TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omukazi eyasiruwazza abasajja n’ababba azirise nga bamukutte

Omukazi eyasiruwazza abasajja n’ababba azirise nga bamukutte

By Musasi Wa

Added 8th August 2015

NNAALONGO Teo Namanda azirikidde ku poliisi gye bamututte oluvannyuma lw’okukwatibwa ku misango gy’okufera abasajja ab’enjawulo.

2015 8largeimg208 aug 2015 110131343 703x422

Bya GEORGE BUKENYA NE JOSEPH MAKUMBI


NNAALONGO Teo Namanda azirikidde ku poliisi gye bamututte oluvannyuma lw’okukwatibwa ku misango gy’okufera abasajja ab’enjawulo.

Kigambibwa nti mu bufere buno, Namanda abadde akolagana ne bawala be abatwalira abasajja ddiiru z’okubaguza ettaka era bwe babamatiza nga babasitula nga babatwala ewa Namanda bamusasule era abawe n’ebyapa.

Namanda nti abadde abeera n’ebyapa eby’ekikwangala ebiwerako era omusajja olumusasula ng’amukwatira ekyapa ng’akimuwa, wabula akizuula luvannyuma nti ettaka lye baamulambuzza n’alisasula lya muntu mulala, n’ekyapa Nnaalongo kye yamuwa kijingirire!

Wadde bamulumiriza nti abadde yaakafera abasajja mukaaga nga n’emisango egimu giri ku CPS mu Kampala, ku luno eyamukwasizza ye musuubuzi Aggrey Lukakamwa amulumiriza nti yamuggyeeko obukadde 25 n’amufera mu ngeri yeemu. 

Lukakamwa yabadde akyasobeddwa nga tamanyi gy’agenda kuggya Namanda kwe kufuna abamutemyako nti alina emisango emirala ku poliisi ya CPS ne bamulagirira e Bulenga ku lw’e Mityana gy’abeera gye baamusanze kyokka baabategeezezza nti abadde yaakasenguka okuva e Nakulabye mu Kampala gye yasooka okubeera.

Lukakamwa ow’e Kyamula Salaama Munyonyo agamba nti Nnaalongo Namanda olumu akyusa amannya ne yeeyita Nifer, yeekobaana ne bawalabe wamu n’abasajja abajja nga beeyita babbulooka b’ettaka okuli Mugisha ne Caroline Bamukunde eyeeyita nnannyini ttaaka ne bamufera obukadde 25 nga bamuwadde ekyapa eky’ekicupuli.

Mu kusooka Mugisha yagamba Johnson muganda wa Lukakamwa nti mwannyina yalina ettaka eritundibwa eriri e Namugongo kyokka ng’alina ekizibu ky’ayagala okumala, olwo Johnson kwe kutegeeza Lukamwa n’amugamba nti basobola okuligula ne baddamu okulitunda ne bafuna amagoba.

Lukakamwa yakwatagana ne Mugisha ne bbulooka omulala, Vincent Kateregga gw’atera okukolagana naye ne bagenda nebalirambula bwebamala ne bagenda e Mukono okukakasa amannya ekyapa mwe kiri ne basanga nga bituufu kwe kusalawo basasule.

Lukakamwa gwe baafeze. Mu katono ye Namanda

Wabula oluvannyuma bwe yali agenda okubasasula baasooka kumubuzaabuza ne bamugamba nti ekyapa waliwo eyabawola ssente ne bakimusingira nga baagala abasasule bakinunule era baamukubira ssimu ne basisinkana.

Wano Bamukunda eyeefuula nnannyini ttaka gye yamugambira awe Nnalongo Namanda obukadde bubiri. Namanda yasooka kuzigaana otuusa lwe bamugamba amwongere emitwalo kkumi bwe yazimwongera olwo n’akwata ekyapa ekyali mu bbaasa n’akimuwa.

Baakola endagaano Lukakamwa ng’asasula 22,900,000/- ne baawukana. Bwe waayitawo omwezi gumu Lukakamwa kwe kukubira Bamukunda ng’ayagala bagende e Mukono bakyuse ekyapa kidde mu mannya ge Bamukunda n’atandika okumubuzaabuza ekyaddako n’aggyako amasimu.

Lukakamwa agamba nti yeesitula n’agenda e Mukono mu ofiisi y’ebyettaka bagenda okukebera ekyapa nga kya kicupuli. Baali baagala kumukwata bamuggalire kwe kubalaga endagaano olwo ne bamuwa amagezi agenda aggulewo omusango ku poliisi kye yakola n’atandika okuyigga abaamubba.

Namanda ng’ali ku poliisi yategeezezza nti waliwo mukwano gwe eyamuleetera abasajja bano ne bamwewolako ssente obukadde bubiri ne bamusingira ekyapa kyokka kyamutwalira ebbanga ddene okusasulwa n’abatiisa okubawaabira kwe kumuleetera ono eyamusasula n’abaddiza ekyapa kyabwe. Omusango guli ku fayiro SD:48/01/07/2015 ku poliisi ya Jinja Road we baggalidde Namanda.

Enkeera ku Lwokutaano, Namanda yatwaliddwa mu kkooti e Nakawa n’avunaanibwa okufuna ssente mu lukujjukujju.

 

Omukazi eyasiruwazza abasajja n’ababba azirise nga bamukutte

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam