TOP

Mbabazi wa mutwe munene- Museveni

By Musasi wa Bukedde

Added 8th January 2016

Museveni asuubizza okuzimba enguudo zonna ennene mu disitulikiti y'e Kanungu

Zi2 703x422

Pulezidenti Museveni ng’ayogerera mu nnamungi w’omuntu bwe yabadde akuba kampeyini ku ssomero lya Kihihi High.

PULEZIDENTI Museveni asuubizza okukuba kkoolaasi enguudo ennene, okuzimba amasomero n’amalwaliro mu magombolola gonna okwetooloola Disitulikiti y’e Kanungu.

Museveni yakubye enkuhhaana bbiri mu kitundu kya Kinkizi eva Amama Mbabazi bwe bavuganya.

Olukuhhaana olwasoose yalukubye ku kitebe ky’eggombolola y’e Mpungu ekisangibwa mu Kinkizi East ate oluvannyuma n’agenda ku kitebe kya Disitulikiti y’e Kanungu ne ku Kihihi High School mu Kinkizi West gye yayaniriziddwa nnamungi w’omuntu ng’ayimba oluyimba Tubonga Naawe.

Kinkizi East

Pulezidenti yagambye nti Gavumenti ye egenda kukuba kkoolasi, oluguudo lwa Kanungu - Rukungiri okuva mu March.

Okukakasa ensonga eno, Pulezidenti yayise akulira ekitongole ky’ebyenguudo (UNRA), Muky. Allen Kagina, eyagambye nti oluguudo luno lwakumalawo obuwumbi bw’ensimbi 200.

Museveni yagasseeko nti oluguudo lw’e Rukungiri –Kanungu - Nyakishenyi olutuuka e Kambuga lwakukubwa kkoolaasi, ate oluva e Hamurwa okutuuka e Kerere, Kanungu, Burema, Butogota, Mayaja-Ifasha ne luyitiramu ddala okutuuka e Ikumba nalwo lwa kukolwako.

Olulala olugenda okukolwako lwe lwa Ishasha - Katugwa, ze kiromita 18 n’oluva e Kanungu okutuuka e Kambuga. Yalangiridde era nti abantu 2,200 abagenda okukosebwa pulojekiti eno baakutandika okusasulwa omwezi ogujja.

Entindo ezigenda okukolebwa mulimu olw’e Birara n’e Mitaano oluli ku nsalo ya disitulikiti y’e Kanungu ne Rukungiri.

Mu byenjigiriza, Museveni yagambye nti agenda kuzimba amasomero ga pulayimale mu miruka ogw’e Kirwa, Nyamukobe, Nyanga ne Kishuho ate amasomero ga siniya gazimbibwe mu magombolola ey’e Kambuga, Katete, Butogota ne Nyanga.

ulezidenti useveni ngatuuka e yambeya mu muluka gwe uramba mu ggombolola ye pungu mu inkizi est okukuba kampeyini ayaniriziddwa r uhakana ugunda Pulezidenti Museveni ng’atuuka e Kyambeya mu muluka gw’e Muramba mu ggombolola y’e Mpungu mu Kinkizi West okukuba kampeyini. Yayaniriziddwa Dr. Ruhakana Rugunda.

 Ku ky’okuggya abantu mu bwavu, Pulezidenti yagambye nti n’abantu balina okulima olubimbi lwabwe, n’abasaba okugaziya ennyingiza yaabwe nga balunda enkoko, okulima obutiko, emmwaanyi, caayi n’ebirala.

Oluvannyuma, Pulezidenti yalagidde Katikkiro Dr. Ruhakana Rugunda, asisinkane famire z’abantu abaggyiira mu muliro gwa Joseph Kibwetere emyaka 10 egiyise alabe obuyambi bwe beetaaga.

kinkizi West

ENO Pulezidenti yagambye nti gavumenti ye egenda kuzimba oluguudo lw’e Ikumba – Butogota okutumbula ebyobulambuzi mu kitundu.

Olukuhhaana olunene yalukubye mu kabuga k’e Bugarama mu ggombolola y’e Mpungu.
Yagambye nti oluguudo luno bwe lunaakolebwa, abalimi b’amajaani nabo bajja kuluganyulwamu, naye yasuubizza nti Gavumenti egenda kusooka kulunyiga ne malamu.

Mw. Museveni yayongeddeko nti Gavumenti etegeka okubunyisa amasannyalaze mu Kinkizi n’ebitundu ebiriraanyeewo nti kino kye kijja okutumbula amakolero mu kitundu. Yeebazizza abantu b’omu kitundu olw’okwongera ku bungi bw’amajaani ge balima.

Yasuubizza okugabira amaka ente z’amata gasobole okwongera ku nfuna yaago.
Dr. Ruhakana Rugunda yeebazizza abantu olw’okuwagira Pulezidenti Museveni, n’abasaba okumulonda wamu n’abo NRM b’esimbyewo mu kalulu k’omwezi ogujja.

E Kihihi, Pulezidenti yayaniriziddwa Dr. Ruhakana Rugunda, Minisita omubeezi ow’ebyobulamu, Dr. Chris Baryomunsi, Minisita David Bahati n’omumyuka wa Ssentebe wa NRM atwala obuvanjuba, Matayo Kyaligonza.

Eyali munna FDC, Maj. Rubaramira Ruranga y’omu ku bantu b’oludda oluvuganya abaasaze eddiiro okwegatta ku Museveni.

Museveni olwayogedde ku nguudo abantu ne basaakaanya kyokka n’abagamba nti, “Mubadde mwesigamye ku muntu alina omutwe omunene. Alina ejjinja eddene tasobola kubulwa jjinja.”

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bi 220x290

Bebe Cool agenze mu Amerika kusakira...

Bebe Cool agenze mu lukung’ana lw’ekibiina ky’amawanga amagatte (UN) kusakira balwadde bakafuba ssente za bujjanjabi....

Abasuubuzingabalimukatalekakirekamainmarketwebusebig 220x290

Mutuzimbire akatale akali ku mutindo...

Akatale ka myaka 90 wabula tekalina mifulejje wadde bakasitoma we bayita.

Kyotera1 220x290

Abazadde balumbye essomero lw'abaana...

POLIISI e Kyotera eggalidde dayirekita w’essomero lya Kyotera Infant Pri.Sch, ne Heedimasita w’essomero lino ng...

Mulironnyumba2 220x290

Omuliro gw'okyezza enju y'omusawo...

NABBAMBULA w’omuliro asaanyizzaawo amaka g’omusawo ebintu bya bukadde ne bitokomoka okubadde n’emmotokka.

Preg1webuse 220x290

Nkole ntya okwewala omwenge kuba...

Olubuto lunjoyesa omwenge naye mmanyi gwa bulabe eriomwana ali munda. Nkole ntya okugwewala?