TOP

Ggwanga tebamututte bweru, takyasobola nnyonyi

By Benjamin Ssebaggala

Added 5th January 2016

ABASAWO mu ddwaaliro e Namuwongo bakola kyonna ekisoboka okutaasa obulamu bwa Brig. Kasirye Gwanga obutandise okweraliikiriza ennyo abantu be.

Ggwanga 703x422

Brig. Kasirye Ggwanga

ABASAWO mu ddwaaliro e Namuwongo bakola kyonna ekisoboka okutaasa obulamu bwa Brig. Kasirye Gwanga obutandise okweraliikiriza ennyo abantu be.

...............................................................................................

Mutabani we Garvin Kasirye yategeezezza nti babadde baweereddwa amagezi okutwala kitaawe mu Buyindi kyokka abasawo mu ddwaaliro lya International Hospital Kampala (IHK) e Namuwongo ne babagumya nti tekyetaagisa kubanga babadde bakola buli ekisoboka okuzza obulamu bwe engulu.

Garvin Kasirye yagambye nti abasawo baabategeezezza nti basuubira okumuggya ku byuma bya “Oxygen” (ebiyamba omuntu okussa ng’ali bubi) kubanga balabawo essuubi ery’okutereera asse bulungi nga tayambibwako byuma.

Yagambye nti abooluganda ne mikwano gya Kasirye beeraliikirivu era balindiridde n’essuubi okulaba omuntu waabwe ng’abasawo bamuggya mu kasenge akabeeramu abalwadde abali obubi ennyo akayitibwa Intensive Care Unit (ICU). Abasawo nti baabagumizza nga Brig. Kasirye bw’asuubirwa okuva mu kasenge kano mu kiseera ekitali kiwanvu.

EBY’OKUMUTWALA EBWERU BIKALUBYE

Ensonda mu famire ya Brig. Kasirye zaategeezezza nti abooluganda abamu baabadde basabye omuntu waabwe atwalibwe e Buyindi mu ddwaaliro erisingako era nga boogedde ne bakamaabe mu magye ne beeyama okukola ku by’obujjanjabi byonna wano n’ebweru w’eggwanga.

Wabula abamu ku booluganda abataayagadde kwatuukirizibwa baategeezezza nti kaweefube ono akyagaanye okuyitamu oluvannyuma lw’abasawo okubawa amagezi nti embeera omulwadde gy’alimu temusobozesa kutambulira mu nnyonyi lugendo luwanvu.

Okuva ku kisaawe ky’ennyonyi e Ntebe okutuuka e Mumbai mu India waliwo obuwanvu bwa kilomita 5,714 nga kyetaagisa essaawa ezisukka mu musanvu.
Abasawo baawadde amagezi nti embeera Brig. Kasirye gy’alimu temusobozesa kutambula lugendo olwo, era bw’aba waakutwalibwayo balina kusooka kumukolako n’adda bulungi engulu okwewala obulabe obusingawo okumutuukako.

Omwogezi w’amagye ga UPDF Col. Paddy Ankunda yategeezeza nti balina obwesige mu basawo abakugu mu ddwaaliro lino abaakwasiddwa obuvunaanyizibwa bw’okukola ku Brig. Kasirye.

Nga tannatwalibwa Namuwongo, Brig. Kasirye yasoose kuddusibwa mu ddwaliro lya Nakasero Hospital ku Lwokuna bwe yalumbibwa ekirwadde kya Lubyamira ow’amaanyi.

Ng’atuusiddwa e Nakasero abasawo abakugu baamwekebejja ne bazuula nga yali alina obuzibu obw’amaanyi mu mawuggwe nga tasobola kussa bulungi ne bamuteeka ku byuma okumuyambako okussa.

Ku Ssande ku makya, omuduumizi w’amagye mu ggwanga Gen. Katumba Wamala yalagidde ne bamukyusa n’azzibwa mu IHK gy’ali kati.

Amangu ddala nga yakatuusibwa ku HIK, Gen. Katumba yagenzeeyo n’amulabako kyokka teyasobodde kwogerako naye olw’embeera embi gye yabaddemu.

Eggulo Gen. Katumba yazzeeyo e Namuwongo okulaba ku Brig. Kasirye wabula ensonda zaategeezezza nti, abasawo baabadde beetaaga essaawa eziwerako nga beetegereza, okusalawo eky’okumuggya ku kyuma ekimuyamba okussa.

Abooluganda abatonotono abaabaddewo obwedda bali mu ssaala kubanga abamu baabadde babalemesezza n’okumutuukako mu kasenge mw’ali. Azaalibwa Katakala, Mityana mu 1952 era kati wa myaka 63. Ye muwabuzi wa Pulezidenti ku nsonga z’eby’okwerinda mu Buganda.

OMUSAWO ANNYONNYODDE KU KIRUMA BRIG. KASIRYE

Dr. Charles Kasozi yategeezezza Bukedde eggulo nti: Omuntu okulemererwa okussa olumu kiva ku bulwadde bw’amawuggwe kyokka ate olumu kiva ku mutima abalala ppuleesa n’olumu okusannyalala.

Emirundi egimu kiva ku bulwadde bwa ‘Asima’ oba omusaayi okwetukuta mu misuwa ne gizibikira nga tegikyasobola kutambuza musaayi naddala ku bantu abakuze ng’asussa emyaka 50.

Lubyamira atera okuleeta obuzibu omuntu n’alemwa okussa kubanga akosa amawuggwe ne galemwa okukola omulimu gw’okusaasaanya empewo ey’obulamu mu mubiri.

Obulwadde buno butera okutawaanya abantu abanywa ennyo ssigala n’omwenge era Dr. Kasozi agamba nti abamu bafa kikutuko ng’amawuggwe geesibye omulundi gumu.

Yannyonnyodde nti abamu babanguyira era bwe batuusibwa mu ddwaaliro bamuteeka ku byuma ebiyamba okussa ng’abasawo bwe bamuwa eddagala eriyamba okuzuukusa amawuggwe gaddemu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Annotation20190718192802 220x290

Okwogera kwa Pulezidenti Museveni...

Okwogera kwa Pulezidenti Musevebni eri eggwanga. Tuli mu maka g'Obwapulezidenti e Nakasero

Massagebeingdonewebuse 220x290

By'olina okutunuulira nga tonnakola...

Nakola masaagi ne ntemwako okugulu era ntambulira mu kagaali - Dr. Karuhanga

Omukubayizingalikobyanyonyolawebuse 220x290

Abawala abazaddeko mubazze mu masomero...

Abawala abazaddeko okudda mu masomero kyakuyigiriza abalala obutakola nsobi n'okubudaabuda abafunye obuzibu bwe...

Teekawo1 220x290

Akakiiko ka bannamateeka kasazizzaamu...

OLUKIIKO olufuzi olwa bannamateeka ba Uganda Law Society olukwasisa empisa lusazizzaamu ekibonerezo ky'emyaka ebiri...

Club 220x290

Vipers bagitutte mu kkooti lwa...

KIRAABU ya Vipers bagitutte mu kkooti lwa kukozesa akabonero kaayo (logo) nga tebasasudde yakakola. Era eyabawawaabidde...