TOP

Mbega alumirizza Putin okutega bbomu eyatta 224 mu nnyonyi

By Musasi wa Bukedde

Added 27th December 2015

Eyali mbega ow’oku ntikko mu Russia, Maj. Boris Karpichkov, awawaazizza ensi bw’alumirizza Pulezidenti wa Russia, Vladimir Putin, okutirimbula bannansi be 224 mu nnyonyi e Misiri

Putin1 703x422

Eyali mbega ow’oku ntikko mu Russia, Maj. Boris Karpichkov, awawaazizza ensi bw’alumirizza Pulezidenti wa Russia, Vladimir Putin, okutirimbula bannansi be 224 mu nnyonyi e Misiri gye buvuddeko ng’ekigendererwa kufuna busaasizi mu bantu abaali bamukyaye olw’okulumbagana Ukraine.

Kyategeezeddwa era nti Putin yettira abantu be bano ng’amanyi nti bannalukalala ba ISIS bajja kwanguwa okwewaana nga bwe baakoze ettemu, Russia efunireko obusaasizi mu mawanga gakirimaanyi n’okugikkiriza okulumba Syria ataase Pulezidenti Bashaar al-Assad nga yeekwese mu kukuba abatujju “abaakuba ennyonyi ya Russia” mu Misiri..

Nga August 31 2015, abalambuzi 217 nga bonna nzaalwa z’e Russia, n’abakozi 7 baafiira mu nnyonyi (Metrojet Flight 9268) mu pulovinsi y’e Sinai mu kyondo kya Buwalabu, bwe yali edda mu St Petersburg mu Russia.

Amangu ddala, bannalukalala aba ISIS, abalwanyisa gavumenti ya Pulezidenti Al-Assad e Syria, beewaana nga bwe baakoze ettemu lino era Putin n’awera mu bwangu nga Russia bw’erina okusaanyaawo abatujju bano olw’obulumbaganyi bwe ‘baakola’ ku nsi ye.

Wadde ng’abakugu baakuba ebituli mu kwewaana kwa bannalukalala abaagamba nti ennyonnyi baagikubya kikompola kubanga abakessi ba Amerika ne Russia baali bamaze okuzuula nga waliwo bbomu eyali etegebwa mu nnyonyi eyatulika n’etta abantu abo.

Wabula ku Ssekukkulu, Maj. Boris Karpichkov, eyali akolera mu kitongole kya bambega ba Russia ekya KGB kati ekiyitibwa FSB, yasinzidde e London ekya Bungereza n’ategeeza nti olukwe lw’ettemu lino lwalukibwa Putin yennyini era ebigendererwa bye byonna ne bituukirira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dav1 220x290

Museveni beyakuzizza bambaziddwa...

Museveni beyakuzizza bambaziddwa ennyota zaabwe

Mum2 220x290

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku...

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku kakalu ka kkooti tewayise n'addakiika n'addamu okukwatibwa

Lab2 220x290

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa...

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa alaajanye

Kab2 220x290

Ssewungu akubirizza bannaddiini...

Ssewungu akubirizza bannaddiini okuvumirira empaka

Lwa2 220x290

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo