TOP

Ebikulu ebisuubirwa mu mwaka 2016

By Musasi wa Bukedde

Added 1st January 2016

Omuwandiisi waffe Ahmed Mukiibi akuleetedde ebikulu ebisuubirwa mu mwaka omuggya 2016

2016 703x422

OMWAKA 2016 gutandise wakati mu kugwesunga n’okugweraliikirira olw’ebigusuubirwamu wano mu Uganda ne mu nsi yonna.

1 Buli muntu, 2016 agwesunga okuva ku bannabyabufuzi abeesibyewo ku bifo eby’enjawulo, abalimi abalina bye baasimbye mu nkuba ebadde efukumuka, abasomesa, abasawo n’abakozi ba gavumenti abeesunga bajeti y’eggwanga nti oboolyaawo gavumenti egenda kubasuuliramu akantu nga bwe baasubizibwa.

2 Abeeraliikirira 2016, nabo bawerako, okuviira ddala ku bazadde olw’amasomero okwongeza fiizi, abasuubuzi emitima be gitujjira mu mitwe ng’egy’ebyennyanja kuba tebamanyi ddoola bweneebeera mu 2016 n’abakolera mu Kampala abafuuyirira olunwe, Jennifer Musisi obutabazza mu kyalo n’abantu bonna okutwaliza awamu olw’okutya ku binaddirira ng’okulonda kw’omwezi ogujja kuwedde.

3 Okulonda kwa Pulezidenti n’ababaka ba Paalamenti kwa February 18. Bassentebe ba disitulikiti, Loodi Meeya, amagombolola ne bakansala baakulondebwa mu March.

4 Ng’ebyokulonda bivudde mu ddiiro, abantu bagenda kudda ku mirimu gyabwe wabula abamu ku beesimbyewo ku Bwapulezidenti n’ababaka ba Paalamenti bajja kwemulugunya ku binaava mu kulonda era emisango gy’ebyokulonda gigenda kubeera mingi, kyokka tewajja kubaawo mbeera yonna yaakutabangula mirembe.


5 Kisuubirwa nti abamu ku bali ku ludda oluvuganya omuli n’abaamannya basuubirwa okusala eddiiro okudda mu NRM oluvannyuma lw’okulonda.

6 Kabinenti ya Pulezidenti gy’agenda okulonda mu May 2016 esuubirwa okubaamu amannya amapya mangi naddala abantu ab’emyaka emitono era abamu bakinvinvi n’abantu abaludde mu byobufuzi bagenda kusuulibwa.

7 Bajeti y’eggwanga esuubirwa okwongeza emisolo emikadde n’okussaawo empya nga gavumenti egenderera okuziba ettuli eddene ebyokulonda bye ligenda okukuba mu ggwanika ly’eggwanga era wajja kubaawo okuluma obujiji mu bantu baabulijjo olw’embeera ey’ebyenfuna egenda okwongera okubeera enzibu ddala.

8 Kampala agenda kwongera okukaluubirira abantu abeeyiiya obweyiiya olw’amateeka amakakali n’emisolo KCCA gy’egenda okussawo okwongera okutereeza, okuyonja n’okuzigula ekibuga.

9 Ababaka ba Paalamenti eye 10 tebagenda kwawukana ku ba Paalamenti ey’omwenda mu nneeyisa yaabwe naddala ku ky’okwepena entuula za Paalamenti, okugujubanira omusaala, ssente ez’emmotoka n’okukola katemba waabwe atalina ky’agasa balonzi.


10 Obuli bw’enguzi mu ofiisi za gavumenti ku mitendera gyonna si bwa kuggwaawo wadde ng’ebitongole bya gavumenti ebirwanyisa enguzi n’obulyake bigenda kufuba okubulwanyisa.

11 Ebweru w’eggwanga, okufaananako nga Uganda, n’amawanga ag’enjawulo mu nsi yonna gagenda kubaamu okulonda kwa Pulezidenti n’ababaka ba Paalamenti.

Amawanga agagenda okubeeramu okulonda mulimu: Amerika, Niger, Benin, Djibouti, Philippines, Cape Verde, Zambia, Democratic Republic of Congo, Gambia, Ghana, Somalia, Gabon n’amalala.

Okulonda okusinga okwesungibwa kwa Pulezidenti wa Amerika, okw’okubaawo mu November. Ono owa 45 agenda kudda mu bigere bya Barack Obama agenda okumalako ekisanja kye mu January wa 2017.

12 Obutali butebenkevu obuli mu mawanga nga Syria, Libya, Afghanistan, Iraq, Palestine, Yemen, Burundi, Somalia, Central African Republic busuubirwa okusigalawo ne mu 2016 wadde amawanga gakirimaanyi nga Amerika, Russia, China n’agamu aga Bulaaya gagenda kwefuula agali mu kaweefube ow’okumalawo entalo ezo.

13 Pulezidenti wa Russia Vladimir Putin agenda kwongera okubojja Amerika ku luwonzi mu kaweefube ow’okuzza Russia ku ntikko mu nsi ey’ebyobufuzi by’ensi yonna.

14 China egenda kwetereeza mu by’enfuna eddemu okussaawo okuvuganya okw’amaanyi ku Amerika.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Grav 220x290

Mujje mbalage ekitone ly’okuyimba...

Oluvannyuma lw’emyezi ebiri ng’ali mu kutendekebwa okwa kasammeme n'okugoggola eddoboozi, Gravity Omutujju ayise...

Uni 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUNA AKULEETEDDE...

Bobi Wine olusimbudde okuva mu Amerika, abawagizi be ne batandikirawo okujeemera poliisi. Amagye gakutte owa Flying...

Banyarwanda2 220x290

Abanyarwanda basabye Kabaka ettaka,...

ABANYARWANDA ababeera mu Uganda basabye Kabaka asiime abawe ettaka Ssekabaka Muteesa II lyeyali abawadde e Kibuye...

Fortunessentamu2 220x290

Abagwira 6 bakuvuganya ne Bannayuganda...

Laawundi y'empaka za ddigi eyoomukaaga ku kalenda ya Uganda yakwetabwaamu abagwira 6.

Courtgavelscales1024683 220x290

Kkooti zonna zaakujjukira Benedicto...

Mu 1972 abajaasi ba Amin baalumba Benedicto Kiwanuka mu ofiisi ye ku Kkooti Enkulu ne bamuwalawala mu kifo ekitaategeerekeka...