigye oluvannyuma yateereddwa mu mmotoka ya poliisi n'atwalibwa e Naggalama

Wa ddembe okwogera olukunkumuli lw’ebigambo .” Kaweesi bwe yagambye. N’agamba nti bamukwatidde mu tteeka erikiriza poliisi okukwata omuntu anaatera okuzza omusango.

Bo abantu ababaddewo e Njeru baayogedde ebikankana nga babuuza omusango gw’akoze’ ‘’ Mumuleka ayogere gye tuli..’’ bakira abamu bwe basakaanya.

Bannabyabufuzi abatali bamu baayogedde ku kukwatibwa kwa Amama mu ngeri za njawulo: Avuganya ku bwa Pulezidenti bwa Dr. Lulume Bayigga yagambye : ‘’ Amama ayongedde okufuna ettutumu olw’ebimutuseeko era abavuganya Pulezidenti Museveni tweyongedde embavu kuba bino ebintu bulijjo bye twogerako.

Oba Amama bino abadde tamanyi nti bye biriwo kati ayige. Kati NRM yeyawuddemu ebiwayi bisatu okuli NRM Kololo (eya Amama), NRM Nakasero (eya Museveni) ne NRM Kakiri (eya Polof. Bukenya.’’

Omubaka w’e Busiro East Medard Lubega Sseggona yebuuzizza Kawesi gy’ajja obuyinza obwo n’agamba nti mu mateeka agobereddwa obulungi talina musango gwandimuguddwaako. Kyokka ye (Sseggona) nga bw'amanyi (gavumenti) eyinza okumuggulako ebisango omutali ng’obubbi bw’enkoko n’okukwata abakazi.’’

 

Amama Mbabazi ne Col kiiza Besigye poliis ebakutte

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kasubibwafanana2 220x290

'Abaganda temuggwaamu ssuubi, omulimu...

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga asabye Abaganda obutaggwaamu ssuubi, omulimu gw’okumaliriza Muzibwazaalampanga mu...

Nalwoga2 220x290

Bbebi w'omwaka 1 agudde mu kinnya...

ENTIISA ebuutikidde abatuuze b’e Lweza A, omwana ow’omwaka ogumu n’ekitundu bw’asangiddwa ng’afiiridde mu kinnya...

Sheikhnuhumuzaatangabuulira 220x290

Muzaata alumirizza abakulembeze...

Muzaata yakuutidde Abasiraamu okwewala abantu abaagala okubeeyambisa okuggusa ebyabwe era bakomye n’emize egy’okwekutulamu...

Manya 220x290

Bp. Kakooza akunze abayizi okuva...

Omusumba wa Klezia ow’essaza ly’e Lugazi, Christopher Kakooza yakalaatidde abayizi okuva mu mazannyo basome nti...

Mknupd3 220x290

Abavubi e Buvuma bakolokose aba...

Abavubi abakakkalabiza emirimu gyabwe ku nnyanja Nalubaale mu bizinga by’e Buvuma balojjedde abakulembeze baabwe...