TOP

Entalo z’akamyufu zisattiza abanene mu NRM

By Musasi Wa

Added 8th August 2015

OMULIRO oguli mu bifo ebivuganyizibwako mu NRM guleese entalo wakati wa bannabyabufuzi n’abaddukanya akakiiko ak’eby’okulonda mu kibiina.

2015 8largeimg208 aug 2015 113158650 703x422

Bya Muwanga Kakooza ne Meddie Musisi


OMULIRO oguli mu bifo ebivuganyizibwako mu NRM guleese entalo wakati wa bannabyabufuzi n’abaddukanya akakiiko ak’eby’okulonda mu kibiina.

Minisita w’ebyobusuubuzi Amelia Kyambadde ye yasoose okugugumbula Dr. Tanga Odoi akulira akakiiko ka NRM ak’ebyokulonda ng’amulumiriza okwekobaana ne banne ne bakukusa Grace Kansiime Mwesigye ne bamuyingiza mu nkalala za Mawokota North asobole okuvuganya Muky. Kyambadde.

Amelia yatiisizza n’okuva mu by’obufuzi singa emivuyo n’enkwe by’alaba mu kakiiko ka Tanga tebiyimirizibwa. Aludde nga yeemulugunya nti Kansiime yayingira mu nkalala za NRM ng’omutuuze w’e Galiraaya mu Mpigi ate nga talinaayo kakwate, wabula Tanga yagambye nti baavuga emmotoka ne batuuka ku kyalo ne babalaga ennyumba ya Kansiime era ne bamuleka mu nkalala kubanga baali bamaze okukakasa nti mutuuze omutuufu.

Ab’oludda lwa Amelia bagamba nti Kansiime yasindikiddwa abanene abamu mu maka g’Obwapulezidenti abaludde nga balina embiranye ne Amelia era nga baagala Kansiime asseewo okuvuganya okutali kwa bwenkanya mu Mawokota North n’ekigendererwa eky’okumusiguukulula.

Minisita omubeezi ow’ebyettaka Idah Nantaba ye yasoose okulaga okutya olw’enkalala z’akakiiko ka Tanga eza disitulikiti y’e Kayunga ezitali nnambulukufu.

Nantaba agamba nti enkalala za mirundi esatu ze yalabyeko ezirimu emiwendo gy’abalonzi emyawufu era nti kino kiyinza okuwa abamulwanyisa enkizo okuwangula mu makubo ag’obukumpanya ne bamusuuza ekifo ky’omubaka omukyala owa Kayunga. Nantaba avuganya ne Juliet Nalunga agambibwa nti awagirwa nnyo abagagga ababadde battunka ne Nantaba mu nsonga z’okugoba abantu ku ttaka. Kyokka akakiiko ka Tanga kaamusuubizza okutunula mu nsonga zino bakakase nti olukalala lusigala lumu era nga lwe lujja okugobererwa.

Mu byalo, awangudde kkaadi ya NRM abeera n’enkizo olw’obuwagizi ekibiina bwe kitera okufunayo era akalulu k’ekibiina ky’ekikafuula ak’amaanyi. Tanga yalagidde Baminisita bonna okukomya okukozesa emmotoka za gavumenti n’ebintu bya ofiisi okuva nga August 11, 2015 era gwe banaakwata ng’abikozesa mu kunoonya akalulu k’ekibiina waakusazibwamu.

EBIFO EBIRALA EBIRIMU OMULIRO:
MITYANA: Okuvuganya wakati wa Slyvia Namabidde n’Omupoliisi Judith Nabakooba ku kifo ky’omubaka omukyala owa disitulikiti kuliko n’obugombe. Mu Mityana North, Ssentebe w’akabondo k’ababaka ba Buganda Godfrey Kiwanda agenda kuttunka ne Allan Nsimye (mutabani w’Omulamuzi Augustine Nsimye), Didas Kayonga, Sharif Migadde ne Umar Mugerwa ate mu Mityana South: Charles Sserugga Matovu ow’Akabbinkano ku Bukedde TV avuganya ne Henry Makumbi Kamya abadde RDC w’e Luweero. Mu Busujju, Minisita mu ofiisi y’Omumyuka wa Pulezidenti Vincent Nyanzi agenda kuttunka ne Stephen Kafalanga.

KYADONDO EAST: Eyali omubaka Ssitenda Ssebalu attunka ne Stella Njuba. Kyadondo North: Robert Kasule attunka ne G.W Bukenya. Kyadondo South: Paul Ssekiziyivu avuganya ne munnamawulire Ahemd Kateregga Musaazi (abadde mu Bukedde) kw’ossa Frank Kyazze battunka. Ku mubaka omukazi owa Wakiso, Rosemary Sseninde attunka ne Tumusiime Bikaake.

BUSIRO EAST: Mary Sendi, Ddamba Musisi, ne Juliet Naguma battunka. Mu Busiro North awabadde Polof. Gilbert Bukenya, abantu 8 be bavuganya okuli: David Byekwaso Mukiibi, Iragaba Bakunzi, Sarah Namugga, Patrick Nakabaale, Denis Galabuzi, Allan Muyinda, Cissy Mugalu Bayigga ne John Kalungu. E Busiro South: Peter Ssematimba, Steven Danstan Busuulwa owa Top Radio, Haruna Jjumba kyokka era Allan Muyinda era addamu n’alabikira ku lukalala lw’abavuganya ne mu kitundu kino.
Mu Munisipaali e Ntebe: Charles Kirumira, Julius Rubahimbya, Tusimire Mubanguzi bavuganya ku kkaadi ya NRM.

Charles Sserugga Matovu (ku ddyo) ayagala obubaka bwa Mityana South ne Ruth Katushabe ayagala ekifo ky’omubaka omukazi owa Bukomansimbi, mu kwewandiisa ku Kyadondo Road gye buvuddeko. Ku kkono ye HB Matovu, bba wa Katushabe.

MUKONO: Mukono North ; minisita Ronald Kibuule attunka ne Keneth Nsubuga,. E Mukono South ; David Kironde ,meeya w’e Mukono Johnson Muyanja Ssenyonga,omubaka Bakaluba Mukasa, Arthur Brick Mugerwa, eyali omubaka Margaret Nalugo Ssekiziyivu bagenda kuttunka.Mukono Municipality erimu Betty Nambooze owa DP aba NRM okuli Esther Baroma,Ndibassa Fatuma ne Ssozi Abas bakyetaaga. E Nakifuma : Lukooya Mukoome abadde ssentebe wa LC5 ,Mugambe Kifomusana eyali omubaka ne Saina Nanfuka battunka.

Butambala: Abadde RDC wa Kampala Aisha Kabanda attunka ne Lydia Mirembe ku kifo ky’omubaka omukazi kati ekirimu Mariam Nalubega asuubirwa okuvuganya nga talina kibiina mw’ajjidde.

KAYUNGA: Bbaale: Sulaiman Madaada minisita attunka ne Samuel Bukenya, Henry Sebaganzi, James Makumbi, George Nsamba Kumaama ne Ishaka Mwanje.

MUBENDE: Bukuya County: Joseph Kakooza, Athony Ssemmuli, Jackson Ndahiro ne Robinson Kwezi. Mu Kassanda North: Haruna Salabaya, Patrick Oshabe Nsamba, Kalemaziod Katongole, Micheal Bukenya Iga ne Anthony Mulindwa Musoni. Ate e Buweekula: Henry Ssemakula, Godfrey Twebaze, Enock Kasirabo ne Francis Kibuuka. E Kassanda South Minisita Nyombi Thembo attunka ne Herbert Tumusiime, Simeo Nsubuga.
BUIKWE: Buikwe North: Onyango Kakoba attunka ne Paul Musoke ne Nabatanzi Lugudde. Buikwe West Ssali Baker attunka ne Dan Kigozi, Loum Janani ne Isaac Mulindwa.

E LUWERO: Ndawula Ali Ssekyanzi akomyewo bw’omu mu kamyufu kyokka ng’ayolekedde okuddamu okuvuganya minisita Dr. J.C Muyingo asuubirwa okuvuganya nga talina kibiina. Katikamu South; Kidhu Makubuya, attunka n’omubazi w’ebitabo mu palamenti Edward Ssembatya, ne Patricia Magara. Katikamu North – Minisita Abrahim Byandala attunka ne Silver Karuhanga

NAKASEKE: Nakaseke County; Syda Bumba attunka ne Paul Kasolo Ssajabi ne David Kadidi.

NAKASONGORA: Budyebo County : Minisita Muluuli Mukasa attunka ne Johson Butamanya ne James Ssemyalo: Ate mu ssaza ly’e Nakasongola: James Wandira Muluuli, Mutebi Noah Wanzala Peter Ssegujja battunka n’eyali minisita Peter Nyombi. Ate abattunka ku ky’omubaka omukazi owa disitulikiti kuliko; Margaret Komuhangi, Lydia Nabulya, Tubwita Grace Bagaya ne Betty Namanya.

MASAKA: Bukoto East: Baker Kizito, Phibby Kiwalabye, Abdallah Nkoyoyo ne Moses Sebugwaawo Muyingo be battunka. Mu kibuga Masaka: Nakalanzi Maria Jjuuko attunka ne Herman Ssentongo. Ky ky’Omubaka omukazi: Joanita Nalule attunka ne Kase Mubanda.

E LWENGO: Bukoto Midwest: Eddy Ssanga, Arthur Ssajjabi, Joseph Kasozi, Isaac Ssejoba ne Edward Ntale be battunka. Ate Bukoto West Abdul Kitatta,Robert Ssenyange, Moses Kasule, Deus Kiberu, Sadiq Mutebi ne David Bbaale. E Bukoto South: Haji Mbabali Muyanja attunka ne Getrude Lubega Nakabira. Ate omubaka omukazi Sarah Nkonge attunka ne Cissy Namujju.

BUKOMANSIMBI: Asuman Kasujja, Julius Bulegaya, Kagimu Kiwanuka ne Lubyayi Kisiki be battunka. Ate ku kifo ky’omukazi omukazi kuliko; Janat Kayondo, Ruth Katushabe, Halima Nakawungu ne Salaama Nakandi.

KALANGALA: Bujumba County: Fred Badda attunka ne Leon Lumaga. E Kyamuswa: Carolyn Nannyondo attunka ne Moses Kabuusu ate omubaka omukazi kuliko; Nakimera Lydia, Idah Nabayiga ne Betty Kabaalu.

LYANTONDE: Kabula: James Kakooza attunka ne Enos Asiimwe, Moses Ali Ssemanda, Rwamurindwa Matsiko, Brian Kasita ne Ezra Mugyenyi. Omubaka omukyala owa disitulikiti kuliko; Pauline Kemirembe avuganya ne Deborah Rwabwogo.

SEMBABULE: e Lwemiyaga: Patrick Nkalubo, Deo Musoke, David Patrick Sabiiti , Andrew Nankunda. Ate e Mawogola: Sam Kuteesa attunka ne Isha Ntumwa, Dezi Byuma, Charles Muwanguzi, Joseph Ssekabiito, Henry Twesigye ne Faisal Damulira be battunka. Ku ky’omubaka omukazi : Doreen Kagabi, Anifa Kawooya, Diana Nuwenyine, Scovia Tumushabe, Joy Kabatsi be battunka.

RAKAI: Kakuuto : Musooke Kiwanuka, Richard Tugaine, Rose Nalubowa, Christopher Kalemba, Pascal Mugabe ne Vincent Ssemakula be battunka. E Kooki James Kimera Kiwanuka, Boaz Ninsiima, Samuel Kaggwa Ssekamwa Amos Mandera ne Benon Yiga, Erusmas Magulumali, Godfer Samula, Didas Tayebwa ne Godrey Kabende . E Kyotera: Pius Mujuzi,Peterson Katongole ne Vincent Ssemakula.Abavuganya ku mubaka omukazi kuliko; Nanyange Kibalama,Jane Frances Kagayi .

KALUNGU: Kalungu East : Mathias Kintu, Lule Mawiya ne Ronald Ssenyondo be battunka. Kalungu West; Joseph Mugagga, Anthony Iga, Ishaka Mwanje, Daniel Mutebi ne Doborah Nakimbugwe be battunka. Ate omubaka omukazi kuliko Florence Kintu, Hawa Namugenyi ne Margaret Ntambaazi.

KIBOGA: Kiboga East: James Kiwalabye Kabajjo attunka ne Kefa Kiwanuka, Geoffrey Kukunda ne Abdul Kakumba.
Tanga yalangiridde enteekateeka z’okulonda mu NRM ez’omwaka guno:
August 10 – 13: Akakiiko kasisinkana abeesimbyewo n’okutendeba abanaalondesa.
August 14 -16: Okutimba enkalala z’abalonzi mu kibiina.
August 25: Ssaabawandiisi w’ekibiina awaayo enkalala enzijjuvu ezinaagobererwa.
September 1-7: Kkampeyini eziri ku mitendera gy’Ababaka, Bassentebe ba LC 5 ne ku magombolola lwe ziggulwawo.
September 25: Okulonda ku bifo by’Ababaka, Bassentebe ba LC 5 ne ku magombolola.
September 30: Okulonda kw’ebifo by’abavubuka n’abakozi.
October 2: Ttabamiruka w’ekibiina alonda abakulembeze b’ekibiina n’anaakikwatira bendera ku Bwapulezidenti mu 2016.

 

Entalo z’akamyufu zisattiza abanene mu NRM

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwanangaluaekikajjyo11webuse 220x290

Endabirira y'amannyo g'omwana eneegakuuma...

Okuziyiza amannyo g'omwana okulwala mu bukulu otandika mu buto okugayonja n'okugajjanjaba.

Katereggangalagaapozatundawebuse 220x290

Okutunda apo nkuguzeemu embuzi...

Nasooka kusiika capati e Iganga ne nzija e Kampala okutunda apo mwe nfuna 200,000/- omwezi era nguzeemu embuzi...

Sserunkuuma2webuse 220x290

Ebbumba eryenyinyalwa abasinga...

Bulikye mmumba nkijjuukirirako maama eyambeererawo mu bulamu kyokka n'atabaawo kugabana ku ntuuyo ze.

Kap2 220x290

Agambibwa okusobya ku w’emyaka...

Agambibwa okusobya ku w’emyaka 78 bamulagidde yeewozeeko

Muv1 220x290

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa...

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa Kennedy Kyakuwa