TOP

Abako batuuse awanaabeera okuziika Aronda

By Musasi Wa

Added 16th September 2015

BAKODDOMI ba Gen. Aronda Nyakairima bakuNGaanidde mu makaage e Nyakiju Rukungiri okukungubagira mukoddomi waabwe.

2015 9largeimg216 sep 2015 111625597 703x422


Bya CALEB BAHIKAHO

BAKODDOMI ba Gen. Aronda Nyakairima bakuNGaanidde mu makaage e Nyakiju Rukungiri okukungubagira mukoddomi waabwe.

Abamu ku bamanyi famire baategeezezza nti kitaawe wa Nnamwandu Lindah Aronda yali agaanye muwalawe okufumufumbirwa ng’agamba nti famire yaabwe bayivu tayinza kukkiriza muwalawe kufumbirwa balunzi ba nte.

Linda mwana waakubiri mu baana ba James Kahoza ow’e Nyaburondo Nyakagyeme e Rukungiri.

Kahoza yali muwandiisi ow’enkalakkalira mu minisitule y’ebyensimbi, yasooka kukolera Ntebe era abaana be gye baasomera bwe yawummula n’alyoka adda mu kyalo.

David John Kabaterine muliraanwa wa Kahoza era nga yasoma naye yategeezezza nti okufa kwa mutabani waabwe kwabakubye wala era si bamativu n’enfa ye balinda bbaluwa ya musawo basobole okumanya ekituufu.

Pulogulaamu y’olunaku
PAALAMENTI efulumizza Pulogulaamu yaayo ey'okukungubagira Aronda nga yaakutandika ku ssaawa 3:00 ez'oku makya ku Lwokuna, era bendera zaakwewuubira wakati ku milabba.

1 Wajja kubaawo olutuula olw'enjawulo ku ssaawa 8:00 ez'olweggulo ababaka lwe bajja kuyisa ekiteese ekisemba emirimu gya Aronda abadde Minisita ow'ensonga Ezomunda nga yaliko n'omuduumizi w'amagye wakati wa 2003 ne 2013.

2 Ekiteeso ekisiima emirimu gya Aronda kya kwanjibwa Katikkiro wa Uganda, Dr. Ruhakana Rugunda kisembebwe akulira oludda oluvuganya mu Palamenti Wafula Oguttu n'oluvannyuma ababaka ab'enjawulo nabo bamwogereko okutuuka ku ssaawa 10:00 ez'olweggulo.

3 Ng'ekiteeso tekinnayanjibwa, wajja kubaawo okuganzika ebimuli ku ssanduuko y'omugenzi nga Sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga, y'ajja okusooka, addirirwe, omumyuka wa Pulezidenti Edward Sekandi, kuddeko omumyuka wa Sipiika Jacob Oulanyah, Katikkiro Rugunda, addeko n'abalala bagoberere

Amaka ga kitaawe wa mukyala wa Aronda agasangibwa ku kyalo Nyaburondo Nyakagyeme Rukungiri

4 Omulambo gwakuggyibwa mu Palamenti ku ssaawa 10:15 gutwalibwe mu maka g'omugenzi e Buziga gye gunaaggyibwa ku Lwokutaano okutwalibwe e Kololo mu kusaba okw'eddiini zonna.

5 Gen. Aronda waakuziikibwa ku kyalo Nyakiju mu disitulikiti y'e Rukungiri ku Ssande nga September 20, 2015 ng'emikolo gyakutandika n'okusaba ku ssaawa 3:00 ez'oku makya.

Lwe yagenda mu kyalo ewaabwe okutawulula enkaayana z’ettaka


Genero tayinza kumala gafa atyo - Kasirye Ggwanga

‘Aronda ku kyalo abadde agondera aba LC’

Bagenero 9 be balondeddwa okusitula Aronda

Abako batuuse awanaabeera okuziika Aronda

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

No Matching Document

Emboozi endala

Yop2 220x290

Production beetisse ekyemizannyo...

Production beetisse ekyemizannyo mu Vision Group

Nan1 220x290

OLuyimba lwa tukiggale lutabudde...

OLuyimba lwa tukiggale lutabudde Carol Nantongo ne Racheal Namiiro

Seb2 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu butto w'ekinzaali okulwanyisa alaje

Kab3 220x290

Ebyabaddewo ng'aba Poliisi bagobwa...

Ebyabaddewo ng'aba Poliisi bagobwa mu palamanti

Fub2 220x290

Entalo ezibadde mu ssomero ery'ayidde...

Entalo ezibadde mu ssomero ery'ayidde e Rakai