TOP
  • Home
  • Ag’eggwanga
  • Ssaabasumba agenze okutabaganya Msgr. Magembe, Fr. Kibuuka ne Mukajanga

Ssaabasumba agenze okutabaganya Msgr. Magembe, Fr. Kibuuka ne Mukajanga

By Musasi wa Bukedde

Added 5th January 2016

Dr. Cyprian Kizito Lwanga nga tannasisinkana Bafaaza, yasoose kwogera eri abeetabye mu Mmisa e Bukalango akawungeezi k’eggulo n’abategeeza nti Eklezia ewagira nnyo ensinza ey’omulembe omuggya emanyiddwa nga Kalizimatiki, kyokka erina okutambulira mu nnono za Eklezia Katolika ereme kulabika ng’ensinza empya emeruseewo.

Bafu1 703x422

Mukajanga ng’ayaniriza Ssaabasumba Cyprian Lwanga e Bukalango eggulo.

SSAABASUMBA eggulo yagenze e Bukalango okumalawo akakuubagano akagambibwa okuva wakati wa Bafaaza Msgr. Expedito Magembe ne John Baptist Mukajanga abagambibwa okuba n’obutakkaanya ne Fr. Jacinto Kibuuka eyaggyibwa e Bukalango n’akwasibwa ekifo ky’abeegayirizi e Namugongo.

.........................................................................................

Dr. Cyprian Kizito Lwanga nga tannasisinkana Bafaaza, yasoose kwogera eri abeetabye mu Mmisa e Bukalango akawungeezi k’eggulo n’abategeeza nti Eklezia ewagira nnyo ensinza ey’omulembe omuggya emanyiddwa nga Kalizimatiki, kyokka erina okutambulira mu nnono za Eklezia Katolika ereme kulabika ng’ensinza empya emeruseewo.

Yagambye nti Eklezia egenda kuwandiika ekitabo ekya “Tuluubirire Eggulu mu Bulamu Bwaffe” okulambika ensinza bw’erina okutambula era Msgr Magembe ajja kuweebwamu omuko alambulule eby’e Bukalango.

Bwe yamaze okwogera eri abantu bonna n’enda mu kafubo ne Bafaaza n’Abasiisita.
Wakati mu kutegeka okusinza okw’okumalako omwaka, kigambibwa nti wabaddewo akakuubagano wakati wa Bukalango ne Namugongo, ng’abamu ku baweereza e Bukalango batunuulira ekifo ky’e Namugongo ng’ekyatandikiddwa okubanafuya. Kigambibwa nti Kibuuka bwe yava e Bukalango yagenda n’eyali omuvvuunuzi wa Mukajanga ne Magembe. Ate nga n’ab’e Namugongo baakiraze ng’ab’e Bukalango bwe babalwanyisa.

Fr. Kibuuka naye mu kutendereza okwenjawulo okuyingira omwaka, yagambye nti waliwo abantu bangi abalwanyisa obuweereza obwatuumibwa Uganda Martyrs Apostolate e Namugongo obwamukwasibwa Ssaabasumba era babadde bafuuyirira kagalo abantu baleme kuwera kyokka Katonda n’abasinga amaanyi, abantu ne bajja mu bungi.

Yalangiridde n’okutendereza okwenjawulo okw’okubeerangawo buli Lwamukaaga olwa wiiki eyookusatu buli mwezi era kino kyakutandika omwezi guno. Kino abamu ku baweereza e Bukalango baakirabye ng’ekireeteddwa okukkakkanya okusaba okutegekebwayo buli Lwamukaaga olusembayo mu mwezi okumanyiddwa nga ‘Sangalo’.

Obutakkaanya e Bukalango bwasinga kweyoleka mwaka guwedde, Ssaabasumba bwe yaggya Kibuuka e Lubaga n’amutuma e Bukalango. Ensonda e Lubaga zaategeezezza nti kino kyaleetawo obukuubagano era Ssaabasumba n’aggya KIbuuka e Bukalango.
Okuva olwo Ssaabasumba abadde afuna lipoota ku bukuubagano nga waliwo n’ebibadde bikolebwa wakati mu baweereza ebitagulumiza Katonda.

 babiikira be ukalango nga baaniriza saabasumba r wanga eggulo muddiridde ye ukajanga Ababiikira b’e Bukalango nga baaniriza Ssaabasumba Dr. Lwanga eggulo. Amuddiridde ye Mukajanga.

 

Mu nkola yabulijjo, Omusumba abeera ne kalenda kw’akyalira ebifo. Kyokka oluvannyuma lwa Ssaabasumba okutegeezebwa nga bwe waliwo amaloboozi agatali malungi agaafubutuse mu kusinza e Bukalango ne Namugongo mu kiro ky’okuyingira omwaka, kwe kusalawo n’agenda e Bukalango eggulo. Ab’e Bukalango nabo okugenda kwa Ssaabasumba baakutegedde ggulo.

ENTANDIKWA Y’OBUGULUMBO

Okusindika Kibuuka e Bukalango kyajjira mu kiseera nga Ssaabasumba yaakalabula Mukajanga ku njigiriza gye yagamba nti tegoberera nnono za Klezia n’ebyali bigambibwa nti aguza Abakristu omuzigo, n’amafuta ag’omukisa n’emisaalaba gy’agamba nti agiggya Yisirayiri.

Fr. Kibuuka yali asabira abantu e Lubaga mu ngeri eyenjawulo mu kifo kye yali atandise okuliraana amayumba g’Abasiisita. Ssaabasumba yasalawo n’asindika Fr. Kibuuka e Bukalango aggumize ttiimu ya Msgr. Magembe era ekifo ky’e Lubaga ekyali kitandikiddwaawo ne kiyimirira.

 sgr agembe ngakulembedde mmisa u kkono ye r ibuuka Msgr. Magembe ng’akulembedde mmisa. Ku kkono ye Fr. Kibuuka.

 

Ogumu ku mirimu egyamukwasibwa kwe kulambika Mukajanga mu kusaba kwe yassaawo ku Akeedi za Kampala bbiri okuli Jemba ku Luwum ne Gaggawala Shauliyako n’akutuuma “J.B Mukajanga Ministries”.

Fr. Kibuuka yalina okusookanga okukulemberamu Mmisa olwo Mukajanga n’alyoka azzaako essaala ezisumulula Abakristu, okugoba emizimu n’okukola ebyamagero wabula baafuna obutakkaanya era kigambibwa nti Msgr. Magembe n’adda ku ludda lwa Mukajanga.

Ensonga zino zaatuuka ewa Ssaabasumba era kigambibwa nti z’ezaavaako Fr. Kibuuka okumusindika e Namugongo n’atandika obuweereza obufaanana obw’e Bukalango, Kiwamirembe Muduuma ne Vincentia Prayer Centre e Ntebe ne Nsangi.

Ensonda mu Klezia zaategeezezza nti wadde Fr. Kibuuka yasindikibwa e Namugongo, tebaamuwa bbaluwa ntongole era mu biwandiiko akyabalibwa ng’ow’e Bukalango era emirundi egimu agendayo wabula bw’aweebwa akazindaalo ate akunga bantu kugenda mu kusaba kw’e Namugongo era enfunda ezisembyeyo babadde beewala okumuwa omukisa okwogera eri Abakristu b’e Bukalango.

 r ibuuka ngawa omukisa abantu mu kusaba okwabadde e amugongo ku sande Fr. Kibuuka ng’awa omukisa abantu mu kusaba okwabadde e Namugongo ku Ssande

 

Mukajanga yagambye nti tayagala kwogera ku nsonga ezo kyokka “Nze Fr. Kibuuka tanjagala era ekyo kimanyiddwa.” Yayongeddeko nti mu kifo ky’okumukwatirako okutwala obuweereza mu maaso, amaanyi yagassanga ku kumulwanyisa.

Fr. Kibuuka bwe twamutuukiridde eggulo naye yagambye nti talina ky’ayogera ku nsonga ezo kubanga zimuyinze obuzito.

Msgr. Magembe mu kutendereza okwasooseewo e Bukalango nga Ssaabasumba tannajja, yasabidde abantu Katonda abayiire obugagga n’emikisa kyokka n’agattako nti: Tusaba Omukama atutaaseeko abakyamu. Omulabewo obeera naye n’atuuka n’okukugwa mu kifuba n’omuwa ne ssente okusinga abalala nga tomumanyi nti mukyamu.

Mukajanga bwe yabadde ayogera e Bulango naye yagambyi: Waliwo abakyamu bangi ate ekyewuunyisa ng’abamu baasaba nga naffe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Seb2 220x290

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya...

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda