TOP

Paasita Bujingo bamugobye ku Bat Valley

By Musasi Wa

Added 8th August 2015

NNANKULU (Dayirekita)w’ekibuga Kampala, Jennifer Semakula Musisi, awandiise ebbaluwa eragira Paasita Aloysius Bugingo owa House of Prayer Ministries International ku Bat Valley, n’abantu abalala abakozesa ebizimbe n’ebintu by’essomero lya Bat Valley Primary School okubyamuka mu bwangu kuba akizudde

2015 8largeimg208 aug 2015 142949413 703x422

 Bya KIZITO MUSOKE


NNANKULU (Dayirekita)w’ekibuga Kampala, Jennifer Semakula Musisi, awandiise ebbaluwa eragira Paasita Aloysius Bugingo owa House of Prayer Ministries International ku Bat Valley, n’abantu abalala abakozesa ebizimbe n’ebintu by’essomero lya Bat Valley Primary School okubyamuka mu bwangu kuba akizudde nti bitaataaganya okusoma kw’abayizi.

Ebbaluwa eno Musisi yagiwandiise nga July 23, 2015 ng’egamba nti abakolera ku ttaka ly’essomero baleekaana era abayizi tebakyetaaya.

Musisi yalagidde Town Clerk wa munisipaali ya Kampala Central okuteeka ekiragiro kino mu nkola bunnambiro, asengule abapangisa bonna abali ku ttaka ly’essomero lino.

Ekiragiro kya KCCA kiddiridde abazadde awamu n’abatuuze okwekubira enduulu mu b’obuyinza nga beemulugunya ku basaanyaawo essomero nga balipangisaako ebitundu.

Mu be beemulugunyaako kuliko, Paasita Bugingo, eyaddira ekisaawe ky’essomero n’ateekako weema mw’akuhhaanyiza abantu okusaba.

Kuno era agattako ekisenge ekinene omuteesezebwa eky’essomero n’aterekamu entebe ssooko okukozesa awalagirwa emizannyo ne katemba.

Abazadde era beemulugunya ne ku mbeera y’essomero anti ebizimbe bikaddiye nnyo nga bitonnya. Ekizimbe kimu kyokka kye kiriko langi, kyokka nga kyapangisibwa era ne ssente ezivaamu zitwalibwa Bayindi.

ABAKULEMBEZE ABATWALA EKITUNDU BANNYONNYODDE

Kansala Peter Aheebwa Ozo, akiikirira Nakasero III ku lukiiko lwa Kampala Central, yategeezezza nti abaagala okuggyawo essomero baatandika kaweefube waabwe mu 2007 era akakuubagano ne katandika.

Abakulembeze baatandika okulirwanirira ne bawandiika ekiwandiiko kye baatwala mu Palamenti nga bayambibwako eyali omubaka wa Kampala Central, Erias Lukwago ng’ali wamu n’eyali kkansala, Max Mboize.

Ozo agamba nti, “Olukiiko oluliddukanya kuliko Abayindi, kuba batwalibwa nti be batandisi baalyo, wadde nga waliwo obujulizi obulaga nti ku bizimbe ebina (4) ebiri ku ssomero, Mmengo yazimbako bibiri. Twasaba dda Palamenti eyingire mu nsonga z’essomero era nga baasaba liizi y’Abayindi gye baalina ku ttaka ly’essomero (eyali eneetera okuggwaako) ereme kuzzibwa buggya, kuba kwaliko essomero lya gavumenti.

Oluvannyuma lw’okufuna amawulire nti essomero baagala kulisengula, twasala mangu amagezi ne tuteeka envumbo (caveat) ku ttaka lino nga July 26, 2007 ne tugisasula mu Uganda Revenue Authority, era n’eteekebwako. Kyokka tukitegeddeko nti Abayindi baafunye obwannannyini obwenkomeredde ku ttaka lino (free hold).

Ssente Abayindi ze bapangisa mu bizimbe by’essomero tebaziteeka ku akawunti ya ssomero era tetumanyi kye zikola. Ensonga zino twazituusa dda mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda n’ewa Minisita w’Ebyenjigiriza.

Ekisaawe ky’essomero, mwateekebwamu weema z’ekkanisa.

SSENTEBE W’EKITUNDU SI MUMATIVU

Hamis Kwesiga, ssentebe wa LCII, Ward, Nakasero III, yategeezezza nti ekisaawe ky’essomero, kirimu weema z’ekkanisa ya Bugingo. Ekisaawe kye kimu kibadde kikozesebwa aba Kolo-lo High School erya bonnabasome owa siniya, eriri okumpi.
“Emyaka nga mukaaga emabega, Abayindi baaleetako bbulooka ne baziyiwa mu kisaawe, kyokka ne tubalemesa.

Abaagala okutwala essomero lyaffe, batandise n’okutiisatiisa abantu abalwanirira essomero nga babayita abalabe ba Katonda. Tewali ajja kutujja ku mulamwa, kuba lino ly’essomero lyokka omuzadde w’okyasobola okusasula 40,000/- omwana n’asoma,” Kwesiga bw’agamba.

Mu kiseera kino ekitundu ekyaliko nnasale kyapangisibwa, era ebizimbe by’essomero kuliko ekkanisa ttaano (5) ezibipangisaako. Ekisenge ky’essomero omuteesezebwa, Paasita Bugingo mw’atereka entebe ze z’akozesa mu weema.
Abalokole bano bakubirawo ebidongo era abaana tebakyasobola kuwulira bulungi ng’abasomesa babasomesa.

Kirowoozebwa nti bino byonna bikolebwa mu bugenderevu okulemesa essomero okubeerawo.

ABAPANGISA KU SSOMERO - BAT VALLEY
Ekkanisa ya House of Prayer yassa weema mu kisaawe ky’essomero, MATMEG Catering, Afri-Talents, EDBENAS Uniforms, Mariam Ndagire, Shield of Faith, Endtime Gospel n’abalala.

Abo tebaagala Katonda - Bugingo

PAASITA Bugingo yagambye nti, “Ezo ntalo za bantu z’otoyinza kusobola kuba beenoonyeza byabwe. Ali emabega w’entalo ezo, amanyiddwa era kiri ku likodi nti yayita Katonda sitaani. Tetulina mirimu gya ssomero gye tutaataaganya, wabula aboogera ebyo tebaagala Katonda.”

Bugingo bwe yabadde mu kusaba ku Ssande, yagambye nti baafunye ekifo ekiri mu bbanga eritasussa kkirommita emu we bagenda okusengulira ekkanisa.

Ebizimbe by’essomero lya Bat Valley biri ‘ku ccupa

ABAYINDI BAAGALA KUliSENGULA

Abakulira ekibiina ky’Abayindi ekya SSDM (abaddukanya essomero lino), baategeeza akakiiko ka Palamenti akaali kanoonyereza ku nsonga z’essomero nga bwe baagala okulisengulawo.

Abayindi balina entegeka y’okugula ettaka lya bukadde 150 eddala we baba basengulira essomero lya Bat Valley. Baategeeza akakiiko nti awali Bat Valley baagala kussaawo essomero ly’obwannannyini n’erya siniya.

Amasomero ga Gavt agaggyiddwa mu Kampala:

Rhamagaria (eryali erya Green Valley Primary School).
Kyaggwe Road Primary School, kati baazimbawo Shopping Mall.
Ariya Primary School e Kamwokya, kati lyafuuka lya bwannannyini.
Nabagereka Primary School.
Shimon Primary School.

ABASOMESA BEEKUBIRA DDA ENDUULU

Bukedde yafunye ebbaluwa okuva mu ofiisi y’atwala ebyenjigiriza mu Kampala Central nga yawandiikibwa June 6, 2015, abasomesa nga balaga embeera embi gye bakoleramu.

Ensonga ze baawa mulimu okuggala nnasale y’essomero mu makkati g’omwaka nga tewali nsonga eweereddwa, era n’ebintu ebyali mu bizimbe bino tebirabikako wamu n’ekisaawe. Baanokolayo ebizimbe n’entebe ebiri mu mbeera embi ng’ekizimbe ky’essomero ekirungi ate tekikolebwamu mirimu gya ssomero sso nga n’abasomesa batiisibwatiisibwa.

Lipooti ya Palamenti ku bya Bat Valley

Palamenti yassaawo akakiiko okunoonyereza ku nsonga z’essomero lya Bat Valley ne kafulumya lipooti mu February wa 2008. Akakiiko kaaliko; James Kubeketerya nga ssentebe ssaako; Sylivia Namabidde ow’e Mityana, Rosemary Seninde ow’e Wakiso, Nalule Safia ow’abaliko obulemu n’abalala.

Essomero lino lyatandika mu 1938 nga lyatandikibwawo Asian Community ku ttaka lya yiika nnya n’obutundu 99, nga lyaweebwayo eyali Gavana. Omukolo gwakolebwa ogw’okusonda ssente z’okuzimba essomero era abantu baabulijjo bangi baawaayo ssente z’okuzimba omwali n’obwakabaka bwa Buganda.

Akakiiko kaakizuula nti Abayindi abeegattira mu kibiina ‘The Shree Sanatan Dharma Mandal (SSDM)’ be baaweebwa liizi okuddukanya essomero lino. Essomero lyalimu abayizi 1,120 mu 2007, kyokka nga mu 2004 lyalimu 2,317.

Kyazuulwa nga ku budde obwo liizi ya SSDM yali yaggwaako nga November 1, 2006 wadde nga ssente ezaali zikuhhaanyizibwa mu bizinensi ezaateekebwawo abazadde nga ‘theatre’ ne kantiini, zitwalibwa ba SSDM sso si kuganyula ssomero, eribadde lyegezebwamu okuggibwawo okuva 2004. Kino kye kimu ku byali bireetedde omuwendo gw’abayizi okukendeera.

Akakiiko ka Palamenti kaasemba essomero lisigale nga ligunjula abaana awatali kutaataaganyizibwa.

 

Paasita Bujingo bamugobye ku Bat Valley

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kap2 220x290

Agambibwa okusobya ku w’emyaka...

Agambibwa okusobya ku w’emyaka 78 bamulagidde yeewozeeko

Muv1 220x290

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa...

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa Kennedy Kyakuwa

Reb2 220x290

Atiisatiisa okusobya ku Basisita...

Atiisatiisa okusobya ku Basisita lwa ttaka

Lab 220x290

Looya alaze ekiyinza okumalawo...

Looya alaze ekiyinza okumalawo enkalu z’abagagga ku bizimbe ebikaayanirwa

Deb2 220x290

Aba UPDF bateereddwa ku ssomero...

Aba UPDF bateereddwa ku ssomero eryayidde e Rakai