TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba DP, UPC ne JEEMA bawagidde Amama Mbabazi ku bwapulezidenti

Aba DP, UPC ne JEEMA bawagidde Amama Mbabazi ku bwapulezidenti

By Musasi Wa

Added 26th September 2015

PULEZIDENTI wa DP, Norbert Mao yasomye ekiwandiiko ekyasembeddwa ebibiina musanvu nga byonna biwagira Amama Mbabazi.

2015 9largeimg226 sep 2015 080608983 703x422

PULEZIDENTI wa DP, Norbert Mao yasomye ekiwandiiko ekyasembeddwa ebibiina musanvu nga byonna biwagira Amama Mbabazi.

Mao yategeezezza nti nga bali mu nteeseganya z’omukago, abasinga baabadde baagala Mbabazi kyokka eky’ennaku abantu abamu ne balemwa okulaba ekyabadde kiri mu ggiraasi nti Mbabazi y’alina okukwata bendera ya TDA.

Mao yagambye nti: Ekiseera kino Mbabazi gwe twetaaga kubanga y’asobola okuleeta enkyukakyuka.

Matthias Nsubuga ssaabawandiisi wa DP yasomye agamu ku mannya g’abakulembeze b’ebibiina abawagira Mbabazi okuli Muhammed Kibirige Mayanja (JEEMA), Gilbert Bukenya (PNU), Imaam Kasozi, Miria Matembe, Joseph Mulwanyammuli Ssemwogerere, Fr. Gaetano Batanyenda, Rtd Bishop Ochola, Zackary Olum n’abalala. Otunnu yagambye nti, TDA teyasazeewo kussaawo bavuganya babiri ku Bwapulezidenti, wabula yasazeewo kussaawo makubo abiri ng’erimu lirimu Besigye ate eddala nga lirimu Besigye kyokka ng’amakubo ago gajja kutuuka ekiseera gasisinkane.

Mbabazi yagambye nti akkirizza okuvuganya ng’awagirwa ebibiina 7 kw’ossa Bannayuganda abalala abaagala enkyukakyuka ey’emirembe.

Yasiimye Mao ne Bukenya okusalawo okussa wabbali ebigendererwa byabwe ne bamulekera y’aba avuganya ku Bwapulezidenti mu 2016. Yawadde Besigye amagezi okuleka emabega ebibadde bibaawula n’ebyayita, batunule mu maaso gye balaga kubanga balina ebigendererwa bye bimu eby’okuleeta enkyukakyuka ey’emirembe enaayamba Bannayuganda.

Yagambye nti abalonzi obukadde 15 n’emitwalo 70 nga ku bano beetaagako obukadde 8 okuwangula kyokka okukikola, balina okussa amaanyi okuviira ddala wansi ku byalo.

Besigye yasigazza obuwagizi bw’ekimu ku biwayi bya CP ekya Ken Lukyamuzi kyokka ate Mbabazi n’atwala ekiwayi kya Ssaabawandiisi wa CP, Ssemusu Mugobansonga. Ekiwayi kya Truth and Justice ekya Erias Lukwago kyawaddeyo wiiki bbiri okusalawo gwe kinaawagira.

Mbabazi yalaze abamu ku b’azze nabo okuva mu NRM okuli Dr. Lukanga okuva mu Zombo, n’abalala okuva e Buliisa, Kabaale n’ebitundu ebirala n’agamba nti mu kibiina tavuddeeyo ne mukazi we oba mulamuwe bokka. Nsubuga yagasseeko nti ne Besigye mu kuva mu NRM mu 2000 yavaayo ne mukaziwe Winnie Byanyima ne Winnie Babihuga kyokka aba DP ne bamwaniriza ku Pope Paul mu Ndeeba era ne bakozesa emirandira gyabwe okumuwagira nga ne ku luno emirandira egyo gye bagenda okukozesa okuwagira Mbabazi.

Yagambye nti bw’anaawangula akalulu ka 2016 agenda kubeera Pulezidenti wa Bannayuganda bonna okwawukanako ne Bapulezidenti be yayogeddeko nti babeera Bapulezidenti b’abo bokka abaabalonda. Yagambye nti kampeyini ze zigenda kwesigamizibwa ku nsonga ssi bantu ssekinnoomu kubanga tebalina kye bali bw’obageraageranya ku ggwanga eddamba.

 

Aba DP, UPC ne JEEMA bawagidde Amama Mbabazi ku bwapulezidenti

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

No Matching Document

Emboozi endala

59148f0c79e3455bb2de95a2f1b5a89d 220x290

Ogwa Bajjo okunyiiza Museveni gugobeddwa...

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Stella Amabirisi agobye omusango ogubadde guvunaanwa omutegesi w'ebivvulu Andrew...

Top33 220x290

Aba FMU batongozza ez'oku ssande...

Aba FMU batongozza ez'oku ssande

Babe 220x290

Eyannimba okuba omuserikale anneefuulidde....

Nsobeddwa oluvannyuma lw’omusajja eyannimba nti muserikale wa tulafiki ku poliisi y’e Kanyanya okunfunyisa olubuto...

Funa 220x290

Mayinja ayogedde ku by'okufuna...

Mayinja bwe yatuukiriddwa yasoose kusambajja bimwogerwako nti yafuna ssente okulwanyisa People Power era n’ategeeza...

Dav11 220x290

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde...

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde abazadde abatatuulira bitone by'abaana