TOP
  • Home
  • Ag’eggwanga
  • Omugagga Ssemwanga ategeeraganye n'omusuubuzi Gadafi n'amusasula obukadde 34

Omugagga Ssemwanga ategeeraganye n'omusuubuzi Gadafi n'amusasula obukadde 34

By Joseph Mutebi

Added 5th January 2016

“Nze olw’emirimu gyange okubeera nga giyimiridde mu South Africa ng’ate abaana mu masomero gange baatandise dda okusoma nneekubye mu mutima ne nsalawo mbeeko akasente kempa muganda wange Gadafi si lwakuba nti kituufu nnakuba ebintu bye nga bw’abadde andebula wabula lwakuba nze ayamusosonkereza nga ntamidde ne mmuyiira omwenge mu bbaala ya Gavnor,” bw’atyo Ssemwanga bwe yategeezezza

Bika 703x422

Ssemwanga ne Gadafi nga badding'anye

OMUGAGGA Ivan Ssemwanga kyaddaaki bategeeraganye n’omusuubuzi wa mmotoka Gadafi Sadat Sserusiba buli omu ne yeetondera munne oluvannyuma lwa ssentebe wa bagagga b’omu Kampala, Godfrey Kirumira okuyingira mu nsonga zaabwe n’abatabaganya.

“Nze  olw’emirimu gyange okubeera nga giyimiridde mu South Africa  ng’ate abaana mu masomero gange baatandise dda okusoma nneekubye mu mutima ne nsalawo mbeeko akasente kempa muganda wange Gadafi si lwakuba nti  kituufu nnakuba ebintu bye nga bw’abadde andebula wabula lwakuba nze ayamusosonkereza nga ntamidde ne mmuyiira omwenge mu bbaala ya Gavnor,” bw’atyo Ssemwanga bwe yategeezezza.

Bino Ssemwanga yabyogeredde  mu nsisinkano abagagga bano ababiri mwe baayitiddwa Kirumira ku woteeri y’omugagga Sudhir e Munyonyo eggulo ku Mmande era buli omu n’akkiriza okusonyiwa munne.

 

Ssemwanga yagambye nt:

Nsuubira nti okuyiira Gadafi  omwenge kiyinza okuba nga kye kyaviirako ebintu bye  okubula nga bw’agamba bwe kiba kituufu,  ng’ate ffena tuli bavubuka buli omu yeetaaga munne y’ensonga lwaki njagadde tubimale nzireyo e South Africa nkole emirimu gyange.

Bino obwedda bigenda mu maaso nga n’akulira ba mbega ba poliisi mu Kampala East,  Ronald Bogere ali ku mabbali era buli ludda ne lugenda nga lusanyufu.

Ye Gadafi yategeezezza nti:

Kituufu nnakizudde nti Ssemwanga si ye yabba ebintu byange omuli essaawa, essimu, omukufu ne ssente enkalu naye lwakuba ye yatandiikiriza olutalo n’okunkyokooza abayaaye ne bakozesa omukisa guno ne banziba era simulinaako mutawaana gwonna omusango nguggyeeyo.

kulira bambega ba poliisi  ya ampala ast onald ogere ngakwasa vana semwanga pasipooti ye Akulira bambega ba poliisi ya Kampala East, Ronald Bogere ng'akwasa Ivan Ssemwanga pasipooti ye

 

Bakkaanyizza nti ku byonna Gadafi bye yafiirwa agenda kumugulirako essaawa gye yagamba nti yagigula omutwalo gwa ddoola era n’agumukwasa nga mu ssente za Uganda buli obukadde 34  era amangu ago ne bakkiriza n’okwegwa mu kifuba.

Kirumira yalabudde abavubuka  bano okukomya effujjo nga buli omu ayolesa amaanyi ga ssente eri munne era n’abalabula nti ssente bw’obeera omuvubuka olina okumanya bwe bazikwata osobole okuwangala nazo nga bbo.

 lukiika olwatudde ku woteeri ya udhir e unyonyo nga lugendereddwaamu okutabaganya semwanga ne adafi wakububiriziddwa omugagga odfrey irumira Olukiika olwatudde ku woteeri ya Sudhir e Munyonyo nga lugendereddwaamu okutabaganya Ssemwanga ne Gadafi. Lwakububiriziddwa omugagga Godfrey Kirumira.

 

Yagambye nti tayinza kukkiriza bavubuka bato kugenda mu maaso nga beewalana mu kibuga ng’ate balina ssente olwo ye nga ssentebe w’abagagga ng’atunula butunuzi.

Akulira bambega ba poliisi  ya Kampala East, Ronald Bogere yagambye nti;

Ffe nga poliisi tetulina lutalo lwona ku muntu awaabye omusango gwe bw’asalawo akuguggyayo nga bategeeraganya era Gadafi yantuukiridde n’antegeza nga bw’aggyeeyo omusango guno nga takyagulinamu  bwagaazi era  n’akola ne sitetimenti. Ssemwanga tumuddizza pasipooti ye.      

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lungujja 220x290

Ab'e Lungujja bafunye Ssentebe...

Kyaddaki Ssendawula zooni e Lungujja mu munisipaali y'e Lubaga efunye ssentebe

Kiibi 220x290

Fr. Kiibi avumiridde abakulisitu...

FAAZA Deo Kiibi asinzidde mu Kitambiro kya Missa gyayimbye mu kisomesa ky'e Kasangati, n'alabula abatanawasa okusooka...

Takoze 220x290

Waswa Bbosa takoze nkyukakyuka...

OMUTENDESI wa ttiimu y’eggwanga eyabatasuussa myaka 23 afulumizza ttiimu etandika egenda okuttunka ne South Sudan...

Cahill 220x290

Tim Cahill akaabye, ng'asiibula...

Cahill yali muwuwuttanyi wa ntomo, ateeba ggoolo era nga yeesigamwako ttiimu y'eggwanga eya Australia mu mupiira....

Mutebile2 220x290

Mutebile aleese ebiwandiiko ebitakwatagana...

Ebiwandiiko ebimu obwedda biteereddwako emikono gy'abantu (signature) kyokka nga tekuli mannya gaabwe nga kino...