TOP
  • Home
  • Ag’eggwanga
  • Benz ezibye Leila Kayondo amaaso n’asaba poliisi eyimbule Mbuga eyamukubye

Benz ezibye Leila Kayondo amaaso n’asaba poliisi eyimbule Mbuga eyamukubye

By Musasi wa Bukedde

Added 4th January 2016

YASOOSE kutegeeza nti “nkooye embera eno, Mbuga okunkuba n’okuntulugunya nga nsirika busirisi leero mutwala mu bamateeka akangavvulwe.”

Leiha 703x422

Leila Kayondo ng’alaga enkufu we baamukubye. Ku ddyo, Mbuga ng’ali ku poliisi we yakoledde sitaatimenti.

YASOOSE kutegeeza nti “nkooye embera eno, Mbuga okunkuba n’okuntulugunya nga nsirika busirisi leero mutwala mu bamateeka akangavvulwe.”

Amangu ago omuyimbi Leila Kayondo eyakuyimbira ‘Njagala kuzina Naawe,’ n’endala eyabadde akubiddwa ng’azimbye ffeesi yadduse misinde okugenda ku poliisi y’e Kabalagala okuloopa bba, omugagga Sulayimani Kabangala Mbuga avuga mmotoka ez’ebbeeyi eziriko nnamba puleeti mu mannya ga SK Mbuga.

Nga wayise essaawa mbale, Leila yatadde ku mukutu gwe ogwa ‘Face book’ obubaka obuvumirira abaserikale ku poliisi y’e Kabalagala ng’agamba bagaanyi okumuyamba era guno si gwe mulundi ogusoose ng’aloopa Mbuga ku poliisi eno ne batamuyamba.

Wano we yasabidde omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Gen. Kayihura ayingire mu nsonga ze.

  buga talks to relatives through the window at abalagala olice tation

Wakati mu bawagizi be okumuweereza obubaka obumusaasira n’abamu okuvumirira ekikolwa kya Mbuga okumukuba, abanene mu poliisi baayingidde mu nsonga zino ne batandika okunoonya Mbuga, gwe baasanze ng’ali ne Leila mu kifo ekimu ekisanyukirwamu ku Lwokutaano ekiro. Baamukutte ne bamutwala ku poliisi y’e Kalagala gye yasuze.

Mbuga okukuba Leila kigambibwa entabwe yavudde ku Mbuga eyasoose okuwa Leila obukadde 10 akole akabaga k’amazaalibwa ge (aga Leila) nga January 1 kyokka oluvannyuma n’amusanga e Munyonyo ku Speke Resort ng’ali n’omusajja Omucongo gw’ateebeereza okuba ng’amukwana nga bali bombi banywa kacaayi.

Kigambibwa waliwo mukwano gwa Mbuga azze alaba Leila n’omusajja ono eyatemezza ku Mbuga naye eyavuze sipiidi okubasanga.

Mbuga olwabadde okubatuukako, Leila yatandikiddewo okwetonda ng’agamba omusajja ono mukwano gwe era y’omu ku bawagizi be.

 olice spokesman atrick nyango addresses the press at abalagala olice tation as ayondo listens on

Mu busungu obungi, Mbuga yasabye Leila ekisumuluzo kya Benz empya gye yaakamugulira baawukane Leila n’akigaanira ekigambibwa nti kye kyavuddeko okumukuba n’azimba mu ffeesi.

Wabula Mbuga yeegaanyi eby’okukuba Leila ng’agamba yeekoonye ku mmotoka ng’amuggyako ekisumuluzo kwe kuzimba mu ffeesi.

Waliwo mukwano gwa Mbuga ataayagadde kumwatuukiriza mannya eyatugambye nti ng’oggyeko okumuteebereza okukwana mukazi we, Mbuga yeekengedde Omucongo ono ali mu magye g’e Congo okwagala okuyita mu Leila okumubega olwa bizinensi ezimu z’akola mu ggwanga eryo.

Leila yeekyusa

Wabula Leila bwe yalowoozezza ku by’okufiirwa Benz empya ttuku, n’atandika okwogeza ekirimi bwe yategeezezza poliisi nti amusonyiye era takyayagala musango kugenda mu maaso.

Ku Lwomukaaga, abakulira poliisi y’e Kabalagala baatabuddwa, Leila eyabadde ayitiddwa okukola sitaatimenti n’okulumiriza Mbuga bwe yazze mu kubeetondera ne Gen. Kayihura olw’okubamalira obudde n’okubavumirira ng’ayita ku mukutu gwe ogwa ‘face book’ n’agattako n’okwetondera Mbuga n’asaba bamuyimbule kubanga amusonyiye.

 enz omugagga buga gye yaakagulira eila ayondo Benz omugagga Mbuga gye yaakagulira Leila Kayondo.

 

 

Wadde Leila yeetonze olw’okumusibisa Mbuga ne poliisi gye yasoose okunenya nti ebbanga lyonna ebadde temuyamba nga Mbuga amutulugunya,

Eggulo omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yategeezezza nti nga poliisi baasazeewo okugira nga bakyakuumidde Mbuga ku poliisi nga bwe banoonyereza okuzuula oba teyakase Leila amusonyiwe olw’ebigambo ebyabadde biyiting’ana nti Mbuga yabadde atiisizza okumuggyako mmotoka n’enju bye yamuwa singa tayimbulwa. Leila agamba nti teyakakiddwa wabula Mbuga yamusonyiye kubanga bba, ensonga bazimalire awaka.

Kayondo yasoose kukola sitaatimenti nga December 31 2015 ku poliisi e Kabalagala oluvannyuma lw’okuggulawo omusango oguli ku fayiro SD: 52/31/12/2015.

Mu sitaatimenti Kayondo yagambye nti yalumbiddwa eyali muganzi we SK Mbuga n’amukuba n’amuggyako ebisumuluzo bya mmotoka n’eby’edduuka bwe yamusanze ne mikwano gye okuli Hellen ne John.

Oluvannyuma lw’okukola sitaatimenti, poliisi yawadde Kayondo foomu okumwekebejja oba akubiddwa n’azitwala ew’omusawo wa poliisi n’akakasa nti ddala yabadde akubiddwa n’alumizibwa ku mutwe.

Akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango, Nusura Kemigisha yagambye nti abaakutte Mbuga baakulembeddwaamu DPC w’e Kabalagala, Bernad Mugerwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Yop2 220x290

Production beetisse ekyemizannyo...

Production beetisse ekyemizannyo mu Vision Group

Nan1 220x290

OLuyimba lwa tukiggale lutabudde...

OLuyimba lwa tukiggale lutabudde Carol Nantongo ne Racheal Namiiro

Seb2 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu butto w'ekinzaali okulwanyisa alaje

Kab3 220x290

Ebyabaddewo ng'aba Poliisi bagobwa...

Ebyabaddewo ng'aba Poliisi bagobwa mu palamanti

Fub2 220x290

Entalo ezibadde mu ssomero ery'ayidde...

Entalo ezibadde mu ssomero ery'ayidde e Rakai