TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Paapa asabye bannaddiini okukkiriza enkyukakyuka

Paapa asabye bannaddiini okukkiriza enkyukakyuka

By Musasi Wa

Added 10th October 2015

PAAPA Francis alabudde Bakalidinaali n’Abasumba okukomya okusibira mu kituli ekimu ng’eppeesa, bakkirize enkyukakyuka z’aleese mu Eklezia basobole okuziteeka mu nkola. Enkyukakyuka Paapa z’ayogerako kwe kuli eky’okukkiriza abafumbo abaawukanye okuddamu okuwayira.

Vatican, Lwakutaano

PAAPA Francis alabudde Bakalidinaali n’Abasumba okukomya okusibira mu kituli ekimu ng’eppeesa, bakkirize enkyukakyuka z’aleese mu Eklezia basobole okuziteeka mu nkola. Enkyukakyuka Paapa z’ayogerako kwe kuli eky’okukkiriza abafumbo abaawukanye okuddamu okuwayira. 

Omwogezi wa Vatican, Fr. Federico Lombardi yategeezezza nti zino z’ensonga eziri mu lusirika ze balina okuteesaako n’amenyawo oluvuuvuuno olwabaddewo nti bingi ebyayingizibwa mu lusirika omwaka oguwedde ebitaali ku lukalala lw’ebyo bye baalina okuteesaako.

Yabadde yaakafulumya bino, Kalidinaali Paul-Andre Durocher okuva e Canada n’aleeta ekiteeso abasiisita (abakyala) mu Eklezia Katolika nabo bakkirizibwe okukuzibwa, waakiri okufuuka Abadyankoni.

Kalidinaali yasinzidde mu lusirika e Vatican n’ategeeza nti bw’ogeraageranya omuwendo gw’abasiisita okwetooloola ensi gusingira wala ogwa Bafaaza. Yagambye nti  Abasiisita bali 700,000 ate Bafaaza bali 415,000.

Bino byonna nga bikyereeza abakulu ebikya, ye  Ssaabasumba w’e Accra, Charles Palmer-Buckle yatuuzizza olukuhhaana lw’abaamawulire n’ayoleka obutali bumativu nti eyategese ebiteesebwako mu lusirika luno atunuulidde mawanga ga Bazungu gokka, teyataddemu nsonga za Afrika. 

Yagambye nti omulamwa gw’olusirika guli ku maka kyokka basinga kwogera ku nzimba y’amaka g’Abazungu omubeera taata, maama n’abaana tewali kye boogera ku nzimba y’amaka mu Afrika mw’osanga nga mukuhhaaniramu abazadde n’abaana be bazaala wamu n’abooluganda okuva ku njuyi zonna.

Omukugu aludde nga yeekenneenya ensonga z’e Vatican, John Allen yawandiise n’alabula ng’olusirika terunnaba kutandika nti olw’omulundi guno tebalina kulusuubiramu kusiimiikiriza kwokka wabula luyinza okubeeramu ensonga nnyingi eziriko enkalu ne balemwa okuzikkaanyaako ekintu ekirabika nga kitandise okweyoleka.

Omusumba Durocher, pulezidenti w’olukiiko olugatta Abasumba b’e Canada yayogedde ensonga eri Paapa ku mutima bwe yannyonnyola nti ayagala nnyo abantu ab’enjawulo baweebwe emikisa egy’ekyenkanyi ku mirimu gya Klezia naddala ku nsonga z’abakyala naye bitono bye yaakateeka mu nkola.

Abawakanya okussaawo abadyankoni abakazi bagamba nti Yezu Kristu yennyini mu kulonda abatume be yalonda basajja era n’endagaano empya etangira emirimu abakazi gye basaba. 

Era ekimu ku bisinga okukalubya ensonga beebo abagamba nti Bafaaza bafumbirwa Klezia ne bakuba ebirayiro okuginywererako, tebawasa bakazi kukuba nabo birayiro kati olwo abakazi bwe bafuuka banaakuba n’ani ebirayiro byabwe!

 

 

Paapa asabye bannaddiini okukkiriza enkyukakyuka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

No Matching Document

Emboozi endala

Kavuma1jpgweb 220x290

Omukazi yanfera omukwano

Nze Abdurrahman Musingunzi 25, mbeera Kalerwe. Twasisinkana n’omukazi mu ttendekero erimu eryobusomesa e Ibanda...

Mwana2jpgweb 220x290

Abazadde basobeddwa olw'omwana...

Abazadde basobeddwa olw'omwana waabwe okuyubuka olususu buli olukya naye nga tebamanyi kimuluma. Bagamba nti omwana...

Kadaga 220x290

Kadaga alabudde abakozesa obwana...

Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga asabye gavumenti okussaawo amateeka amakakali agakangavvula abakozesa abaana...

Ndagamuntuyomugenzi2 220x290

Afiiridde mu mulyango nga bamutwala...

Abatuuze basabye bannannyini mayumba okukomya okupangisa abantu amayumba nga tebafunye bibakwatako

Sat2 220x290

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba...

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba mu mpaka za Begumisa cup